Bukya mbiwoomya bye nnyimba
Obwongo nange bwanziruse
Ninga aliko kye yeebigise
Mukunja wammwe gampitamu
Bukya mbiwoomya bye nnyimba
Obwongo nange bwanziruse
Ninga aliko kye yeebigise
Mukunja wammwe gampitamu
Musajja wo bukya mbawasa
Gwemwandabira ansusseeko
Luli nnali mmuwaana naye
Afuuse wa katuubagiro
Mwandimugambye n’abireka
Ne nnema okuzuŋŋanya obusimo
Gwe ssebo okunjigayiganya
Gyoli alina kye yandabako!
Munnange kwe nnali nfiira
Yayingira mu by’ennyamiza
Kuba yamanya bw’annyinula
Olwo nalumya nze naakamala
Nga bw’omanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Nga bw’okimanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Okimanyi wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Ekitiibwa kyange kiggwawo
Olwo nfiirwe n’obuwangaazi
Bwe sseeguye mufumbi waka
Mbakyukanye mbatuuse wa?
Kaaki akajabangu k’oleese?
Buli akulaba n’asunga
Oba ndooperwamu n’ebitali!
Olwo aluŋŋamya alibeera ani?
Nabuulirira ne mmulemwa
Buli kimu ne yeegaana
N’okukaaba n’akaaba
N’aba nga gwe bawaayidde
Mpimaapimamu we ntuuse
Gye twava nga lugendo nnyo
N’ate okuwugulwa embeera!
Bandiba nga baamuwabya oh ooooh!
Simanyi omukazi yankyawa!
Ye kaakati mbagambe ntya?
Ne ku buko nakooyeeyo
Ndaba nga gwe balengezza
Naye ate ekikulu yammalamu
Yadde nga yeekola obusolo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Yadde nga baayaze ne beememula
Natuukiriddwa n’abayise
Buli ayagala n’akyaama
N’abamu ne batuzaako
Mbu bannoonyeze gwe mba ndeeta
N’abandi ne babettika
Nti owaaye wuuyo anaagyawo
Olaba nange gye mpitira
Omukazi omutuufu yambulayo
Nazoolose ku bye mpulira
Tewandiba ogubindi gw’afuuwa
Gwe ne matumbi ne mbiguka
Muntu wange wammalamu!
Nga bw’omanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Nga bw’okimanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Okimanyi wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Yawugukanga n’akomawo
Naye nga ssi lugenderezo
Tebandiba nga baamuloga
Kisusse ku wekyandikomye
Njogedde buli kye nnyinza
Ne neeyama kyeyandisabye
Byonna byonna ne bye sirina
Ye kw’erima yakombyeko!
Oba waliwo n’asigula
Ng’ebyabakyala bw’obimanyi
Empulubujju zingwako
Mbu ewamu waaliba eddenzi oh!
Eby’obugagga wandigabye
Eky’omuwendo n’onsonyiwa
Njula okusinduka ngwe eri
Mukwano gwange naakkola ki?
Okukyayibwa kwo kwabaawo
Naye eriyo lwe kwennyamiza
Ng’ensonga munno gy’avaako
Efuuse ya kulimbirira
Endowooza zange zaawuguse
Gwe nneeyabiza k’akalubye
Njula okusitula obuliri
Nange mbukube gy’azaalwa
Nawuliddeko mbu baamulabye
Ali mu imbalu ali mu kutiguka
Kale wulira gy’agomera ha!
Aah ah
Hmmm hmm, ha!
Obwana bwange bw’abyanza
Okubunziriza kyamulema
Oba aliko ne gy’abugaba!
Bulangibwe bye bwalidde
Oba ebikyamu byagwawo
Lekanga kunsiriikirira
Ndaga obusungu w’obuggya
Netonde nga bwe gwansinze
Laba nno n’oli bw’ambiina
Nga bwe banyiwa abatijjukana
Ng’eyaakalaba bw’abeera
Ye bw’alina okusaakiriza
Ng’oyo akyewakana ne bamubuuza
Nti ng’omukazi omunonye n’agaana
Kki ky’okolawo ekiddirira?
Wano abamu bapanga butwa
Ndaba nkumu ne beezooza
N’abula mbu yattiddwa
Ne ggwangamujje n’ebiguka
Nnaalongo we atere atuuke
Olaba abasajja bookya mayu
Ng’omukwano gwamulumye
N’azoolekana naakunama
Mmwe muzannya n’ebigambo he!
Abandi ne bawoowoola
N’olaba amaziga bw’agayiwa!
Abalala bwe yenyiwa eby’ensi
Kuttiŋŋana kwe kuddirira
Nga bw’omanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Nga bw’okimanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Okimanyi wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Mukama mu nneema z’otayiza
Nze eyange emu eti n’ebulayo!
Okundaga omutuufu kyakulema!
Kyekubira akususseeko
Okunsaza obutuuyo enkya
N’olweggulo ne neekebera
Buli we mbeera ne zimpitamu
Ne bwe neegumya byaganye
Plan zange ze ntegeka
Yazinziriza dda emabega
N’ebipya kati byampitako
Mu reverse mwentetenkanyiza
Munnange kwe nnali nfiira
Yanfuukira dda ekyennyamiza
Obuweke bw’ennaku kati bwe mmeketa
Lwaki mukwano gwange tonsonyiye?
Nga bw’omanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Nga bw’okimanyi nti wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo
Okimanyi wammalamu
Ba mwenkanya mu by’osalawo
Nkyabuliddwa nange gwe ndeeta
Okumponya ekiwuubaalo