K’okirabe Lyrics – Mathias Walukagga

Yaled

Yeah
Reign nnyumiddwa
Maulana owulidde otya?
Eno endingidi nkambwe nnyo

Ground yajja neekusuuta
Bwe wali oli musawo
Ng’abalwadde tobajuza
Ng’okwata obudde olina care
Nga n’empiso zo tezibaluma
Ng’ate oli wa layisi
Clinic yo n’eganja
Nga bawona baleeta n’ebirabo
Okuva e Bweya n’e Bule
Buli alwadde n’akweyunira
Nga bayimba musawo aliko
N’obudde bw’okulya ne bukubula
Gye baakoma okujja mu bungi
Ate gwe kwe kumera amalala
Ssaako okweyita omugezi
Ng’obaboggolera n’okuvuma
Ensi yonna olwakuwaana
Omulamwa n’ogubuuka
Ng’obudde ojja bw’oyagala
Ate n’obalaga nti teweetonda
Obadde ombuuza ekyakukyaya
Abalwadde obutakyakulaba he!
Kasita wava ku mulamwa
Ne tumera ebiwaawa ne tubuuka

K’okirabe
Wafuna amalala omulamwa n’oguvaako
Ffe twamera entondo
Bakaasitoma bo
Omusoga akoba k’okibone
Wafuna amalala omulamwa n’oguvaako
Ffe twamera entondo
Ekyo ky’ekyatubuusa

Ekyakukyaya omufumbi w’emmere
Wabitandika obega nnyingi
Akatungulu n’essamuli
Nga n’okwongeza tekikuluma
Bakaasitoma mu kuggya abangi
Nga tokyasiika ne wefumba
Ne k’obega ne keeveera
Ne kaba ng’akatega ddala emmese
Gwe owa takisi ekyakukyaya
Mu kusooka yali nnyonjo
Ow’engoye ka zibe njeru
Nga zivaamu ziri clear
Walinga ovuga mpola
Nga ne bwe wajja endala k’ebe nkalu
Nga bagamba tulinda ya Musa
N’obwana tulinda ya Muca
Awo n’omera obwebindu
Takisi nga tokyagyoza
Speed mu makoona n’odiima
Okujja otwewanisa emitima
N’okuduuluka n’okuyiga
Atayagala ngeri gye mbavuga
Agende avuge eyiye
Nakoowa amateeka g’abaavu
Kati abasaabaze baakubuuka
Ne takisi ovuga nkalu
Tolina njogera na mpisa
Otandise na kugenda mu basawo

K’okirabe
Hmmm ground y’ekuleeta
Era bwe wepanka y’ekuggyawo

Munnabyabufuzi gwe
Bwe wali osaba okukulonda
Ensonga kwe wasinziira
Watugamba kizibu ozivaako
Olwatuuka ne wefuula
Nga towakanya ate nga toteesa
N’oswaza baakulonda
Emmandwa Kirya ng’emaze okukulinnya
Empungu mw’etalya mu bire
Baakulinda madda wansi
Baali bali awo nga zireese ho!
Ne balonda akuliraanye
Omuyimbi yanguwa onziremu
Wasooka n’otulasa omukiri
Naffe ne tukwagala bitya!
Ng’agukoowa y’ateguka
Bwe wadda twakeera okujja
Okusinga bwe twali olulala
Wajja weesunye ebyenge
Nga n’embwa ogiyita eŋŋwa
Watuuka na ssaawa munaana
Nkugambye ne weekola obusolo
N’ogattako okuvuma abaliwo
Ani amanyi okuyimba ku mbwa mmwe?
Kati wakyayibwa abantu
Olw’omulamwa okugukongokako
Bapulomoota baakukuba ddolera
Ne ground tekyakusubwa
K’okirabe

Hmmm
Omuzimbi ekyakukyaya
Okusooka wali mwesimbu
Nga toliimu bya ngalo mpanvu
Wazimba n’ogumya n’owoomya
Mu kukwettanira abangi
Ko ggwe kankube bi ffala
Ng’ozimba nkole mmale
Nzimba eri enkya nzimbe n’eri
Ng’ozimbisa abakyayiga
Ne cement n’omusoma
Kati ennyumba tebakyazikuwa
Obadde ombuuza ekyakukyaya
Makanika wansobera
Okugyabiikiriza kwakusukka
Osaba ssente eza spare
Ne nkwesiga ne nzikuwa
Ne ntambula ne ŋenda
Ekyuma ky’ondaze nti ky’ekivaako obulemu
Bwe nkukuba omugongo
N’okizzaamu ne wesaanya
Olisimbula n’ekwaama
Ddala nga lwaki ssikukyawe?
Wapalappalanya ne we palappalanyizaamu
Wettira akalimo
Paasita ekyakukyaya
Watuuka n’otuuba hi!
Ekyali eky’ekkumi
Ate emiwendo ne gyekanama
Ebintu bya Mukama
N’obigattamu obungodiira, ha!
Mbu n’endiga n’oziganza
Kinyoozi ekyakukyaya
Watandika osala n’onyiriza
Aftershave n’osaaba
Ne ka scrub n’okuuba
Gye twakoma okujja mu bungi
Ng’omala gga, hmmm
Okwemanya kwakusukka
Kati twadda mu Nyendo wa Baker
Nkutte mu lw’engabi
Mayor Kyengera Town Council
Mwebale akalulu
Ggundaggunda Magulunnyondo

Submit Corrections