Oh maama oh maama
Kambenga wooli
Oh maama
Nkukube embaga mbenga naawe
Nze leero nsazeewo nkutwale
Omulungi asinga empisa
Andabirira bwemba seefuna
Mu be mmanyi abasinga e colour
Baleke kati boogere
Ow’omumwa omugamba ki gwotajja kusala
Honey nkwagala naye
Ab’emimwa balinga njuki
Beetala balemese
Ffe tugume tuleme obatyanga
Nkwagala, sirikwetamwa maama
Naawe era tonnetamwanga
Ompite daddy David
Nga nange nkuyita my lover
Laba atambula ng’azina
Akabina kagenda kapaapaala
Kaleke ojja kunzita nze
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Oh maama
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Nze simanyi na kya kukola maama
Gujira neguntujja nesseebaka, oh
Omutima guba guluma
Naddala nga gw’oyagala tonnaba mugamba
Nze kati ntuuse okubanga naawe
Asinga abasinga mummy
Alina entunula eyeegombesa
Aseka nesseebaka waka
Kati nno maama tebakweddiza
Negomba buli ky’olina figure mpya
Ab’edda tebaafuna ziti
Nga na bano ndaba obasinga
Laba bwe luseka lwamala
Kwossa enkolo y’ebbina egenda nga yecanga
Sirikola nsobi kita
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Oh maama
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Nze kye njagala bwemba ndi naawe
Kuba nga tetwejolonga
Nga ky’osaba kye nkuwa naawe bwotyo
Nga kale tetumeggana
Omukwano gw’embirigo gwantama
Obeera tobalwa mu bantu
Munno tomucankalanya mulage omukwano
Naawe aba takwetamwa
Laba omuvuma ne muwala wo alaba
Kati ye aba alitya ki omusooza?
Munno ewaka bwoba tomuwa kitiibwa
Toba na mugaso ng’endogoyi etatikka
Nze nafunye kyalama
Kigenda kufumbanga nga nange bwendya
Ekisooka kimanyi omukwano
Ky’ekyantabula nennoga
Nasigala kuba nga zolo
Wekitali mba siyiiya
Kirungi ate kirina empisa
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Oh maama
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Essanyu limbukala
Bwemba ndi naawe abasinga mummy
Oh mukwano nkuweeki ye nange?
Akalabo ke nina butajja kukyawa
Sirireka ky’ondaze kimala
Oh oh wo wo, kankutwale eka
Ng’ofumba bwendya honey
Oh oh wo wo, kankutwale eka
Nteekwa okuba n’ekyejo
Oh oh wo wo, kankutwale eka
Ng’onderako bwemba naawe
Oh oh wo wo, kankutwale eka
Oooh
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Oh maama
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Oooh
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Oh maama
Kirina face eringa enaazibwa amata
Kiri kyalaba
Akabina kagenda kapaapaala
Oooh
Akabina kagenda kapaapaala
Oooh
Akabina kagenda kapaapaala
Oooh
Akabina kagenda kapaapaala
Akabina kagenda kapaapaala