Ky’ekyo kye nasuubiza nga ŋenda
Ndwayo gye mbifumbira
Nsobole okujjula ebirungi
Kyemuva mulaba mumpaana
Munkubira obugalo n’enduulu
Esiima ebintu ekkula
Ntya nnyo ogabattuka ng’ekisolo
Ne ndeeta ebintu ebitayidde
Mu mmwe abampa money
Muli bakama bange nsiima
Mufollowinga nnyo ennyimba
Ze mbawadde muli benkanya
Musabe nnyo Mungu mbeewo
Kataligirya luliba olwo
Mutambule nga mujja mundabe
Kuba mumpadde amaanyi nsiima
Ekiseera kye nnyimbye
Mundaze okusiima kindaga ekkubo
Nakati ninawo yiino ensonga
Bwe nasuumukamu ne ntegeera
Eby’ensi enzunza omutwe
Lwaki abaagalana bangi?
Omu bwakyawa n’ajulanga kwera munne waayise?
Ekintabula bw’abuuliriza ne bamugamba
Omukazi gwe wakyawa ayagala Jimmy
Ate bw’atabuka adda eno, adda eri
Sso nga yatunyumiza bwe yamukyawa era tamwagala
Kuba kwekaza nze ŋamba okukasuka eggumba
Kw’omaze ennyama enkya n’olirondayo
Kyerondera ekirungi baabyogera
Ne bw’owaaba alonze kye wasuula nga tokyagala
Kye nva mbagamba bwenti kyerondera
Alonda kye wasuula taba na nsobi
Munnange tabeera mubbi nkusaba oyige
Wamuleka omukooye leka beerage
Kyenva mbagamba bwenti kyerondera
Alonda kye wasuula taba na nsobi
Munnange tabeera mubbi nkusaba oyige
Wamuleka omukooye leka beerage
Omanyi ekivaako oluusi obuzibu kwetyetyeggula
Nga buli lwe muyombye obinyumya
Lwe mutabukamu n’obyasanguza
Abaagalana sso bibeeramu ebyo lwa butoogera
Kale bye weewera ebyo nkuseka
Byogenda oyogera oyo namukyawa sikyaddira
Lumu oliwemuka ng’osooba gwe wagamba
Obutaddira ekisonyiwa olikisaba otya?
Kyova olaba abamu bw’akyawa lwe beddira
Babeera mu kkukuta olw’ebirayiro enkumu
Bye beeyogezanga eri abantu bimuswaza
Okumusanga gwe yavuma ng’amweyisa mummy
Olulala olisanga byacankalana gwe wali oyagala
Nnamba yo erimu ate omulala omupya
Otandike na kwekalakaasa
Gwe wayita kasasiro bamuyodde ate oyomba
Kale kyenva mbagamba bwenti kyerondera
Alonda kye wasuula taba na nsobi
Munnange tabeera mubbi nkusaba oyige
Wamuleka omukooye leka beerage
Kyenva mbagamba bwenti kyerondera
Alonda kye wasuula taba na nsobi
Munnange tabeera mubbi nkusaba oyige
Wamuleka omukooye leka beerage
Ekintu kwewera ng’okyawa kibeera kya bulabe
Beera n’emmizi kibeere kyama kyo
Kuba lwemweddira ani alibanenya?
Nga kyakoma ku mmwe nemutabuuka kisenge
Beesibya ppaka mu makomera
Naye oluvaayo ate eyamusibisa ng’amuyita honey
Ebigambo bikubeere ebitono teweeyesanga ennyo
Mwana wa ssebo ojja kuswala
Kintu kukyawa nga kizibu daddy!
Kisaana mutima nga mugumu nga jjinja
Kye nva nkugamba kuuma ebyama
Teweeweranga ennyo ekintu mukwano nga kizibu oyiga
Omulala bw’omwagala ennyo afuuka
Afunamu n’endowooza y’abakwagala
Mbu baamala bula
Waatandikira awo nno ejjoogo
Alowooza yakuwangula avulugira awo nga kireera kye
Naye lw’ofunayo ate omulala
Atandika kuyigganya olwo lw’alaba nti onyirira
Kyenva mbagamba bwenti kyerondera
Alonda kye wasuula taba na nsobi
Munnange tabeera mubbi nkusaba oyige
Wamuleka omukooye leka beerage
Kyenva mbagamba bwenti kyerondera
Alonda kye wasuula taba na nsobi
Munnange tabeera mubbi nkusaba oyige
Wamuleka omukooye leka beerage
N’okwemanya obulungi nsonga
Eremesezza ddala ddala ekintu mukwano
Ŋamba ba mummy
Buli lw’oyita naye mu luguudo
Bw’awulira omuwendo gw’abamusiiya
Gwe akulaba bbule
Takulabawo era akugaya
Abakubi b’olwogo olwo muwabisizza abantu
Olube lw’akubirwa ng’awaanwa ffiga
Lwe lumufuula afuukane mu mbeera
Bw’omugambako awo n’aboggoka
Taata Rose eky’okuba wano mba nkujuna
Tunuulira akayumba mw’onkaagira
Ku bulungi bwe ndiko nsaana maka ga ttegula
N’ogumira mu mbeera ey’obugubi
Atuuka n’okusalira ennaku mu mwezi zoonolabwa
Leero twajjirwa n’enviiri nsonga
Lwe zaaba zaakoleddwa eby’obufumbo wiiki eba nfu
Takwatwa mu mutwe mbu olwo oziggyayo
Ekiyontayonta n’osula nakyo nga muwuulu
Nkubira mbasuulayo era akantu abajooga bannammwe
Mukomye empisa ezo envundu
Ssibuli lukya nti ebeera Juma
Ssebo lulikya lumu akukubeko awo omulala
Yenze Kazibwe ataggwa bigambo
Mpozzi erya Kapo ndifunye mu mmwe bawagizi
Kanfune ezigenda e Ŋŋando
Amayisa g’ekibuga ssi kulwa nga nange ganziingako
Kyenva mbagamba bwenti kyerondera
Alonda kye wasuula taba na nsobi
Munnange tabeera mubbi nkusaba oyige
Wamuleka omukooye leka beerage