Kola Bibyo Lyrics – Jaffer

Every time I hear you talk about me
You can never lemme live my life yeah
Every ting I do you put it down, why?
Why?
Be!!
Lord have mercy
Why?
Yeah yeah eeh
Yeah yeah

Buli mutaka nti n’omukisa gwe
Wambwa magumba
Wambuzi ate ye malagala (aah ah)
Wankoko mu nfuufu, akanya kutakula
Wammese alinda mu nnyumba (aah ah)
Sso nno mwattu naffe bwetutyo
Nze mwenfunye wandigezaako
Ate gwe n’osalwa (eh yeah)
Embeera y’ensi mwattu bwetyo
Laba ate mw’ofunye
Nandigezaako ne bisala (aah ah)
Ebintu by’ensi byadobonkana
Dunia kacwano fenna tuli mu aganaga (aah ah)
Omulimi asaba nti etonnye
Ng’ate omutembeyi egyo giba miranga (aah ah)
Kuva edda n’edda mwattu bwetutyo
Tetulikwatagana bikolwa na birowoozo, eh yeah
Ggwe ali mu kuvuluga
Enkola yange kiki ggwe ky’obala?
Nze gw’osimaasima
Sirina budde bwo eby’okukola bingi nnyo (yeah)
Ggwe alina amagezi amangi ennyo
Oli mu ppokoppoko eno obudde buyita, aah ah

Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe
Buli kimu kye neetaaga
Okukifuna zijja kubeera ntuuyo zange
Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe (eh yeah)
Buli kalungi ako ku nsi
Okukafuna gijja kuba mikono gyange
Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe
Nina ebirooto bingi nnyo
Ng’ate n’ennaku eza kuno tezirinda

Nkolerera kuba bulungi
Kuba omusanyufu fenna
Ku nsi kye tunoonya (aah ah)
Kkiriza kiribeera
Olaba nawolovu y’atuuka e Kampala
Bbugubbugu teguba muliro
Okwagala eby’amangu kisudde bangi nnyo
Eno ensi ya madaala
Ali obulungi kati y’aliko nga bwendi kati
Zino engalo tezenkanankana
Eby’okuvuganya mukwano ssibiriimu nze (aah ah)
Ndi mugumu ndi mugumiikiriza
Anti kamukamu enkeera ky’ekisaaganda ka ntereke
Ggwe ali mu kuvuluga
Enkola yange kiki ggwe ky’obala?
Nze gw’osimaasima yeah
Sirina budde bwo eby’okukola bingi nnyo
Ggwe alina amagezi amangi ennyo
Oyogera nnyo eno obudde buyita, aah ah

Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe
Buli kimu kye neetaaga
Okukifuna zijja kubeera ntuuyo zange
Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe
Buli kalungi ako ku nsi
Okukafuna gijja kuba mikono gyange
Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe (ebyo)
Nina ebirooto bingi nnyo
Ng’ate n’ennaku eza kuno tezirinda

Kati kola bibyo
Leka nkole naawe eby’ensi tomanya
Okukola ssi bigambo
Nti asinga okwogera y’asinga okufuna ensimbi
Kaseera ka kusimba
Leka nsige ebirime olidda mu makungula aah
Kati kola bibyo
Leka nkole naawe eby’ensi tomanya
Okukola ssi bigambo
Singa Tamale y’asinga ebizimbe ebingi
Kye tulimu kumeggana
Ndeka nkole obudde obugenda tebudda, aah ah

Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe
Buli kimu kye neetaaga
Okukifuna zijja kubeera ntuuyo zange
Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe
Buli kalungi ako ku nsi
Okukafuna gijja kuba mikono gyange
Nze nasalawo nkole ebyange
Nkusaba, kola bibyo naawe
Nina ebirooto bingi nnyo
Ng’ate n’ennaku eza kuno tezirinda

Submit Corrections