Kankutendereze ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze
Nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene
Alina amaanyi!

Lwaki seeyanza?
Nga nali nkaaba n’ayamba
Mba mulyazaamanya obutajjukira gye nava
Nali mwavu nnyo!
Nali musiiwuufu!
Nga ne bw’onsuula ku luguudo
Kalooli tezindya
Katonda yayamba
Kati nnyirira
Ndi muntu
Ku mikolo bampita
Mpitibwa ssebo buli gye mpita

Kankutendereze ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze
Nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene
Alina amaanyi

Leka mmuyimbire
Oyo Mukama atalekulira
Yawulira emiranga gyange
Taata n’annyanukula
Ntambula era mmanyi
Nti security ngirina
Saagala mukuumi yenna
Katonda wange y’ammala
Ate oba y’ampisa awakyamu
N’amponya abaduuyi
Oyo asinga amaanyi
Asinga abalungi
Oyo asinga abagagga
Afande asinga obuyinza
Hosanna, Katonda wange

Kankutendereze ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze
Nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene
Alina amaanyi

Nzikiririza mu gwe wekka
Katonda wa ba katonda
Ssikkiriza bw’oba ogaanye
Sso sigaana bw’oba okkiriza
Gwe ogaana, gwe osalawo
Mbeere kyendi oba nedda
Kati nga lwaki nkuvaako?
Tekirisoboka!

Kankutendereze ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze
Nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene
Alina amaanyi

Ndi mu maaso g’abalabe bange
Mukama ataddewo emmeeza
Mukama oli kiro kyange
Yadde omuyaga gwe mungi
Sseetaagenga ssityenga nga wooli
Sityenga sseekangenga, ng’oli nange
Repeat till fade

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *