Kiwengeneku Lyrics – Kazibwe Kapo

Ekyombo kizze mwesettinge
Ndi ku operation take away
Owa sigala fuuwayo gumu
Mujje mbatwala mu nsi yaffe (ebiwengeneku)

Kano nakakubidde ba kataala
Abantu ba zolo oba ebiwengeneku
Navudde ku planet ndala nnyo
Natuuse jjo nga nkimye ebiwengeneku
Ssaabawengeneku yannonze
Nzije e Uganda nnondemu ebiwengeneku
Sigambye nti wuuli ky’ekiwengeneku
Naye abasinga mu nsi eno biwengeneku
Ŋŋenda okubalaga kati ebiwengeneku
Nammwe munnyambeko tubikuŋŋaanye

Bw’oba omanyi omukyala nga mufumbo
Najja agaba akanamba oyo tobuuza (kiwengeneku)
Omusiraamu okola mu bbaala
Aba takyali muntu wabula ekyo (kiwengeneku)
Omwami alinda omukyala zaakoze
Nadda mu bbaala n’azinywa zonna (kiwengeneku)
Gw’agenda ku mbaga nga toyitiddwa
N’ogeya n’ennyama mbu teyayidde (kiwengeneku)
Gwe azaala omwana ate n’omusuula
Yambala tugende toli muntu (kiwengeneku)
Ne mu dance ebeerayo ebiwengeneku
Azina yeegaala tabeera muntu (kiwengeneku)
Oli mu sun goggle nga buwungedde!
N’olumba n’ekidongo nga bukutte (kiwengeneku)
Gwe ayeebaka nga tonnaba kunaaba
Ŋŋenda kulumbayo nkubattule empi (kiwengeneku)
Ne mu bwana obuto erimu obuwengeneku
Bwe kaba kakyafuka ku myaka mwenda (kiwengeneku)
N’eyaggyamu ku lubuto kiwengeneku
Naawe nkuzzaayo mu nsi yaffe (ebiwengeneku)
Nange abayimbira nno ndi kiwengeneku
Muka muliraanwa nze namutwala

Ekyombo kizze mwesettinge
Ndi ku operation take away
Owa sigala fuuwayo gumu
Mujje mbatwala mu nsi yaffe (ebiwengeneku)
Anywa crude naawe ky’ekimu
Tumya akasembayo ojje tugende
Naawe ayeereega siba engugu
Mwenna mbatwala mu nsi yammwe (ebiwengeneku)

Baur

Bwoba nga weemanyi nti oli kiwengeneku
Tolinda bya kukoonako tugende
Ensi yaffe gy’eri ey’ebiwengeneku
Lwaki olemera eno okukijjanya ensi?
Omukyala emyaka oba y’akusinga
Omuntu awasa omukadde taba muntu (kiwengeneku)
Akwana mulamu wo oba onoonya ki?
Ndaba bafaanana abazaala y’omu (kiwengeneku)
Omufumbo agula malaaya olimba nnyo
Yambala tugende toli muntu (kiwengeneku)
Oguze mmotoka tonnaba kuzimba
N’osasula ebbiri eza parking (kiwengeneku)
Mu bakuumaddembe eriyo ebiwengeneku
Ow’amawulire ekimukubya ki? (kiwengeneku)
Boda tukimanyi nti etikka omu
Bw’otikkako bana mba nkuyita ntya? (kiwengeneku)
Ow’omuziro gwo ki omuwasa ssebo?
Naawe amufumbirwa tobeera muntu (kiwengeneku)
Bw’obeera mu SACCO oba niigiina
Olukuwa ezizo notadda enkya (kiwengeneku)
Omuyimbi oyimbye ennyimba munaana
Nga ssi ggwe oggalawo kyokka enkuba ejja (kiwengeneku)
Bw’oba okubye hit nga ya Kadongokamu
Bw’odda mu ragga gwe atategeera (kiwengeneku)
Ekyandeese balaga biwengeneku
Njagala tuve wano nga tubitegedde
Waliwo anywa walagi n’azimba n’amatama
Olumugambako n’akuvuma ate (kiwengeneku)
Towalana omuzadde eyakuzaala
Ne bw’aba mu nsobi n’omuvuma gwe (kiwengeneku)
Muzeeyi ayagala obwa uniform
Nnende nkuzaayo mu nsi yaffe (e Buwengeneku)
Bw’oba nga malaaya omuwa omunaana
Kyokka ng’abewuwo olumu basiiba (kiwengeneku)
Omukyala gw’olina omu akusibya empale
Bw’okwana omulala mba nkuyita ntya? (kiwengeneku)
Emipiira gy’abazungu osiba n’ennusu
Kyokka Onduparaka togitegeera (kiwengeneku)
Osabye Mukama obugagga n’obukwasa
Ate obunyweza n’odda ku baganga (kiwengeneku)
Leka ŋŋende ntwaleyo ebiwengeneku
Ebisigaddeyo mubikuŋŋaanye (ebiwengeneku)
Atalina ndagamuntu wamma tofaayo
Ŋŋenda bafunira endagbiwengeneku

Sabula

Ekyombo kizze mwesettinge
Ndi ku operation take away
Owa sigala fuuwayo gumu
Mujje mbatwala mu nsi yaffe (ebiwengeneku)
Anywa crude naawe ky’ekimu
Tumya akasembayo ojje tugende
Naawe ayeereega siba engugu
Mwenna mbatwala mu nsi yammwe (ebiwengeneku)

Ebiwengeneku
Ebiwengeneku

Submit Corrections