Wano mu nsi okimanyi
Awaba ekirungi n’ekibi
Obwo obulungi bwo amakula
Bukozese ng’ogenderera
Yakutonda, oli mulungi ng’osikiriza
N’ate bw’oba omuwala
Abasajja batega engalo buli gy’oyita
Baba n’obukodyo kikumi
Bakutengule ebyo mubimanyi

Kyenva nsanyuka n’ono omumbejja
Ankuumye talanta
Paka ku luno
Kawala kalungi obulungi bwo
Talanta gikuume ng’ekyatika
Nga tobalese bagizannyise
Bagifuule ekipapula
Endinikanyi mu ngule osaabane ebisooto
Eyaweebwa ebingi manya
Asuubirwamu bingi
Kuuma talanta eyo, eeh

N’omulungi alaba ennaku
Ebikemo biba bingi
Oluusi kabeera kato ka nnyabo
Naye ng’era, bakakuba akalimi
Nga kye banoonya
Bakasuuze engule yaako
Obulungi buba nga omubissi
Enjuki, n’ebiwuka biba bingi
Nga ne bw’ogoba, oba ng’abayita
Nkirabyeko nange

Kyenva nsanyuka n’ono omumbejja
Ankuumye talanta
Paka ku luno
Kawala kalungi obulungi bwo
Talanta gikuume ng’ekyatika
Nga tobalese bagizannyise
Bagifuule ekipapula
Endinikanyi mu ngule osaabane ebisooto
Eyaweebwa ebingi manya
Asuubirwamu bingi
Kuuma talanta eyo, eeh

Naddala abaana ab’obuwala
Mujje tuteese (tuteese)
Eno Team Talanta tozikiza ate (ate)
N’eyazaala ak’obuwala team y’emu (y’emu)
Ono akuumye talanta
Afunye engule leero
Naddala abaana ab’obuwala
Mujje tuteese (tuteese)
Eno Team Talanta tozikiza ate (ate)
N’eyazaala ak’obuwala team y’emu (y’emu)

Ono akuumye talanta
Afunye engule leero
Kawala kalungi no naawe
Talanta gikuume nno bambi
Tomala gagenda na bagenda
Tossa majaani ku buugi
Ekyo kirabo Katonda kye yakuwa
Waliwo ebisooto mu kkubo
Tambula bulungi tobigwaamu
‘Cause you got so much to gain
And you got so much to loose
‘Cause you got so much to gain
And you got so much to loose

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published.