Nze naatera okutambuza ebigere
Nkutuukeko nfuuwe n’omulere
Kuba kati nfuuse na muwere
Omutima gwo gukuba kerere
Gubeera gumbuuza nazza gwaki gw’olumya?
Nze njagala kulaba mwagalwa
Nsiibye bw’omu gw’olaba
Nze njagala kulaba mwagalwa
Aliwa leero?
Omuggalanda waffe aliwa leero?
Hmmm aliwa leero?
Omuggalanda waffe aliwa leero?

Eno kerere y’omutima gwange
Enfuukidde ensonga mu nnyumba
Kerere y’omutima
Gubeera gumbuuza aliruddawa omwana?
Eno kerere y’omutima gwange
Enfuukidde ensonga mu nnyumba
Kerere y’omutima
Gubeera gumbuuza aliruddawa omwana?

Wafuuka askari w’obulamu
Wammanyiiza love by’ompembejja binzita
Eby’okunywa tebinkolera
Yeggwe akimala ate andeetera amaanyi
Tetuzannya kantuntunu
Nkweka nkukwekule mukwano saagala kkufiirwa
Ndabula abakwegomba
Abakwetega bakwenenye bakwesonyiwe
Kuba oli wange

Aliwa leero?
Omuggalanda waffe aliwa leero?
Hmmm aliwa leero?
Omuggalanda waffe aliwa leero?

Eno kerere y’omutima gwange
Enfuukidde ensonga mu nnyumba
Kerere y’omutima
Gubeera gumbuuza aliruddawa omwana?
Eno kerere y’omutima gwange
Enfuukidde ensonga mu nnyumba
Kerere y’omutima
Gubeera gumbuuza aliruddawa omwana?

Nkusaba bwoba oli eyo
Tulowoozengako oyanguwe okudda
Mulirwana ayomba nnyo
Mbu kkerere emususseeko
Ate nange nenkaaba
Ngumiikiriza naye bwenkumisinga bintabukako
Nkusaba ojje ondabeko
Nange nkuwe omukwano gwenterekedde
Emyaka gyessikulabye nnyaabula

Aliwa leero?
Omuggalanda waffe aliwa leero?
Hmmm aliwa leero?
Omuggalanda waffe aliwa leero?

Eno kerere y’omutima gwange
Enfuukidde ensonga mu nnyumba
(Kerere y’omutima)
Kerere y’omutima
Gubeera gumbuuza aliruddawa omwana?
(Omwana aliwa?)
Eno kerere y’omutima gwange
Enfuukidde ensonga mu nnyumba
(Kerere y’omutima)
Kerere y’omutima
Gubeera gumbuuza aliruddawa omwana?
(Omwana aliwa?)

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *