Kazimba Mu Lumuli Lyrics – Livingstone Kasozi

Nzize mukwano gwo tunyumye emboozi
Anti mukimanyi seekomomma
Nze buli kye ndabye ng’era ndeeta
Mulisiima luvannyuma ng’ate nfudde
Obwedda sikimanyi nti oba ntuuka
Nzije mbateereko emboozi empya
Wabula nsanyuse nnyo mwenna abange
Kuba luno eyankedde leero musajja
Gwe akyali emabegako singa otuuka
Kubanga bino bye nnyumya siddirira
Kasita onoobisubwa tojja kubuuza
Ku luno ebintu bye nnyumya byonna bituufu
Nali sikimanyi nti oba Stone
Ndituuka nange wendi kati
Mazima ne mbayimbira nga mutudde
So nga nze nava buto ng’era njiiya
Kati no zisabusolo ntumbudde
Ananeŋanga ku luno ani?
Nzize okwanukula ebyayogerwa
N’amazima tugaggyeyo essaawa eno

Kubanga bwe nasirika mwawulira
Ng’oli aneefubako okunsuula
Anyononere erinnya lino
Nze lye mpita nnyabo oba kitange
N’abamu ku mmwe eyo mwasanyuka
N’okumuwagira mwawagira
Nga kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ate nemutamanya ki kituufu

Ensi eno kye manyi bwe yali esooka
Tusoma ebyafaayo nga bigamba
Nti ensi yali nkalu yonna bbanga
Nga tewali wadde oba ekissa omukka
Katonda n’akiraba ng’ensi eswadde
Kwe kutonda ebimera okugiyamba
Omuntu n’amukola nga ye asusse
Ng’ebinyonyi n’ebisolo byonna bibye nti
Bwe yamala n’assaako wonna seal
Buli omu n’amugerera kyalifuna
Tewali alisingawo keebe essaawa
Bwebeera yatuuse tewali kutaasa
Bwekityo ne mu nfuna oba ssente
Buli omu yamuteerawo kyalifuna
Kale k’okole ki gwe yawa obwavu
Nebwolitegana era ofa otyo
N’olaba agaggawala nga ye yaweebwa
Nti buli kyalikola kirifuna
Oyo kaatuule butuuzi nga zzo ssente
Zijja zimunoonya bwaba ali awo
Abamu bazifuna bw’aba ng’abbye
Abamu lwanyagako nga bakoona
N’afa nga byabbye tafunyeemu nsa
Kuba n’obubbi bulimu chance
Nze kati mazima newuunya
Omuntu omukulu okwewunza
Ba ssebo kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ekitatta muyima luliba olwo
Nammwe abalala mwebuuze
Ku sekannyolya n’eŋŋaali
Asinga omululu kwabo ani?
Munziremu kubanga nnyinze

Nze bwe nasirika mwawulira
Ng’oli aneefubako okunnoonya
Anyononere erinnya lino
Lye mpita nnyabo oba kitange
N’abamu ku mmwe eyo mwasanyuka
N’okumuwagira mwawagira
Nga kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ate nemutamanya ki kituufu

Nali nsula Kibuli ng’era nnyimba
Ne zijja zireeta omwami ono
Kyokka endabika ye nga yo etiisa
Embeera gye yalimu teyali ntuufu
Bwe yatuuka ewange teyalwa kukaaba
Ng’ajja ampitiramu ebizibu bye
Ng’era ne kyasaba asenge ewange
Ng’ewaabwe gy’avudde waliyo omwoto
Olw’ebigambo bye ng’ate ayiiya
Nga n’obuyimba bwe bwansanyusa
Kyenva nzikiriza nti oba owange
Kamuleke alivaamu ekirabwa
Weyatusangira boss oyo
Ffe twali tumaze okwenyweza
Nga mu nsangi ezo ssi kusaaga
Ffe twali tusinga amaanyi
Ekyo ky’ekyamutengula ajje ewaffe
Era yatandika yebwala
Nga mundabika ye ssi mutuufu
Okubeera mu grade ng’eno
Bwe ŋamba Katende oba Misagga
Cissy Nakku nange Kasozi abaasooka
Olaba bulabi go amaanyi
Twali tugalina obudde obwo
Kitalo nnyo bwe twalimu empagi baazaawa
Nze ne nsigala n’omwami ono
Nga ky’ajje amanyike mu mmwe eyo
Mukutte ku mukono mpalabanya nga kagaali
N’engoye ze yalimu ezasooka
Nga nze nkubiriza taata yoza
Wadde okunaabako kyebonere
Ng’ate asula mu nju ewange
Oh kati mazima newuunya
Omuntu omukulu okunswaza
Ba ssebo kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ekitatta muyima luliba olwo

Ebintu by’anjogeddeko bingi nnyo
Nakati antadde mu guitar andaalaase
Kusirika ssi butamanya namanya dda
Ng’agamba Lukwata yagisanga ekyali
Ne jjuuzi lwe yayimba ennimiro
Mmwe n’abakwatako mwamatira
Yewaana bwe yasomba essagazi
Mbu era n’agireetera obukuta mbu
Abaakikkiriza mbewuunya
Kuba mwakimanya ye mu kujja
Talina ke yaleetayo oba akuuma
Ne Lukwata yagisanga eradde
Bwe yali agubye ebitatendwa
Nga n’oluwumu lumulidde ttogge
Ndowooza mwamulabako boss oyo
Ng’amannyo gamulinga embazzi
Weyasulira ewange ha!
Awo bye nsirikidde bingi nnyo
Ninze lw’aliddamu okwepanka
Nina bye ntegeseeyo okwasa
Nze nga nagumira ebyekango
Ng’ekiro agugumuka yegaaya
Nga bwotaba musajja fugge
Enkeera omusibirako adde ewaabwe
Kyenva naguma naguma nze
Engeri gye baali bamaze okuŋamba
Nti ewaabwe yakolayo bingi nnyo
Nga n’e Buddu gye nava banjulira
Mu mazima naguma nze
Engeri gye baali bamaze okuŋamba
Nti ewaabwe yakolayo bingi nnyo
Nga n’e Buddu gye yava banjulira
Kati alimba atya ate ensi eno?
Ng’anjwetekako eky’obunafu
Nga ye ewaabwe gye yava bamukaaba
Nga n’enkoko zimudduka nga mmondo
Oh kati mazima newuunya
Okunjogerako ebitatuuka
Ba ssebo kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ekitatta muyima luliba olwo

