Kirabo Lyrics – Ykee Benda

Wo yo yo yo yo oh
Wo yo yo yo yo oh

Ekirabo kiikyo
Wu yeah eh
Kraizy Kraizy pon di beat
Hmmm Ykee Ykee pon the scene
Nze ekirabo kye nina
Ekirabo kye nina aah

Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka
Gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange
Leka nkikwatulire
Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka
Gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange
Leka nkikwatulire

Emyaka musanvu
Nga gibadde miwanvu
Nga nnoonya nno buvumu
Mbikugambe mu lwatu
Ebbaluwa kasanvu
Ze mpandiise nno mwattu
Zannema okusindika
By’onkola muli biwanvu
Byannema okwogera kye nva mbiyimba
Amaanyi ganzigwa ne bw’olaba nsinda
Neeyogeza misana ttuku ndoota
Nti luliba olwo n’onzaalira n’omusika
Kambiwandiike mbikubire ku guitar
Kye nsaba mukwano gwe sengejja
Eddoboozi tolitya ssiryerisinga
Ggwe wulira ebyo byo nno byeriyimba

Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka
Gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange
Leka nkikwatulire

Mpaka Sound dis

Omukwano, omutima guyimba linnya lyo
Omukwano, ne ku bwongo najjuza bifaananyi byo
Oh mukwano, omukwano gunyuma nnyo
Ng’emitima gyogereganya
Omukwano
Uuh ky’ekirabo kye neetisse
Ekirabo kiikyo
Omukwano guugwo
Baby tofa ku nsabika
Ebigambo sirina bingi
Ekirabo kiikyo
Omukwano guugwo
Nkusaba tofa nsabika
Omukwano nina mungi

Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka
Gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange
Leka nkikwatulire
Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka
Gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule
Leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange
Leka nkikwatulire

Kraizy

Submit Corrections