Awungo, awungo, awungo
Awungo, awungo, awungo

Mpandiiseeyo kano ka letter
Kali mu lulimi Luganda
Mulimu obugambo obuwooma, eh eh
Nali nakwagala dda okuva edda
Ssagamba nga neetya
Kati ke nkufunye nze sirinda, babe
Love gye nina nasikira ya jajja
Nkakasa tolijula nedda
Mmanyi n’okuwoomya ebikaawa, yeah eh
Jangu nfuuke ssebo (uuh la la la)
Tugobe n’empewo(uuh la la la)
Love nkyalina natural (uuh la la la)
Nnyingi eri ku ntobo (uuh la la la)
Kwegamba wawonye abo ba Tito (uuh la la la)
Abatona bi kkedo (uuh la la la)
Weepimire eno oli ku ddipo (uuh la la la)
Gira twala muntu wo (uuh la la la)

Mukwano omwenyanga olumya (eh eh)
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Abalala mukkirire ffe twambuka
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba (oh oh)
Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala (nedda)
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira (oh no)
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba

Najja n’omuliro gwali gwaka
N’ongobesa ebisweta
Naye ne ŋŋuma nti kiriba edda, yeah eh
Abaali bakugamba mbu ndi Casanova
Yali propaganda
Byonna bye baakugamba byali bya bulimba, yeah eh
Nawonye obuwala obutunula ng’obwafa
Butokota nga generator!
Buzungazunga nnyo ku basawo Abaganda, ooh oh
Tirikubona nti oli mukaire (uuh la la la)
Ppaka ng’onzinze mu mugaire (uuh la la la)
Ndija kuwanga omudenene (uuh la la la)
Onsiikirenga ku mpengere (uuh la la la)
Oyenda kunwa ki omusongole? (uuh la la la)
Saba ky’oyenda nkuleetere (uuh la la la)
Bale babone bali ku bi ffene (uuh la la la)
Gula n’ekereta mbabongole (uuh la la la)

Mukwano omwenyanga olumya (eh eh)
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Abalala mukkirire ffe twambuka
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba (oh oh)
Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala (nedda)
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira (oh no)
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba

Yaled
Oh aah
Eeh

Ono ssaamusanga ku kkubo
Kyova olaba nga wa nkizo
N’abaali bamwagala njolo
Nze bwe najja ne beekuba endobo
Laba yenna taliiko na nziro
Tebaamufuuyisa mpewo
Nŋamba kyotalina nze muntu wo
Ssisiba nkwata bukwasi mu nsawo
Nze nina okusuutanga
Nteekemu akajanjanja
Abaali baduma nabakuba engwala
Badduka na kiwalazima njabala
Nfunye omuntu wange

Mukwano omwenyanga olumya (eh eh)
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Abalala mukkirire ffe twambuka
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba (oh oh)
Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala (nedda)
Wawonye essunsa ne bu katunkuma
Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira (oh no)
Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba
Repeat to end

Submit Corrections

Leave a comment