Eh yeah yeah yeah
Eh yeah yeah
Eh yeah yeah yeah
Eh yeah yeah

Buli wummuza by’okola
Baby Deo nze ndeese
Mummanyi nnyimba bya masanyu (bya masanyu)
Ng’ate mulimu n’okuyiga (n’okuyiga)
Ah kati ndeese bya Kasuku
Wulira emboozi ya Kasuku ha!
Ono Kasuku yali alunda nte mu ttale yeah eh
Kwe kusanga akawanga k’omuntu nga yafa dda yeah
Ah laba bw’akakoonerera ssebo!
N’akakyusiriza (gwe)
Era n’akabuuliriza
Gwe Kawanga kiki ekyakutuukako?
Oh, kawanga yogera ki ekyakutta?
Ye lwaki tebakuziika gwe kano?
Kiki naye?

Akawanga ne koogera
Kaasooka ne kamugamba ssebo
Ekisinga okutta abasajja kyanzita woowe
N’abeeka tebaakimanya
Ensi eno, hmmm teriiko nnyiniyo
Leero bukya ng’oli mulamu
Luli n’obeera mufu
Gwe Kasuku, ekirikutta luliba lulimi lwo
Naye ojjanga n’ondabako munnange
Kale ne tunyumyamu (ha)

Hmmm Kasuku olwaddayo
Ng’akuŋŋaanya bataka
N’abagamba nva mu lusozi
Gye nsanze akawanga ne kannyumiza
Kali akawanga koogera
(Eh yeah yeah yeah, eh yeah yeah)
Baawakana ne bamugamba musajja gwe lwaki otufera yiii!
K’omu tugende koogere nga tuwulira nkuwe amataka
N’abalala baateekawo ssente zaali nnyingi ne bamugamba
Tugende koogere obe mugagga yeah
Naye bwekatoogera
Tujja kukusala omutwe todda nagwo!
Baawagala ebiso ne bamugamba tugende
Kasuku n’abagamba sure deal twambuke yeah
Kawanga baakasangayo n’abagamba ke kano (ke kano)
Ko bbo bw’okoogeza nga tuwulira obugagga bukujidde

Olwo nno n’afukamira n’akagamba
Kawanga nze munno wo Kasuku
Nze nzize nkubuuzeeko munnange
Bambi twogeremu ffe
Kawanga osiibye otya?
Kawanga twogeremu kko naawe
Kawanga ki ekiganye yiii?
N’akakoonerera n’akakyusiriza nga wa!
N’akapembereza kawanga yogera nga mye!
Olwo abasajja ne batabuka (ne batabuka)
N’ebiso ne babitabula
Gwe gundi Kasuku ne gamusobera
Ng’alaba ensi emufundiridde

Nga bw’akaaba kawanga yogera ki ekyakutta
Naawe olaba abasajja batabuse
Bambi yogera eh, akawanga kaagaana!
Kawanga jjukiramu gwe waŋŋambye
Oli wa ddembe okujja ne tunyumyamu
Kati nzize yeah, yeah yeah kaagaana

Olwo abasajja ne bamugamba
Tukuwadde eddakiika kkumi
Gwe gundi yogeza akawanga
Nga tetunakukinjaga
Tugenda kukutema emikono (emikono)
Tumale tuteme n’ebigere, yeah
Kati bwekatoogera, tukumalirize n’obulago (ha)
N’akagamba naawe owulira abasajja bwe bagambye
Kati nsobi ki gye nkoze ye?
Okujja tunyumyemu
Kawanga, yogera ekigambo
Waakiri ne bwe kiba kimu
Simanyi oba weebase muganda wange
Zuukuka oyogere yiii!
N’akakoonerera n’akakyusiriza nga wa! (nga wa!)
Hmmm n’akapembereza
Kawanga yogera nga mye! (nga mye)

Nga bw’akaaba kawanga yogera ki ekyakutta
Naawe olaba abasajja batabuse
Bambi yogera eeh, akawanga kaagaana!
Kawanga jjukiramu gwe waŋŋambye
Ndi wa ddembe okujja ne tunyumyamu
Kati nzize yeah, yeah yeah kaagaana

Kankunyumize ku bataka b’edda
Ssebo baali tebazannyirwako
Ekibonerezo kye bataddewo
Ng’olina okukiservinga
Nga bwe ziba mbooko ogabana
Hmmm oba okugoba ku kyalo
Kati Kasuku, baali baamugamba musanyaawo
Baamukwata ne bamutemaatema ng’alaba
Nga bambi akaaba kimu mwalindese ŋende yiii!
Kawanga lwaki ondekulidde yeah yeah?
Bwe batyo, ne bamutta ng’omubbi wa boda ha!
Baby Deo Star, kano ke kadde nsomese
Buno obubaka njagala bugende
Eri ku buli mdomo mdomo (ba mwa mwa mwa)
Buli muntu olina okubeera n’ebyama mu mutima
Ssi buli kintu ky’olabye
Nti olina okukijaajaamya
Omuntu n’oba n’ebigambo
N’oyogera bino n’oyogera biri! (biri)
Bajja bikutuuzaamu nga Kasuku
Bakkube n’amatama nga Kasuku
Bwe baamala okumutta
Baamuleka ngulu mu lusozi
Abasajja ababiri abaasigala emabega
Akawanga ne kabayita
Ne kabagamba

Eh, nga kitalo ekya Kasuku!
Mumuttidde mu bulumi!
Naye abadde n’amalala
Nze mbaddewo nga mmulaba
Ng’ate nali namugamba
Lulimi lwe lwe lulimussa
Ah kati ye n’awakana
Nammwe mugende mubagambe
Nti akawanga koogedde haaa!

Buli omu n’atunula ku munne
Aah gwe oba oyogera
Olowooza baakola ki?
Ah bw’obeera gwe okola ki?
Ono ye Baby Deo Star wo (eh yeah yeah yeah)
Mu Homeland Empire (eh yeah yeah)
Real Audio (eh yeah yeah yeah)
Producer Jonah (eh yeah yeah)
Tukiggale

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *