Yeah yeah!
Lil Pazo Lunnabe
Remix
Taata gyali
Nange gyendi akuuma
Takuumira mpeera
Juice gyali alunga
Takuumira mpeera

Boltma

Bwe balikubuuza (eh)
Wayita wa sitaani? (haha)
Ng’obagamba, (eh)
Okay

Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (eh)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (yimbawo awo)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (eeh Alleluia)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (Alleluia)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (eeh yimbawo awo)
Katonda ali omu bwati asinga (Alleluia)

Mwali mwandogaaloga
Mukama n’ansumulula
Mwali mwerozaaloza (n’andaga ekisa kye)
Sirimba mwali mwantama
Paasita, bwe wansabira e Nakasero
Ng’olubuto luzimbye
Naddayo e Bbombo
Nga ntandise okussa
Nga buli antunulako amaziga gayiika
Nange muli munda ng’essuubi ligenda
Eeh Mukama awonyeza ku bwereere
Bw’omusaba takusaba na ssente
Abalogo abalekera bibuuzo
Nti yayita wa?
Yayita wa?
Ssaala zokka

Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (eh)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (yimbawo awo)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga (yimbawo awo)
Katonda ali omu bwati asinga (Alleluia)

Katonda bw’akwata mw’eyo ensonga (mw’eyo ensonga)
Sitaani n’emizimu gye byonna bifuumuuka
Ŋŋambye Katonda bw’akwata kw’eryo ebbanja lyo
Bw’okkiriza Katonda enkya bbanka ogisasula
Wamma leeta endwadde zo (mu maaso ge)
Agalooto go (mu mikono gye)
Yeebazibwe Mukama
Leeta ebikulemye
Katonda ono

Nsazaamu endagaano enkadde
N’omuzimu gw’okundeebuula
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga
(Step mother mugambe)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga
Bonna babadde ku nze
(Ne ex mugambe, Alleluia)
Katonda, y’abadde mw’eno ensonga
Ngya kubagamba Musumba
(Landlord y’angoba oyo)
Katonda, ali omu bwati asinga
Balinde lw’olizimba
Omuyitanga ku party
(Yiii bannange!)

Blessed
Pastor Wilson Bugembe thanks for remix
Mukama yeebazibwe
Mukama aweebwe ekitiibwa
Weebale kutwagala mukulu waffe
Lil Pazo Lunnabe salute
Boltma Records he!
Eba second chance

Yeah yeah! (yeah yeah)
Maama gyoli
Taata gyali, eh he
Nange gyendi akuuma
Takuumira mpeera
Juice gyali alunga
Takuumira mpeera

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *