Senabulya
Bwe ntunudde ne neetegereza
Ng’embeera gy’olimu olwaleero
Nga ssi gy’oyagala
Okubeera bw’otyo
Ennaku nnyingi gy’olimu
Ekivume kikulondoola
Weesiŋaanye
Ng’olina kubeera otyo

Mayinja
Mayinja nkwase ani?
Entalo zange
Kuba malayika za Katonda
Ziringa ezansuula
Nina amabanja mangi
Ensi erabika enzinzeeko
Ne Yesu omwana wa Katonda
Alinga eyansuula

Senabulya
Amawulire amalungi
Ge nina gy’oli olwaleero
Sanyuka yimba
Katonda wo agolokose
Ng’ayambadde amaanyi mangi
Mu mukono gwe ogwa ddyo
Akulwanirire
Akuggyeko ekivume ekikuliko

Senabulya
Sanyuka oyimbe
Leero vva mu kwekubagiza
Kuba Katonda wo
Leero agolokose
Ng’ayambadde amaanyi mangi
Mu mukono gwe ogwa ddyo
Akulwanirire
Akuggyeko ekivume ekikuliko

Senabulya
Agolokose atambula
Abakwatako abantu be
Era waali asumulula
Bonna bonna abaasibwa
Abalina entalo abalwanirira
Ab’amabanja Yesu agasasula
Abagwa abayimusa
N’olwekyo toterebuka
Yerayiridde agamba
Nti azibukula ensulo zo ezaaziba
Akuteerawo ekkubo, wotalisuubira
Awamba obufuzi olwaleero
Ensozi mu maaso go ziseeteera
N’olwekyo toggwaamu ssuubi
Leero twala obuwanguzi

Senabulya
Sanyuka oyimbe
Leero vva mu kwekubagiza
Kuba Katonda wo
Leero agolokose
Ng’ayambadde amaanyi mangi
Mu mukono gwe ogwa ddyo
Akulwanirire
Akuggyeko ekivume ekikuliko

Senabulya
Abalabe bakulinnyeeko
Bbanga ddene gwe n’okaaba
Bakuteekako ekivume
Eky’obwavu n’endwadde
Bw’agolokose olwaleero
Abalabe abateeka ku ttaka
Wenjogerera amazima
Gwe ogenda okubalinnyako
Nyweza emikono eminafu
Kakasa amaviivi agajugumira
Abaweddemu amaanyi
Bagambe baddemu amaanyi
Kubanga Mukama Katonda
Agolokose awalaala ggwanga
Omulabe asitula nfuufu
Ne Yesu ayimusa mutindo

Senabulya
Kaayingire mu nju yo olwaleero
Nga bwe yayingira mu ya Yayiro
N’azuukiza muwala we
Eyali amaze okufa
Agaali amaziga wamma (wamma)
Yaleka gafuuse oluyimba
Kaayingire naawe ewuwo
Azuukize byonna ebyakufaako
Kaayingire mu nju yo olwaleero
Nga bwe yayingira mu ya Yayiro
N’azuukiza muwala we
Eyali amaze okufa
Agaali amaziga wamma (wamma)
Yaleka gafuuse oluyimba
Kaayingire naawe ewuwo
Azuukize byonna ebyakufaako

Senabulya
Hmmm
Vva mu kwekubagiza
Ono Mukama Katonda
Agolokose atambula
Amaanyi mangi
Mu mukono gwe ogwa ddyo
Akulwanirire
Akuggyeko ekivumo
Yimba nange
Vva mu kwekubagiza
Ono Mukama Katonda w’eggye
Agolokose atambula
Amaanyi mangi
Mu mukono gwe ogwa ddyo
Akulwanirire
Akuggyeko ekivumo

Repeat Chorus to fade

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *