Love nkukooye
Love nkukooye
Dama
Tegwali musango okukwagala
Okukuwa omutima maama teyantuma
Wansuutasuta n’onkakasa mu mutima
Era n’oŋŋamba mission ya kumpasa
Laba kyekubiddeko side
Naye ewange kinzitooweredde nfa
Mpulira ntendewariddwa (no, no)
Kirabika watikkula gwe kyakoma
Kati nwana na mutima
Gunsika gundeeta eyo
Ate gwe onnyongera maziga
Nwana na mutima
Gunsika gundeeta eyo
Ate gwe onnyongera bulumi
Love nkukooye
Laba amaziga g’ontademu muntu wange
Love nkunaabye
N’ebirooto bye nfuna nabyo era bitama
Aaah no (no, no)
Sikyalina ssuubi nti ndikuwa ekyapa odde
Love nkukooye
Abanjagala mumpeemu emyaka ena
Gwe nsibuko y’amaziga gange
Singa tewajja mu bulamu bwange
Wandaga aah, nti nze mukazi asingayo
Nonfera aah, nti teriba alitwawukanya
Nga nkuwadde budde bwange
N’ebirala bye nakola bye siyinza kwatula
Nakwesiga mmanyi nvudde ku bayaye b’ekibuga
So obala bibyo ogende
Ng’amaziga ogasangudde
Kumbe munnange obala kunjuza mutima
Onfumise mu kiwundu munda
Oyise ne we baakoma
Eggumba munda olikutudde
Ompadde muti kwe ntudde
Kati nwana na mutima (nwana na mutima)
Gunsika gundeeta eyo
Ate gwe onnyongera maziga
Nwana na mutima
Gunsika gundeeta eyo
Ate gwe onnyongera bulumi
Love nkukooye
Laba amaziga g’ontademu muntu wange
Love nkunaabye
N’ebirooto bye nfuna nabyo era bitama
Aaah no (no, no)
Sikyalina ssuubi nti ndikuwa ekyapa odde
Love nkukooye
Abanjagala mumpeemu emyaka ena
Nali mmanyi, nti emitima gyogera
Nga gyogera kimu
Ng’era mmanyi, ffenna bwe twagala
Emitima gyagala kimu
Laba amaziga g’ontademu muntu wange
Ng’ate walayira nti ebyo tolibikola!
Kati essuubi lye nsigazza mu bulamu bwange
By’ebirooto bye nfuna naye ate bitama
Love nkukooye, love nkunaabye
Kati kammenye mitima mujje nga mwetegese
Love nkukooye
Laba amaziga g’ontademu muntu wange
Love nkunaabye
N’ebirooto bye nfuna nabyo era bitama
Aaah no (no, no)
Sikyalina ssuubi nti ndikuwa ekyapa odde
Love nkukooye
Abanjagala mumpeemu emyaka ena
Aaah no, no, no
Credit: Dj Shakamatic Pro