Mu luyimba lwe olwasooka
Lukwata gye yatuuma ennimiro
Era yawunzika yewaana
Nti bwaliba agenze eriddamu kifuuke kisagazi
Nze eyamusenza omwami oyo
Mu luyimba lwe yansojja
Nti nze gwe yatuuma omunafu
Kyokka tategeera mwewuunya!
Kati agasseeko okwewaana
Ntino gye yasenga asobola
So nga namuyambako bingi nnyo
Okubeera gyali nga nasaggula nnyo ogusiko
Ebirime bwe yalaba nga bituuse
Olwo n’atandika okweswanta
Ng’ajja n’anywamu olwengenge
Lwe tuyita olulabyo n’ampogganira ebitatendwa
Nze bwe nalabanga asukkulumye
Ng’aleeta plan ze ez’ekyalo
Kyenva nkyusaamu obuufu ate
Neddireyo eri gye nasooka okulima
Yali akimanyi nti siriyinza
Laba antunuulira yewuunya
Gye yayagala wafuuke ekibira
Kati yiino egingimuka yetwala
Nga ne bye tulimye okubitunda
Abaguzi basigala bebuuza
Nange nwanye nnyo
Okwawula ŋaali ne sekannyolya ow’amaddu
Okuyiiya n’alimba yansinga
Naye nze njogera ekirabwa ensi
Mpozzi alimbe oli ataamulaba
Naye weyajjira yali nga kisodde
Oh kati mazima nebuuza
Okunjogerako ebitatuuka
Ba ssebo kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ekitatta muyima luliba olwo

Bangi ab’effitina mu nsi ng’ono
Awalana nga tamaze kwebuuza
Nti omuntu okufuna oba chance
Bitandikira wa bijje mu maaso
Bwoba watunudde eyo eka ewammwe
Waliyo ebikulaga kyolifuna
Nga biva ku bukojja oba butaata
Ebyenfuna bigoba kika ekirimu ssente
Ekika eky’obwavu kirimu akabasa
Kantangaazeemu eluuyi awo
Nti ne bwozifuna

Ekika eky’obwavu kirimu akabasa
Kantangaazeemu eluuyi awo
Nti ne bwofuna ezigula emmeeri
Era enkomerero ofa nga lucoolo
Beebo b’osanga ng’ate aduula
Bwaba azifunyeko ssebo wange
Bw’amala nagwa eri ng’ate akaaba
Nti tulabye ne lubaale mu kika ekyaffe
Mu butuufu emikisa gino girimu oludda
Nebw’olisamira n’odda enkya
Nga mu kika mwovudde mulimu obwavu
Ssebo wange olimba nnyo era ofa otyo
Kati no n’ekika ekirimu ssente
Omuntu avaayo omwewuunya
Nebwagaggawala tatera kuduula
Kubanga mwanamugimu tewali kipya awo
Beebo abazifuna ng’ate bato nnyo
Zo ne zimufuula eyeekolera

Beebo abazifuna ng’ate bato nnyo
Bo ne zibafuula abeekolera
Nga basinza musinze bwaba atuuse
Ng’akamuli mw’aziggya mpaawo kali awo
Muyinza n’okuba mwembi muli awo
Ku kalimu ke ŋambye akangungu
Nga mugabana kimu nga naye bambi
Ezizo oluzifuna onywamu nguuli
Oluusi n’abakazi olinayo bataano
Buli omu wamupangira akazigo ke
Olwo onofissa otya otuuke ate ono?
Ategeka akekkereza ng’ate muyiiya
N’ekirivaamu bw’olaba oswadde
Nga tolina k’olagayo ntino kano
Oliyiiya mpalana na kukiiya ono
Munno bwe mukola ategeka ebirabwa
Ndowooza ba ssebo tumaze obudde
Wabula kye ŋambye kyekwate
Lube lutindo lwo bwoba opakasa
Omuntu wa fitina tatera kufissa

Bw’olaba akusingako muleke bwotyo
Wabula ogezangako okwebuuza
Anti akataakule munziremu olwo
Kazimba mu lumuli ng’ate lukanga
Byebyo zisabusolo mbyatudde
Kasita musigadde mutegedde
Ninze lw’aliddamu okwepanka
Nina bye ntegeseeyo okwasa

Kubanga bwe nasirika mwawulira
Nga ye aneefubako okunsuula
Anyononere erinnya lino
Lye mpita nnyabo oba kitange
N’abamu ku mmwe eyo mwasanyuka
N’okumuwagira mwawagira
Nga kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ate nemutamanya ki kituufu

Oh kati mazima nebuuza
Okunjogerako ebitatuuka
Ba ssebo kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ekitatta muyima luliba olwo
Eh kati mazima nebuuza
Omuntu omukulu okwewunza
Ssebo kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ekitatta muyima luliba olwo
Eh kati mazima nebuuza
Okunjogerako ebitatuuka
Ssebo kazimba mu lumuli anfuukidde
Naye ekitatta muyima luliba olwo

Submit Corrections