Bobi
Well yute and yute
You nuh fi know politician
Wake up fi born
Straight from Dangala Kamwokya
We come to express exactly
What’s on the poor man’s mind
Man called Bobi Wine
And man called Nubian
So we come to talk
Remember we’re Ghetto yute
Watch this
Dream Studios
Nubian
Banannyini nsi twefudde abaleera
Ndaba ne bye tukola tumala biseera
Bagitugobamu, tulinga abagwira
Banannyini nsi tulinga ng’ensowera
Kati abafuzi baffe mwe mukimanye
Twabalonda ffe mutujune
Naye kati nze ndaba mutuyiye
Omunaku tabeerako n’akake
Bobi
Wano bwe mwegonza mujja mu Ghetto
Ne mutusaba obululu ffe abasula mu Ghetto
Bagagga banmmwe tebalonda
Kubanga tebalina biseera nga ffe aboomu Ghetto
Olubawa obululu mwelabira Ghetto
Mwelabira Ghetto
Mufiisa Ghetto
Muzalawa Ghetto
Amateeka ge mukola ganyigiriza Ghetto
Musenda Ghetto
Mubonyaabonya Ghetto
Mugamba nti ababbi basibuka mu Ghetto
N’abazzi b’emisango basibuka mu Ghetto
Mwelabira talanta eziva mu Ghetto
Kyokka buli talanta wano eva mu Ghetto, Born!!!
Both
Kati kanjogere, ku lw’omuntu wa wansi
Nze siri munnabyabufuzi era sironda
Era temunsiba, naye tuli bubi
Kubanga abantu be tulonda ba twelabira
Kati laba e Katwe
Nti Queen lwanajjawo
Omunaku n’asattira okukamala
Nze ndaba kyakabi
Okusanyusa abagwira
Ng’abantu bannanyini nsi badaagana
Omugenyi lwanajja ssi lw’oyera mu ddiiro
Nzijukira lwe bansiba kubanga Paapa ajja
Masomero gazaawa bazimba zi woteeri
Nagutin man, hear me now, eh
Enkulaakulana kusanyusa bantu
Ne bw’aba ng’atunda binyeebwa ku kkubo
Nga tewali mugwira anajja amusendewo
Society we can show waguan nuh living, sing!!!
Ffe abasula mu Kisenyi (kiki?)
Temututwala nga kikulu (ate)
Nga ffe twabawa obululu (naye)
Ne mutulaga omululu, eh eh eh
Nubian
Is the voice, of our people oh
Is the voice, of our people oh
Is the voice, of our people oh
Bobi
Nze omulimu gwange ndaga firimu
Naye amasannyalaze gannemya ne firimu
Generator ekozesa dikini
Naye ate mazima baayongeza ne dikini
Nalima vanilla naye n’ansilanira
Kati mpulira obulamu nzenna nzenna nzenna nze
Takisi gy’ovuga ekubanja
Nannyini yo akubanja
Ne poliisi ekuwenja
Emmere gy’olya olya y’amabanja
Maama Namu akubanja
Landlord akubanja
Otya n’okuzaala kuba bw’ozaala
Anaalya ki ng’obulamu bwa zzaala
Kati nze nzizeeyo kupoyera Kamwokya
Naye mukimanye, tuli bubi nnyo eno
Bobi
Yo! ladies and gentlemen
Whatever you heard in this song
These are not views of the artiste
Studio or the Producer
These are views of the common people
The poor people
The suffering people
The Ghetto people
So please act accordingly
To avoid another song of the same kind
This a Ghetto President say so