Daudi Mugema
Kream Production
Ooh
Eeeh ooh

Teri mbeera etakyuka
Akuduulira mugambe
N’oyo akukijjanya mwatulire
Nti n’ekyo kijja kuggwa
Nze mbalabyeko bawera
Nga munnange baalina ensimbi
Nga kati amubanja omutwalo
E Luzira atuukayo
Ebintu by’ensi eno bwe biba
Mbasaba tebibeemazangamu
Oli ne bw’obeera omusinga, tomuduulira
Minzaani ya Mukama bweba
Bwatyo bw’akola ebintu bye
Embeera gy’olimu ennungi
Enkya oli y’agibaamu toduula

Katonda w’abanaku teyeebaka
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Katonda w’abanaku y’alabirira enfuuzi oh oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Ku mulimu bikaaye, landiroodi akaaye
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Obufumbo bukaaye emikwano gigenze
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Katonda w’abanaku teyeebaka, oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Gwe totya mbeera Katonda gyali, eh eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Kabaseke, kabajerege, eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Kabakugobe, kabavuluge eh eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)

Bino mbigamba gwe aweddemu essuubi
Munnange teweekubagiza
Ebyo bya nsi bibaawo kaseera, oh oh
Bonna be weegomba kimanye
Bambi baaliko nga ggwe
Embeera ne bwebaamu okwenyigiriza gwe nyiikira
Nange Mugema akugamba
Bingi ebinnyiga ku mutima
Olaba ne bw’ebeera leediyo
Abalemesa bagendayo!
Naye nze we ŋŋumira weewano
Ye Katonda w’abanaku
Bwaba nga ye looya w’abaavu
Nange tagenda kunsuula

Katonda w’abanaku teyeebaka
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Katonda w’abanaku y’alabirira enfuuzi, oh oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Ku mulimu bikaaye, landiroodi akaaye, eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Obufumbo bukaaye, emikwano gigenze oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Katonda w’abanaku teyeebaka, oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Gwe totya mbeera Katonda gyali, eh eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Kabaseke, kabajerege, eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Kabakugobe, kabavuluge eh eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)

Wano Jane baamubbako bbaawe
N’akaaba okusuula enjuba
Nga buli kadde alaajana kimu nfudde, twamusaasira
Naye Katonda w’abanaku ateebaka kiro
Ne Jane yamuviirayo
Ebintu byakyukira Jane, kati ali London
Naawe kye nkugamba leero
Ebizibu tobiwa gap
Biwe Katonda w’abanaku
Atalya nguzi akulwanire

Katonda w’abanaku teyeebaka
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Katonda w’abanaku y’alabirira enfuuzi, oh oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Ku mulimu bikaaye, landiroodi akaaye, eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Obufumbo bukaaye, emikwano gigenze oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Katonda w’abanaku teyeebaka, oh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Gwe totya mbeera Katonda gyali, eh eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Kabaseke, kabajerege, eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)
Kabakugobe, kabavuluge eh eh
(Katonda w’abanaku teyeebaka)

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *