Yiii ntendereza olunaku
Lwennava ewaffe e Ŋŋando ku nkuzi mbayimbire
Ate nammwe nemunjagala nnyo
Okuva ku kaasooka bambi mumpagidde mwebale
Nkubye obuyimba omuddiriŋŋanwa obunyuvu
Abaali bannyooma nebatuula mu bufoofofo
Ku luno oluyimba ononkooneramu
Ndutuumye kezaala abasajja abalina abaana
Mu bakazi kinnoomu
Olina obulumi era osula bubi nga nze
Ye lwaki abakazi betuwasa
Temwagala baana bemusangamu mu maka?
Ng’oluusi naawe wajja n’owuwo
Singa namuggobya mbuuza wandisanyuse?
Owoza kezaala
Kale buli mbuzi eddeyo ku nkondo gyeyava
Sigenda kwola ŋŋaaŋa
Obwana bw’emmese okukuza obwana bwa kkapa ŋŋaanye ah!

Naye abakazi mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
By’ondadiza daddy by’ebiki?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya
Kale mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
Ondadiza daddy by’ebiki ebyo?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya

Guno oba gw’asinga ani?
Ku nze n’omukazi oli eyandekera abaana
Namunona ewaabwe n’agaanirayo
Tayogera kituufu nsonga kweyava agende
Neŋŋuma omutima nemmwesonyiwa
Kko nze kasita abaana abandekeddewo
Saagala mwana akulira bukojja annyambye
Nempasa omugole empewo y’ekiro okugiwona
Nayongera mitawaana
Singa naguma nemba muwuulu mu ga Katonda
Yamala omwaka gwali na gumu
Naggyayo empisa ze eza buli kika zonna
Ffe engeri gyetutambula okupakasa
Mmala omwezi nga sirabise na waka
Nafunanga amasimu awo agankubirwa
Abaalina omutima ogulumirirwa nti ofa
Abaana bo omugole gwewalekawo mu holiday
Abakuba emiggo kyokka n’oluusi basula njala
Kyokka abakazi!

Mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
By’ondadiza daddy by’ebiki?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya
Kale mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
Ondadiza daddy by’ebiki ebyo?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya

Nasooka nennoonya bwembitandika
Kko nze kanfune ekisulo mbanonengayo okuwummula
Anti abaana baba n’eddalu
Bandiba nnyaabwe baamutenguye okubatuma
Nga nkyali eyo bwali kumakya
Nempulira alanga nti nno yalonze omwana
Ng’amannya ge, emyaka n’endabika ye
Bifaanana owange nenneekanga!
Kwekwata essimu awo nengiwulugumya
Mmubuuze abaana oba bali bulungi basoma?
Yanziramu mmala byenkola
Nfune akadde nje nkukubireko nkakuteme
Emisege gyo nno ogumu gw’abuze
Naye nkakasa gwefumbizza bufumbiza
Gwagenda luli nengulindako
Nga mmanyi gudda bwatuuka kukya nga siraba
Emyaka omwenda obwenda gy’alina
Asula atya ebweru gwe n’osigala nga weefuluutira!
Omwanange omuberyeberye
Nakazibwe Nifah oba abasezi b’eyo baamulya?

Naye abakazi mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
By’ondadiza daddy by’ebiki?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya
Kale mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
Ondadiza daddy by’ebiki ebyo?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya

Kazibwe eby’okukyala kampummulemu
Kuba abakazi munnemesezza abaana
Nze atalina maama ani alibalera okubakuza?
Nti oba mutwalire jajja we?
Kuba omukazi kasita amanya
Nti olina ssente ye akikola nga ddiiru
Bw’aba n’omwana ofuuka dduuka
Osasula ennyumba mbu nno abaana bo mwebasula
Wabula ekyennyamiza
Kugifuula loogi anti alindiramu balenzi be
Ezokameeza zo owa zampaka
Lw’omissinga FIDA n’edduka okukunona
Bakulu mwonoonye amazima mu maka mbabuulire!
N’anobye olw’omwejo n’omunsibako okumulabirira
Atakikola nsiimye nnyo
Okuuma abaana bewasangamu obutajula
Nammwe abaami kembasuulayo
Ofunanga akadde nga k’abaana kubawuliriza
N’eyanoba n’obalekayo
Ogiranga n’obalambula babeerayo nga babonaabona

Abakazi mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
By’ondadiza daddy by’ebiki?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya
Kale mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
Ondadiza daddy by’ebiki ebyo?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya

Abakazi mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
By’ondadiza daddy by’ebiki?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya
Kale mwakafa obubi
By’obonyaabonya abaana bikijjanye balo
Ondadiza daddy by’ebiki ebyo?
Nga benzaala eky’eggulo mbooko zebalya

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin