It’s Me Lyrics – Rocky Giant

Embeera ebadde esajjuse
Kko nze owa NATO kanzije
Amannya bampita Rocky Giant Musajjalwazi
Sinywa bitamiiza okuleka amazzi
Mbeera sober twenty fourty
Security ku kido
Okuva mu Hip Hop Force
Official statement
Arrrrrgh

Emisinde gy’empologoma kuba kunoonya kya kulya
So ng’ekyokulya kyo kiba kitaasa bulamu
Empologoma okuwoggana
Ku kyalo abantu badduka
Obute n’obubuzi ebyo bibeera bya kuliibwa
Silabangako mpologoma mbuno egoba akamyu
Naye ate ekiddusa akamyu kuba kutaasa bulamu
Siri ng’avuganya kuba teriiyo anvuganya
Nze mbeerayo mu kika era nga nze akola amateeka

[Loud cheering]

Order!!!
Muli mu kkapa egobaagoba kkapa egoba emmese
Gikwateko togikwatako track ffe tugikutteko
Okuzaala kujaagaana baana bange mwebale nnyo
Feffe Bussi kankuteeke ne ku ddaame ly’ekika
Omutujju ne Fameica
Kamenyo ne Agent
Bino bwe mbimala mbayise mu staff room
Sirina gwe nsosola kyenjagala mube kimu
N’Abaganda baagera mukimanyi agali awamu

Mu mwaka gwe 2000 yali ssematalo
Kwali kuyiwa musaayi okugoba ba Navio
Kubanga bajja n’oluzungu lungi olwalimu embogo
Launch nezibasala ne badda mu njogereza
Story za Baba nze nange zimbuzaabuza
Njagala ompe ekivvulu gwe gye wali omulabyeko
Abeera n’abazungu kusitula nsawo n’abaana
Erinnya lyamusookayo ako ke kasima
Ate bo ab’e Ntinda bagira besortinga
Kabaka yali omu yekka GNL Zamba
Simanyi na kyamutuukako ali eyo mu exile
Mbu be bamu ku baddu
Mu luzungu ba celve*
Feffe Bussi gwe commander duumira ekikoosi kyo
Tusunsule bano ba ffala obanteere ku kalabba
Ffe tubeerayo eno mu Ghetto era nga ba commando
Nga tubonga ku ba boda ne bano ab’ebikomando
Saagalayo anoonya kiri nti nze abanoonya
Ŋŋamba ba dead rapper mpozzi nammwe ba deserter

[Coughing]
Eno track tugigaddewo for security purpose
Until further notice
For God and My Country

*Celve – A combination of two words ‘celebrity and slave’

Submit Corrections