Audio Skills
Check
A Simple G
Dr. Powers on the beats
Kapito
Dr. Powers mpa ku maanyi awo
Nsooke mbuulirire
Ng’era omukulu bw’aba
Zai Muziki Kiwundo
Ssenkulu mmandwa mu nfo
Check, check Ntuuse, Powers
Mu linnya lya Yesu
Kabikkuse

Eno ssi nnyanukula
Nsoose na njatula
N’olulimi mpitidde mu lwaffe ddala olulya nnaka (olwa wano)
Anti nze Ssabarap kambalyowemu ku myoyo
Alina akatoola bino bikozese ku bwongo
Feffe Pussy akunja takweka njala
Ate era enkozi y’ebirungi apaana teyeesoma
Kuba kulaga kika bunafu
Buli lw’okolima
Gwe naawe tonnemanya
Kyokka obuuza ani y’ani!
Ozze ku bagoberezi obasotta nga Baayuuni
Weemanyi nti oli njozi ate weesuula mug’ente
Akatta ennyenje mutabani abeera kkoloboza
Weggyemu eyo empisa mutabani omalanga kulowooza
Ogwo omutwe tterekero lya bwongo ssi mugejjo
Nze nkozesezza waddugala okwozaawo ekkolyo
Kati twala!
Hehe liiso lya mukulu
Powers, check (mpa amaanyi)

Kati nno gwe ssewankima Wabuyi owa bbululu
Bbugubbugu muzzukulu taggyisa nakabululu
Mpaawo mulyammere akuwalana jjoba lyakuvaamu
Mpaawo akukotoggera gwe atannaba kwezuula
Laajana eri omutonzi akuwonye omutima ogw’effutwa
Bw’oyita ku litalaba n’omegga ate tolumanga
Kiswaza baakwola buli lw’ofuuka ekyerolerwa
Ssebunafu bwa bwongo agaliba enjole, gabumenya
Mu kifo kwetereeza ate ku bisubi kwe wekwata
Mu kifo okwenogera eddagala ate gwe weeyanika
Kkakkanya ebbamo n’amababba osobole okuyiga
Eyo ennakuyo gisibire mu kadeeya owone okuswazibwa
Wadde wakyaama amamera nze ettumba ngya ddigolola
Kuba gyendi oli bbujje lya magi vva ku muwuula
Oyisizza n’obuyisa obubi mu ba nakasatwe
Mpulirayo abalogootana nti olwala lubaaga ente
Abandi batandise n’okwevvoola mbuno bbo batume
Bw’oba wa kika kki weetikkila engule y’emmomboze ?
Eryo ettuttumu lya ndola nnyo, lizaala mize
Nga tonabweyita obusajja ddayo emabega oyige
Hip Hop si mmere ya lumbe nti n’ataakaaba alya
Ate si kiddukiro kya bonna nti ne kkondo yeewogoma

Olw’okukombooza ennyo mwe musengedde ne ba makanika
Obupale bambala butumpiru omusuubira otya okkuzimba ?
Ye kennyini wa bizigo kyeyasoma kiri kimu kukoppa
Oyo Kayemba ye icon we okusemba tekimuswaza
Bakira abawuliriza mwawule omuzungu ku namagoye
Nze ninnye mu ddemeezi okudda ndiba njabya lumbe
Simple G
Halleluiah

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *