Walukagga
Fred nfunyeemu ekizibu eka
Gwe engeri gy’oludde e Kampala ntegeeza
Sebbaale nfunyeemu ekirowoozo
Mbadde njagala ŋende mpase mu kyalo
Bano ab’e Kampala bannemyemu
Ndowooza lwakuba amasanyu gabasukkiridde
Gwe ate ebiduula biringa ebiduula!
Buno ddala bufumbo bupya sibuwulizanga
Ewange tebadde atya munne
Nga nkomawo ttaano ye mukaaga z’adda
Namubuuza ky’agomosa yaddamu atunudde eri
Gwe wenna tomanyi nti mba mu bataayi bange?
Ooh, ne mubuuza afuga munne
Bukya mwenkanonkano gujja era tobiwulizanga?
Ewange tolisangayo kufumba
Sso amakulu g’okufumba gw’owasa akufumbirenga
Bamukubira essimu nga twebase eka
N’awoza okay, uh hmm
Yiii bufumbo ki obwo obutazaala?
Nkooye okuswala mu nkiiko ez’ewaka mu kyalo
Tambuuzanangako ng’afukamidde
Tetuggwa kwerumya nsubi luno lunkaayiridde
Nze nga n’otulo bwe tumbula eka
Nteekwa okumuwa ensonga lwaki tumbuze mbu ooh!

Walukagga
Kaŋende mpase mu kyalo
Ŋenze kufuna ggwala mu kyalo eyo
Nebwerinaaba li kifuufufuufu
Nkooye love y’ebibuuzo ne mba ng’ali mu kkooti
Kaŋende mpase mu kyalo
Ŋenze kufuna ggwala mu kyalo eyo
Nebwerinaaba li kifuufufuufu
Nkooye love y’ebibuuzo ne mba ng’ali mu kkooti

Sebbaale
Walukagga mbuuza ekikusumbuwa ki?
Oba mu kika ky’ewammwe waliwo ekibanja
Teri muntu wa kibuga aliwasa mu kyalo
N’aba n’amasanyu ag’amaka agaladde
Omukazi w’ekibuga abeera mwawufu nnyo
Era mu bya love tewali amusinga
Abeera sharp tamala gakwanwa
Kati baayiga n’okukuula
Naye kewepanka n’owasa mu kyalo
Bamulimba ne ka sweet n’agaba enswa za bba
Ŋambye kewepanka n’owasa mu kyalo
Oli amukwanga kindaazi n’aggyamu ezikyala
Nze nawasaako omukazi gwe nzije mu kyalo
Abayaaye baakunya Dorah! ho
Nze okuva ku kye nalaba tononooza lumbe
Nkulabudde mwana wa taata
Olaba nebwekabeera kabwa n’okajja mu kyalo
Okukatendeka ekibuga wabaawo ebiwoobe

Sebbaale
Togeza n’owasa mu kyalo Matyansi
Togenda kuggyayo mirembe mituufu
Ne mu kyalo kaakati balunda bayaaye
Nze Dorah kye yandaga naleeta ddenge
Togeza n’owasa mu kyalo mukwano
Togenda kuggyayo mirembe mituufu
Ne mu kyalo kaakati balunda bayaaye
Tereeza gw’olina mugenda kuteeka

Kiweewa
Bakulu abakaayana nzize mbayambe
Lwaki mukaayanira abakazi baffe?
Obufumbo mukimanye ntinno nnyanja
Eteeka netabanguka ekiseera kyonna
Abakazi be bamu ab’eno n’eri
Bwaba mukuuzi ne mu kyalo era bakuula
Katonda y’akuyambako obe ng’oteebye
Omukazi ataakujuze naye ssi kyangu
Nze nsanga n’abalina ensimbi ennyingi
Ng’atambula awarninga oluguudo lwonna
Bwe tubeera mu jam mbalaba bangi
Siteeringi agikuba empi naye tekaaba
Omukazi y’amuviirako amutuuse kw’ekyo
Ng’avuddeyo eka amuvumye amuwalabudde
Omukazi ow’engabi y’anvuma baaba ho
Kwe nava n’okuyiga okunywa ku mwenge
Wewuunye namuggya mu byalo by’eyo
Kati ani yamulagira okuva nze bba?
Bw’omuggya mu kyalo ng’omulaba mubissi
Omutuusa mu kibuga n’akufuukira engo
Waalabira ne bano banne abeetunda
N’akimanyi mu mutima nti nafiirwa bwa dda
Ate owomukibuga ye aba mubuufu
Aba yakolako dda nayiga obuwonvu bwonna
Wabula aba kalampenge nnyo mu bubbi
Omwegenderezanga nnyo oyo tazannyazannya
Mulimu n’ababeera ne law nga caafu
N’akupangira abatemu bakunyoolenyoole
Laba ensimbi zo ate bwe zikussa
Omukazi wuwo abadde akuwaana mu nju
Nze Kiweewa nfundikira era bwe ŋamba
Nti okuwasa zzaala oteeba na lukisakisa
Nze bwe nzigyako eza school fees n’awaka
Balance asigaddewo munywamu mwenge
Kiweewa nze ngya kunywanga omwenge
Nakoowa ababbi abatabalirira baana bange

Kiweewa
Wabula nze njagala muwasenga wonna
Kuba mu byalo ne mu bibuga waliyo era bantu
Mbakubiriza ntinno muwasenga wonna
Okuwasa zzaala oteeba na lukisakisa

All
Kaŋende mpase mu kyalo
Ŋenze kufuna ggwala mu kyalo eyo
Nebwerinaaba li kifuufufuufu
Nkooye love y’ebibuuzo ne mba ng’ali mu kkooti
Togeza n’owasa mu kyalo Matyansi
Togenda kuggyayo mirembe mituufu
Ne mu kyalo kaakati balunda bayaaye
Nze Dorah kye yandaga naleeta ddenge
Wabula nze njagala muwasenga wonna
Kuba mu byalo ne mu bibuga waliyo era bantu
Mbakubiriza muwasenga wonna
Okuwasa zzaala oteeba na lukisakisa

Wabula nze njagala muwasenga wonna
Kuba mu byalo ne mu bibuga waliyo era bantu
Mbakubiriza muwasenga wonna
Okuwasa zzaala oteeba na lukisakisa
Repeat until fade

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *