Luwangula Kristu omuzira
Amegguzza sitaani olwaleero
Leero tununuddwa
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia

Olwaleero twenyumiriza
Anti walumbe asingiddwa
Olwaleero tumukulise nnyo
Kristu awangudde

Luwangula Kristu omuzira
Amegguzza sitaani olwaleero
Leero tununuddwa
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia

Eggulu n’ensi bisagambiza
Lwa Kristu oyo omwagazi
Eyafa luli ku musaalaba
Leero azuukidde

Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia

Madalena akedde n’abalala
Ku ntaana bazze okuziraga
Babuliddwa anaggyawo ejjinja
Sso Yezu yagenze dda

Luwangula Kristu omuzira
Amegguzza sitaani olwaleero
Leero tununuddwa
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia

Bakazi mmwe munoonya ani?
Tunoonya Yezu eyaziikiddwa
Taliimu muno anti takyali mufu
Yezu azuukidde
Mugende mugambe era abatume be
E Galiraaya gyebaba balaga
Bamusangeyo gyeyabeesoose
Anti bweyayogera

Luwangula Kristu omuzira
Amegguzza sitaani olwaleero
Leero tununuddwa
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia

Emirembe ku mmwe gibeere
Nze nzuuno mwene temuntya
Kambalage ebibatu n’ebigere
Anti nzuukidde

Luwangula Kristu omuzira
Amegguzza sitaani olwaleero
Leero tununuddwa
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia

Olw’okuba ye okuzuukira
Nga n’obwaffe bukomye ku nsi
Tuli bagumu tulizuukira
Alleluia

Luwangula Kristu omuzira
Amegguzza sitaani olwaleero
Leero tununuddwa
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa
Alleluia

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin