Kaali kasonga katono kamu bwekati
Akaatulemesa laba bye tulimu
Bwoba okyanjagala kiki onneetoolooza?
Amaanyi mangi g’ontaddeko kendeeza
Kale bwoba nga wankyawa
Mukwano bwoba nga wankyawa
Ekituufu nze nakusobya
Naye obusungu bw’olina bungi
Bugenda na kukukoza ensobi
Jjukira twali ba mukwano
Nze ebya love byajja nga by the way

Lanah Sophie

Love yo yannema okusangula
Yannema okusealinga
Yannema okugattako
Mu mutima mulimu ekibanja
Kati nkulaba mu bifaananyi
Nga mbiggya na ku internet
Eno yannema okusangula
Yannema okusealinga
Yannema okugattako
Mu mutima mulimu ekibanja
Kati nkulaba mu bifaananyi
Nga mbiggya na ku internet

Tell me where?
Tell me why you had to go so far away?
By the way
Tell me why you had to go so far away?
Bwe ndaba ebifo ebimu mwe twayitanga
Ebifo ebimu mwe twasulanga
Wankocceza ebikocco ensimbi twaziryanga
Buli kimu wakikola
Why do you have to be the only man in my dreams?
The only man in my heart
Why do you have to be the only man in my dreams?
The only man in my heart

Love yo yannema okusangula
Yannema okusealinga
Yannema okugattako
Mu mutima mulimu ekibanja
Kati nkulaba mu bifaananyi
Nga mbiggya na ku internet
Eno yannema okusangula
Yannema okusealinga
Yannema okugattako
Mu mutima mulimu ekibanja
Kati nkulaba mu bifaananyi
Nga mbiggya na ku internet

Why?
Oba owulira nkusaba onnyanukule
Omutima gutaase
Kye guyoya kulaba wekwese nnyo kagoba ko
Nkwesibyeko ne nkutaayiza side ne side
Okodowadde okukamala!
I try to search and search my heart
I pretend I don’t miss you
Naye nnumwa okukamala

Love yo yannema okusangula
Yannema okusealinga
Yannema okugattako
Mu mutima mulimu ekibanja
Kati nkulaba mu bifaananyi
Nga mbiggya na ku internet
Eno yannema okusangula
Yannema okusealinga
Yannema okugattako
Mu mutima mulimu ekibanja
Kati nkulaba mu bifaananyi
Nga mbiggya na ku internet

Submit Corrections

3 thoughts on “Kasonga Katono Lyrics – Lanah Sophie”
  1. What i can comment ono omwana ali talented yayimba kubintu byebimu byendimu nange the one i loved with all of my mutima ali ku kyeyo but “mulaba kubifaananyi nga mbijja naku mutimbagano” mwana wakinkubila am HUDK.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *