Yaled

Nze Sabasaba
Omuzzukulu Maawule tegookya matama
Hmmm sitya biduduma
Nazaalwa bakuba mmundu saafuna sasi
Nnumba ng’okimanyi
Bwotatta ku bigere byo wandigwa ku kibabu
Mpozzi nga lubaale akuluma
Omanyi nga yakwezinzeeko siriimu mpola
Hmmm eradde bakulu
Lubaale baatawanyizza n’abuza essanyu
Nga mulabye ennaku
Mbitadde mubbali
Ogw’ebiro bino, wafuna nze wamala
Lubaale aluma, ng’anakkuba embaga
Onyooma buli aba akuwabula lubaale bboyi
Funa gwe akatebe
Omusumba Mulumba Walukagga alumbye mulo
Hmmm ensi eno lutalo
Bangi bali ku bunkenke lubaale abaluma
Obwongo abugese
Balumbye abasawo babameketedde obubuzi
Hmmm olwatta omukulu
Okuwoza namanya lw’oluyimba ndufunye
Ndutuumye lubaale aluma

Lubaale (ooh lubaale)
Ono lubaale (mazima lubaale aluma)
Lubaale (ooh lubaale)
Ono lubaale (mazima lubaale aluma)

Lubaale, lubaale, lubaale
Lubaale annumidde abayivu
Bafuuwa oluzungu nga bali eyo mu birabo
(Lubaale aluma)
Balubyanza n’abayiriba
Ali mw’abo yeegiriisa ng’ekigotta entula
(Lubaale aluma)
Aluma abasibi b’ebikalu
Nebafaananako abaafuna embuto
(Lubaale aluma)
Diiguli ogifunye
N’ojerega emirimu olinde guli gwe wasoma
(Lubaale akuluma)
Buli mugagga anafuya
Ssente akozesa za bali nze siri musiru
(Lubaale akuluma)
Atabanga musiru
Ku bbala alamuza boda gundi lubaale aluma
(Lubaale aluma)
Obuteezuula bulabe
Olina okola ebikwongerako mu budde bwennyini
Tebanga akuloga
Enguuli gyewekatankiranga n’ogwa ku kkubo
(Lubaale aluma)
Gwegwo omukwano omuyizi
Okutoloka n’okuba zaala fees ozituze
(Lubaale akuluma)
Kano kagende mu bawala
Abeefudde abagezi, mukyafa bannyabo
Omwami gwotaayagale
N’omubba newewaana bw’ofunyeeyo ki ffala
(Lubaale aluma)
Beebo betusanga mu ttale
Nga babasse ate mukyafa nnyo nnyo mbalagule
(Lubaale aluma)
Hmmm eyafumbirwa Julie
Eby’okkukusa olubugo ettumbi lubaale yennyini
(Lubaale akuluma)

Lubaale (ooh lubaale)
Ono lubaale (mazima lubaale aluma)
Lubaale (ooh lubaale)
Ono lubaale (mazima lubaale aluma)

Lubaale aluma
Ng’ebya siriimu bizze ku bbali
(Lubaale aluma)
Abafumbo mbasabye
Mubeere beesigwa, obutabuza ssanyu
N’abeetunda bennyini
Baaliko abafumbo ng’ate mwattu ba mbaga
(Lubaale abaluma)
Bwe baatala ebbali
Obufumbo bwakuba bye ensi eno ebanyize
(Lubaale abaluma)
Ku ttaano omufuna
Abandi giraasi za walagi n’okuba ennoga
(Lubaale abaluma)
Tewaweerera baana
Olinze lwebabatikkira ozze weefuze party
(Lubaale akuluma)
Ako akameeza wakata
N’osanga enkoko eyafumbiddwa n’olya kirabe
(Lubaale akuluma)
Nooteebuza muli
Nti kisajja ki ekiyamba maka gange Lubowa
(Lubaale akuluma)
Boss wo omujooze
Akugamba kiri kko gwe tonfuga
(Lubaale akuluma)
Okay muwabule
Naye ky’alemeddeko ky’oteekwa okukola
(Lubaale akuluma)
Hmmm maid omulese
Okwala obuliri bwa bba wo oli Angela busy
(Lubaale akuluma)
Ndayira okulya empunu
Bba wo omugabuddeyo mu bitiibwa byennyini
(Lubaale akuluma)

Lubaale (ooh lubaale)
Ono lubaale (mazima lubaale aluma)
Lubaale (ooh lubaale)
Ono lubaale (mazima lubaale aluma)

Nziruseeko mu bannabyabufuzi
Nabo lubaale atera n’abaluma
Kkansala w’e Wakiso
Waaki chairman gw’olumba?
Walondebwa kuteeseza Council
Kifiiriza ate gw’ozannya
Ofaananye enjoka ezituga nnyinizo
Nga zirowooza lw’aziikwa zinaddukamu
(Lubaale akuluma)
Muliwa bannabitone, eh hooo!
Lubaale mu bannabitone
Ate aluma abo n’adda ku bbali
Yaluma gundi ono
N’endongo yagidduka ssebo
Ali eyo Bulemeezi)
Ne gundi ono, hmmm
Yatagalira mu bigambo
N’omuyimbi ono
Hmmm yeewanyisa lupiiya
Ne gundi ono
Hmmm awagira eno awagira eri
Omuyimbi ono, hmmm
Enjaaye emukozeeko
Ate enguuli, hmmm
Ye bwana gundi emuggyeko
Njatule amannya ha!
Nze temunsombera mineene
Abakyala abo, bannalungiwa
Lubaale alumye abo n’alya n’enswa
Ku street okwo, hmmm
Be basiibako nga beetembeya
Mmaze ebyange, hmmm
E Maya mu Kyengera ewange mbaayo
Awangaale bba ffe nantalinnya mu kateebe

Submit Corrections

One thought on “Lubaale Aluma Lyrics – Matthias Walukagga”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *