Katujaguze tuyimbe n’ennyimba
Omwana wa ssebo Yesu azaaliddwa
Tugende mu kkanisa abalala mu Klezia
Gwe n’omulwadde ku kitanda osabirako
Katuyimuse amaloboozi
Tukube ebivuga ebya buli ngeri
Ne bw’okuba eŋŋoma yo omusaba akuwulira
Ne bw’osuna guitar gwe n’oyimba akukkiriza

Luno olunaku lukulu bannange olw’amazaalibwa
Buli calendar ne buli nsi erutukuza
Tujjukire alunaku omubeezi w’ensi eno
Lwe yajja ku nsi kuno n’atuukiriza ebisuubizo

Katujaguze tuyimbe n’ennyimba
Omwana wa ssebo Yesu azaaliddwa
Tugende mu kkanisa abalala mu Klezia
Gwe n’omulwadde ku kitanda osabirako

Luno olunaku lukulu nze nalumanya ndi muto nnyo
Kitange ne mmange baalukuzanga obutayosa
Twamuka mmindi ne tugenda mu Kkanisa ey’e Kasaka
Awo Wamala ne Nsaale ne babuulira

Katuyimuse amaloboozi
Tukube ebivuga ebya buli ngeri
Ne bw’okuba eŋŋoma yo omusaba akuwulira
Ne bw’osuna guitar gwe n’oyimba akukkiriza

Katujaguze tuyimbe n’ennyimba
Omwana wa ssebo Yesu azaaliddwa
Tugende mu kkanisa abalala mu Klezia
Gwe n’omulwadde ku kitanda osabirako
Katuyimuse amaloboozi
Tukube ebivuga ebya buli ngeri
Ne bw’okuba eŋŋoma yo omusaba akuwulira
Ne bw’osuna guitar gwe n’oyimba akukkiriza

Eyo mu byalo ne mu bibuga baba mu keetalo
Bano abakinjaaji ente oba basala mmeka!
Abatunzi b’engoye basula ku byalaani
Ku lw’amazaalibwa olabika otya ng’osiiwuuka!

Katujaguze tuyimbe n’ennyimba
Omwana wa ssebo Yesu azaaliddwa
Tugende mu kkanisa abalala mu Klezia
Gwe n’omulwadde ku kitanda osabirako

Tujjukire amazaalibwa ssi lwa binyumu byokka ebyo
Naye tumanye ekigamo kwagala
Yesu Omulokozi omwagazi w’ekisa
Yajja ku nsi kuno n’atufiirira mbajjukiza

Katuyimuse amaloboozi
Tukube ebivuga ebya buli ngeri
Ne bw’okuba eŋŋoma yo omusaba akuwulira
Ne bw’osuna guitar gwe n’oyimba akukkiriza

Oh Yesu
Jangu otulokole
Tuwulire ekigambo kyo
Leero lwa kujaguza
Oh Sekukkulu

Azze atusembeze
Ooh Omulokozi
Leero lwa kujaguza
Oh Yesu

Leero ge mazaalibwa
Leero lwa kujaguza
Tuwulire ekigambo kyo
Oh Yesu

Muwulire ebigambo bye
Tukkirize atulokole
Tukkirize ebigambo bye
Oh Yesu

Yesu omwagalwa
Tumusabe atusonyiwe
Tukkirize atulaŋŋamye
Ooh Yesu

Kuba atusanyusa
Azaaliddwa Omulokozi
Tugende mu Kkanisa n’Eklezia
Ooh Yesu

Jangu otulokole
Jangu otuluŋŋamye
Tukusabye otusonyiwe ssebo
Ooh Yesu

Leero kusanyuka
Buli wamu kujaguza
Nange kankuyimbire ssebo
Ooh Yesu

Gwe Mulokozi
Gwe musuutibwa
Jangu otusembeze
Ooh Yesu

Leero kusanyuka
Buli wamu bijaguzo…

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *