Nkukedde ku makya Nayiti
Nasuze bubi ewange eky’eggulo tekyaliise
Nkukedde ku makya Nayiti
Nasuze bubi ewange eky’eggulo tekyaliise
Nze ne mpammanta mu mutima oba
Nkukwatako Nayiti ate nga wagenda dda
Ne nzijukira n’engeri gye twalimu
Maama ng’oli mu maka gange
Sso nga n’okugenda kwo mw’ekyo saakunenya
Namanya bwali busobya bwange
Mutye sitaani wa kyejo
N’emitego gye emingi agissa mu maka gaffe
Kale buli lwe tubaako ttabbu
Akantu akatono ennyo kasattula amaka gonna
Bwe ŋenda ne ndowooza ebyo
Ntabuka omutwe nga nfudde nadda wa leero?

Nsaba weekubemu mu mutima
Mwana wa nnyabo Nayiti odde mu maka gange
Wadde waaliwo ennyombo byali bya kito
Kati nkuze komawo ofumbe
Eby’okusajjalaata ebyo
Eby’ekivubuka nabikomya gira tube ffembi

Njagala ojjukire nnyo Kasule wampisa bubi
Munnange wali tonneetaaga
Era n’osalawo mw’ekyo okufunayo
Nankya eyali akusaanidde
Mazima n’ombonyabonya nga ninga
Atalina waffe eyajja ewuwo mpakase
Ng’oluusi osanga n’omukozi ewa mukama we
Bambi nga bali bulungi nnyo
Nga wanjuliza bingi mbeera mulalu Nayiti
Okudda mu maka go omwo
Ani alikutuulira mu bulumi osanga batono
Ennaku zino nali ŋumye kyokka
Nze bwe nakulaga ekkwano
Muli n’olowooza nti nze nali ndibye wonna

Kati nafunayo nange andabirira
Obulamu labayo sikyegomba
Ndimuweera ki Paatu eyanzigya mu bulumi?
Nsaba bulamu bwokka
Gwe Kasule ogira onoonya bw’olifunayo omundi
Ndaba tuli bangi nnyo

Ogubula eyeguya Nayiti mwana muwala
Ogumanyi nga bwegutawangaala
Ate nga bulijjo akugoba
Y’akuwa amagezi wampa n’ekitangaala
Kuba okuva lwe wava ewange
Ebintu njize bingi nga biva na ku gwe ate
Era ne nkitegeera bwenti nti okujoogajooga
Okwo obufumbo kubwonoona
Ne kaabuvubuka omungi ng’amalala
N’obwenzi ssaako n’okunywa ku ddwa
Okwo bw’ogattako na kino eky’olugambo
Lw’abangi buli omu n’akuseetulira
Nga mw’abo mulimu ayagala otabuke
Ne munnoowo obufumbo bufe asanyuke
Bwe ŋenda ne ndowooza ebyo
Ntabuka omutwe nga nfudde nadda wa leero?

Nsaba weekubemu mu mutima
Mwana wa nnyabo Nayiti odde mu maka gange
Wadde waaliwo ennyombo byali bya kito
Kati nkuze komawo ofumbe
Eby’okusajjalaata ebyo
Eby’ekivubuka nabikomya gira tube ffembi

Mazima kizibu nnyo Kasule nze okudda
Mu maka go omwo bwe mba sikukwekerera
Mazima kizibu nnyo Kasule nze okudda
Mu maka go omwo bwe mba sikukwekerera
Kuba weeraga eryami n’okusajjalaata
Nga buli gw’oyagadde okwo
Wamma bakyala bannange saali musobya
Wabula kyava ku baze wange
Ddala bwe yalaga obwami ng’obusajja bwe
Kitawe abwoleka mu lwatu nnyo
Wadde kiri mu butonde naye kata tondaga
Sirumwa buba bukodyo bwammwe
Naye k’ondaga omukazi omanya bumanya
Nti oyo tukubagana ffembi
Kye nava nkwatibwa essungu
Ne mbisibamu ebyange mbizze mu bazadde eka
Wayita mmeka ate nno
Nafunayo omundi na kati tuli ffembi

Kati nafunayo nange andabirira
Obulamu labayo sikyegomba
Ndimuweera ki Paatu eyanzigya mu bulumi?
Nsaba bulamu bwokka
Gwe Kasule ogira onoonya bw’olifunayo omundi
Ndaba tuli bangi nnyo

Naye, nsaba weekubemu mu mutima
Mwana wa nnyabo jjukira odde mu maka gange
Wadde waaliwo ennyombo byali bya kito
Kati nkuze komawo ofumbe
Eby’okusajjalaata ebyo
Eby’ekivubuka nabikomya gira tube ffembi
Kati nafunayo nange andabirira
Obulamu labayo sikyegomba
Munnange mmanyi nasobya
Ndimuweera ki Paatu eyanzigya mu bulumi?
Nsaba bulamu bwokka
Naye kati nnyabo sonyiwa
Gwe Kasule ogira onoonya bw’olifunayo omundi
Ndaba tuli bangi nnyo
Sonyiwa, sonyiwa, sonyiwa
Munnange sonyiwa
Eeeh nsaba weekubemu mu mutima
Mwana wa nnyabo jjukira odde mu maka gange
Wadde waaliwo ennyombo byali bya kito
Kati nkuze komawo ofumbe
Eby’okusajjalaata ebyo
Eby’ekivubuka nabikomya gira tube ffembi
Kati nafunayo nange andabirira
Obulamu labayo sikyegomba
Munnange mmanyi nasobya
Ndimuweera ki Paatu eyanzigya mu bulumi?
Nsaba bulamu bwokka
Naye kati nnyabo sonyiwa
Gwe Kasule ogira onoonya bw’olifunayo omundi
Ndaba tuli bangi nnyo
Sonyiwa, sonyiwa, sonyiwa
Munnange nnyabo sonyiwa

Gwe Kasule ogira onoonya bw’olifunayo omundi
Ndaba tuli bangi nnyo
Sonyiwa, sonyiwa, sonyiwa
Munnange mmanyi nasobya

Gwe Kasule ogira onoonya bw’olifunayo omundi
Ndaba tuli bangi nnyo
Nze nasobya, nasobya, nasobya
Bannange kale sonyiwa

Repeat till fade

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *