Hmmmm
Let it rain ooh
Let it rain

Brian Beats

Nkusaba ntegera amatu nkubuulire ky’otegeeza gyendi
N’amaaso geegeke, ku nze nkunnyonnyole kyenazuula mu gwe
Yeggwe bulamu bwange
Nkulowoozaako, every night and day
Era gwe ssanyu lyange
Sirina kyenejjusa nze bwenkwagadde
Ng’ekitangaala omusana lwegutayase
Emmunyenye eyakaayakana mu kiro
Olinga kimuli enjuki zekitataliza babe, eeh
Ompuliza ng’ekyomuwendo eky’ebbeeyi ng’olugoye lw’amasanga
Ne bwemba nkusuubula magendo
Nga nsinga bulamu baby eyo risk gy’ogwana
Nkusaba tonvangamu

Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale
Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale

Mbu ebirwa byerabirwa bwebagamba, sijja kukyusa
Gwewaalabyeko ye mwana kyemmanyi, nze awo wennalaalira
Sijja kusuubiza bingi byesiyinza, mba nkulimbye
Nandyekaniikirira neneewanika nennemwa, mba nkunyiiza
Love gyennina, ky’ekyobugagga kye nina kye neesiga
Bwentyo bwendi
Sirina bingi, naye nina gwe
Kati kansuubize, ndibeera wa mukwano
Era ndiba wuwo ppaka essaawa envannyuma
Terulikya nkuleke
Ndiguma wamu naawe, wamu naawe eeh

Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale
Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale

Nga ntendewaliddwa mpambaatira aah (aah)
Nga ne lwentubidde nkulinda alina amaanyi eeh (aah)
Ku gwe nakula
N’essanyu nafuna, hmmm
Ku bibyo kwembalira
Byebaŋŋamba bingi ekikyo kwembalira, eh
Sijja kusuubiza bingi byesiyinza, mba nkulimbye
Nandyekaniikirira nenneewanika nennemwa, mba nkunyiiza

Ku gwe nakula
Nkusaba let it rain
N’essanyu nafuna
Omukwano gukule
Ku bibyo kwembalira
Byebaŋŋamba bingi ekikyo kwembalira
Omukwano guwangaale
Ku gwe nakula
Nkusaba let it rain
N’essanyu nafuna
Omukwano gukule
Ku bibyo kwembalira
Byebaŋŋamba bingi ekikyo kwembalira
Omukwano guwangaale
Ku gwe nakula

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin