Kangende Lyrics – Jamal

Uh uh
Eeh ha
Ya na na no
Ya na na na na eh
Ya na na no
Oh na na
Uuh uh

Kaŋŋende
Anti omwana omwavu ali eri anninze (anninze)
Nze ndaba tekigasa okubeera naawe eno
Nga n’omutima baagutwala dda
Kaŋŋende
Anti omwana omwavu ali eri anninze
Nze ndaba tekigasa okubeera naawe eno
Nga n’omutima baagutwala dda ah

Yeah no yeah no (uuh)
Yeah no, eeh
Njagala kusooka kwebaza ah
Ebyo by’onkoledde
Omukwano omulungi gw’ondaze eh yeah, eh
Onjagadde nnyo
Ndaba buli kamu okampadde
Amapenzi ondaze nnyo
Naye ndaba tekigasa aah ah
Nina omwana eyampamba omwoyo, oh yi eeh
Nina omwavu eyantwala omwoyo eeh eh
Ate ndaba tekigasa
Nkumalira biseera tekigasa ah
Oh na na, eeh
Ow’omukwano

Kaŋŋende
Anti omwana omwavu ali eri anninze
Nze ndaba tekigasa okubeera naawe eno
Nga n’omutima baagutwala dda
Kaŋŋende
Anti omwana omwavu ali eri anninze
Nze ndaba tekigasa okubeera naawe eno
Nga n’omutima baagutwala dda ah

Okimanyi, eby’omukwano ssi bya kukaka aah ah
Ekyo okijua
Nti eby’omukwano ssi bya kupapira aah ah yi
Gw’osiima gw’otwala
Gwotayagala omuleka
Mu butuufu nina ogenda aah ah, eh yi
Nze talina kye yampa
Amazima omutima gwe yatwala
Talina n’akamu ke yampa
Amapenzi gokka ge yatwala
Yandeka awo gwe ndowooza, eeh yi ha!
Ssiyinza muleka bwe ndeka oyo ŋŋenda wa? oh wo oh
Omwana gwe njagala ali eyo anninze
Omwana gwe nsiimye ali eyo anninze
Omwana, ali ku mwoyo aninnye anninze eh yeah

Kaŋŋende
Anti omwana omwavu ali eri anninze
Nze ndaba tekigasa okubeera naawe eno
Nga n’omutima baagutwala dda
Repeat chorus till fade

Submit Corrections