Maama
Maama we
Maama

Maama nsonyiwa ebbanga ggwanvu
Mmanyi nti gyoli eyo onninze
Nakugamba lwendidda, mu December
Bye nabala bifu era byafa
Ensi eno ogiraba nga bw’eri
Ebintu bw’obisuubira okuba ssi bwe biba!
Nkibalabalamu nzije maama
Akatono ke nina olye kw’ako
Kyokka n’entambula ogiraba, ssente nnyingi
Kyenteesa ez’entambula
Nze nsigale nzigatte ku buno
Buwereewereko nkuweereze olye kw’obwo
Nsigale eno nga mpambana naye

Kiri bubi era okusaba tusabe
Kiri bubi bwoba ng’osaba topowa
Mmwe kaleko naye eno muliro
Era yekka Katonda y’amanyi bwetuliba
Kiri bubi era okusaba tusabe
Kiri bubi bwoba ng’osaba topowa
Mmwe kaleko naye eno muliro
Era yekka Katonda y’amanyi bwetuliba

Tolaba bali, bali ba neighbour
Bo abaana baabwe mmanyi nti bajja
Ojja gamba bo abaabwe bakikola batya nze kyesisobola?
Bali bali bate, bo baamala
Kasimu kati, nga ssente afuna
Maama tobageza kuffe leka vva kw’abo
Ffe yadde okukola tukola
Naye embeera yakyuka eno
Abakola ekitono bebatufunamu
Ffe tubakolerera eno ensi yaabwe bokka
Kiri bubi maama

Kiri bubi era okusaba tusabe
Kiri bubi bwoba ng’osaba topowa
Mmwe kaleko naye eno muliro
Era yekka Katonda y’amanyi bwetuliba
Kiri bubi era okusaba tusabe
Kiri bubi bwoba ng’osaba topowa
Mmwe kaleko naye eno muliro
Era yekka Katonda y’amanyi bwetuliba

Ndowooza bingi
Ndowooza maama
Ndowooza ensi eno lw’eritereera, ooh
Ndowooza bingi
Ndowooza maama
Famire yange eribeera etya?
Ku nsi eno nga bw’ogiraba bw’eri
Naye maama nsaba, ddamu essuubi
Mukama, ali naffe
Wadde nga embeera eyo bw’etyo
Twesige oyo atalekerera babe, naye

Kiri bubi era okusaba tusabe (kiri bubi maama)
Kiri bubi bwoba ng’osaba topowa (kiri bubi gyetuyita)
Mmwe kaleko naye eno muliro (mmwe kaleko)
Era yekka Katonda y’amanyi bwetuliba (kiri bubi, kiri bubi)
Kiri bubi era okusaba tusabe (kiri bubi maama)
Kiri bubi bwoba ng’osaba topowa (kiri bubi gyetuyita)
Mmwe kaleko naye eno muliro (mmwe kaleko)
Era yekka Katonda y’amanyi bwetuliba (kiri bubi maama)

Kiri bubi era okusaba tusabe (kiri bubi)
Kiri bubi bwoba ng’osaba topowa (kiri bubi, kiri bubi)
Mmwe kaleko naye eno muliro (ooh)
Era yekka Katonda y’amanyi bwetuliba

Submit Corrections
 

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin