Kani Lyrics – Pr. Wilson Bugembe

Ye Kani
Kani
Ono omuwala Kani
Eh eh
Ye Kani
Yeah, yeah

Bakulu mubadde bulungi
Nange nasuze bulungi
Naye nina omuwala eyantabudde mu bwongo
Sso nno tubadde bulungi
Nga tutegeka na mbaga (eeh)
(Eh omuwala takyanjagala)
Kati ayagala nsimbi
Bugagga na bintu birungi
Buli lw’ajja ewange aba aliko kye yetaaga
Mummy kwe kujja gyoli
Nga nkusaba onnyambe (eeh)
(Eh omuwala takyanjagala)

Namusanga mu ddwaliro e Kololo
Ng’obulamu bwe bugenderera
Nga mikwano gye gyeraliikirira
Ne bazadde be beeraliikirira
Entaana emwesunga eeh
Kwe kuyita omusawo ne mmubuuza ogubadde
Omusawo n’aŋamba nti aweddemu omusaayi (maama)
N’ebbanja ddene ate bazadde be baavu ooh eh eh
Kko nze ka mbawe ogwange (hmm)
Mukama yabadde mulungi
Musaayi gwange gwamuyambye
Laba bwe nsasula ebbanja
Lyonna lye bababanja
Muwala ng’aba bulungi
Ng’atuyita kabaga
Ne mbasuubiza siggya koma ku musaayi
Ngya mutwala n’ewaffe mwanjulire abanzaala eh eh
Nga muli mpulira mwagala
Ebintu bibadde bulungi (eh)
Entegeka zibadde nnungi, naye (eeh eh)
Omuwala takyanjagala

Anfudde bbanka gy’atereka ensimbi ze
Bakulu nsula bubi
Yanfuula askari nze akuuma ewuwe
Akomawo munaana
Anfudde kuuma ka ssente
Ayitayo mu buzibu, Kani
Kani, Kani
Omuwala takyanjagala
Mpulira mwagala aah
Kati yafuuka malaaya asooka kusasulwa
Omuwala akusobera
Buli lw’omuwa ebirungi n’asinza erinnya lyo
Ate bwotamuwa?
Bwotamuwa ssente awo w’ewali obuzibu ye Kani
Eh maama
Bwatakyuse mmuleka

Ayambala obugoye obw’abaana abato, eh
Obugoye tebumutuuka, eeh eh
Ate amakundi gali bweru
N’omubuuza nnyabo oyambadde olagawa?
Agenda mu church ng’agenda mu ndongo
N’omubuuza Kani yo Bayibuli eriwa?
Akuddamu n’essanyu nze sigyetaaga
Ndaba ne pastor takyagisoma
Netaaga mikono gyange ntoole buli kye bampa
Bw’agamba nti toola
Nga naawe otoola Bible ya ki?
Oli omuwala answaza
Bwotomuwa ky’ayagala oba omuyise kuyomba
Nze leero nkitwala
Bwotakimpa nnyiize asaabiriza eh!
Kko nze kiikyo twala (kiikyo twala)
Eh eh, ssi kulwa omuwala anziika
Ne bw’omukubira essimu era aba asabiriza
Kani nkwagala
Nange nkwagala (eh)
Mpaayo omutwalo eeh yeah

Ono omuwala takyanjagala
Kani nkwagala
Nange nkwagala (eh)
Nsabayo akakaaga yii

Ono omuwala takyanjagala

Naye Kani mbuuza
We nakuweera omusaayi gwange
Kiki ekinannema Kani?
Kani Kani Kani
Bwe nalabye akyuse ne ŋenda ewaabwe
Ne mbuuza taata we ono omuwala yaba ki?
Kitaawe n’aŋamba eby’oyo biwanvu
Twamuzaala ku Sande nga n’enkuba etonnya
Ne tusanyuka nnyo nnyo ne tumutuuma erinnya
Olw’essanyu eringi
Erinnya lye ppanvu
Bwe twalaba ppanvu (eh)
Kwekulitema
Erinnya lye ettuufu
Ye Kkanisa ya Yesu
Bwe twalaba ppanvu nnyo
Kwe kumutuuma Kani
Ekkanisa ekyuse
Eyambala bubi nnyo
Tekyafa ku musaayi gwe
Musaayi gwe gwatunaaza
Gwe gwatununula
Twali ba kufa
Tuli mu nkitwala
Bwotakimpa nnyiize
Tudde ku musaayi gwe
Nze ŋamba gwatunaaza (musaayi)
Musaayi gwe gwatununula
Twali ba kufa

Mukama tumufudde bbanka
Gye tutereka ensimbi zaffe
Kati bwoba gwe owulira otya?
Twamufuula askari y’akuuma ewaffe
Ekkanisa eseerera
Tumufudde kuuma ka ssente
Eggwerayo
Tuyitayo mu buzibu ye Kani
Kiruma
Omuwala takyanjagala
Ŋamba twenenye
Twafuuka ba malaaya tusooka kusasulwa
Ne sitaani atwewuunya
Buli lw’atuwa ebirungi ne tusinza erinnya lye
Weerabira otya eyakutasa?
Bwatatuwa ssente awo we wali obuzibu ye Kani
Wadde atwagala nnyo Yesu
Bwetutakyuse atuleka

Twenenye tunaaze engoye zaffe
Bwetutakyuse atuleka
Bakulu twenenye
Bwetutakyuse atuleka
Eh yi yeah
Omuwala takyanjagala
Ye Kani
Hmmm

Submit Corrections