Aah galenzi mmwe entuuyo zigenda obbava
Mugira mukanula emmunye
Bajja okuziwereba mmula
Hmmm mbalaba mutemya musolobeza nnyini
Mwekkaanya enkula ey’ebimyuula ebyeyerusa
Ah gajja bakongoka mugira mukyatala
Abaami baseesa empale, bazitimba essimu
Abantu kwe mwepankira baatukiza dda akiri
Agenda okuyita daddy, aba alina ky’akwagaza
Mwekaaliisa n’empale muziwagika enkoba
Abo kwe mweragira, baatunyaga dda empale
Ezaabwe ziba ne fly ezikirako enzigi za Gaso
Agyepimamu y’aginyuka, kuba y’eggula n’eggala
Mubutaboola size zibuzaabuza nkula
Mbu beerula figure, kumbe migongo nkaŋa
Mukyabayita aba kuno?

Mwewaana nnyo bagenda okubasala ensawo
Mukenenuka endusu, gasaalirwa nnyini
Bino ssi bya mannyo wenu bali tebakyawena
Mugira mutangaala, oh lesson mujja funa
Eh tuyiiya bayiiya obulwa gw’okyambaza
Bankuula dda ewaya, nga nnyambala za ki zzolo
Kati bwomuva mu maaso akusooka butiiti olaba
Ate bwakuba amabega ogenda oleze ne ka knicker
Jaribu asinga awo oba oyoya wa njugu?
Ono wa dobolo, kya mpogola n’ekisuse
Leero n’atambula ng’enjogera egamba
Nebwoneetegereza kiki kyononkola?
Basabula bu mini ssimwe mutayiza emmunye
Kekalikutanda ne welingizisa olitunyumiza embaga
Ffe kati twanjala bibuno ebinnyo baabyabula
Kuno tekukyaali kukuula
Kiyite kitundula biiso, heh!
Mmwe mugakanule munaalaba, eeh eh! eh!

Nze kye nalabyeko n’akameeme kankuba
Gwe ate ekitereseka n’amatu kuluno tegaawone
Nsasira bulenzi buto ku kino kye twalabye
Bwo bulisanga kimaanya mirevu baataamye
Okuddira obumalirivu okubutega ku kkubo
N’obusawo obw’ebbeeyi n’ennyonyi bazirinnya sebbo
Era babeera bakakafu mu buli bye boogera
Bakyukanya n’amannya awo nga bacanga ennimi
Okwatibwa ennaku nga beeyita ba Shedra
Mawiiwa ne Clincher, bafunŋŋana ffala
Oyo eyabatendeka okupyakupya embuto
Gye bujja wa kusomwa mu byafaayo aga nnyabo
Eyabatendeka okupyakupya embuto
Gye bujja wa kusomwa mu byafaayo aga nnyabo
Abasajja bafugise ebibumba by’enkoko
Bazibayitira embuto mbu zivuddemu
Bazireeta zireenya nnyini
Bekyaawa kati oli okulaga baby
Oddanga ne mu nsonda ne weekebera oba wa nkizo!
Ekigendererwa ky’abantu bano kikyabuze
Gwe ate olaba n’enkoko emaamira amagi n’egalula
N’ekuza abaana awo abasukka n’ekkumi
Eterina na bbeere n’empanga tezigiyambye
Naye gwe omuntu ategeera asaba n’emmere
N’osuula omwana omu ati!
Mugwana kikolimo kibe nga kya njawulo, eeh

Mufe nga mulekaana
Bafe nga bawuzuuma
Bafe nga bawuunyera
Kuba buli wantu babekokkola
Muzaawe nga muwunya ekko
Abantu abo

Baatukolerera dda n’ebyo bi sugar mummy
Ebikulukulu bijja babuza eby’okola
Kikufunvubirako kikwetalako tekinnyuka
Naye owange okyagaza mazima bitera oba n’empisa
Biba byapowa kiba kyatomera dda empagi
Wakati mu kanzunzu awo kwe kutuuza enniya
Baba baabizinza enkata eza waggongolo
Anti telyanguwa kitalo dyo olulikoonako
N’olibuuza nti byonetikka ebyo byo bye waafunye?
Mubiweta ekimmooni mumaze okubinywera beer
Kubanga wazze ne Sylvia omweyisa sister wo
Baalabuse kati ennusu ye okugijja ku wuzi
Akulesa byoliko era y’akulaga ekyokola
K’obuukabuuka ng’akusibira mu ccupa
Obuukira mu ccupa, buli w’odda akukenga very
Simanyi oba awo mubeera munfuna
Bwoba era tonziga buuza atukiza bye twalabye
Leero tuli ku yoleke luno lunaabala
Zino bwe ziba machine twazisitama ku motor
Ebyana gye byajja obubina esaana kuwaaba mbuga
N’obutono obwetereerera n’obuwato obw’ettima
Atanayitaayita mutera kutenda bya city
Ebyana biri mu kyalo bikkuta emmere
Ŋenda okukuba eka enkondo ennene
Nsale ebyayi ndukemu omuguwa super
Ndijje oludduddu luno ku nkondo ennene
Lwe naatambulanga mbe nga kikulekule

Abampitako mpunya obukadde
Abambuuzaako ssikyabisobola
Agafaayo nti mutya nno ab’eka?
Olwo nsigale ng’atakyalowooza
Nga mbaanukula ng’abisoma mu bitabo
Bannange amaddu ago byokya by’ebivumula

Leeka mbabuulire tuli ku kasandali
Kuba n’abafumbo bennyini
Tokyawula na wa bbule
Ne bwaba wa mpeta ebyo bikoma wa Kabona
Ba mpakasa gindi tomulekaawo week naatakikwambaza
Wulira bw’asuubiza Ndawusi ow’ebbali
Mbu hmmm!
Ebiseera bino mw’onjagalira nga ssi birungi
Nno munnange
Mpozzi linda mmale kufuna lubuto
Awo kijja kubeera tere
Era ojja kunfuna very

Wulira eddenzi bwe lyanukula
Bwe liwewa endago
Nti olwo naakimanya ntya nze?
Ofaayo ki?
Mbadde wooli
Nange wendi
Ffembi weetuli

Wooo wo
Mulabye bwe mugenda mweramuliza amakiro
Wooo wo
Ng’asuula wali akaana ng’ayagala okalya
Mmwe nga mujja muliyita eddogo lya baggya be
Musajja wattu nnyinimu laba asamba ensiko
Byempitwabirezi bikyabuze
Nga lu Ndawusi kazaalabulwa luli eri lukomba beer

Ebisinga obakoza ensobi ezirirangirwa n’omuzzukulu
Gabeera mabinu eby’ekiyita mu luggya eby’empewo
Nabalabanga eyo nnyo nga tutayiza endeku
Ng’oli yeetamiiriza mu byafaayo byennyinyi
Mbu jajja wo kye yava alyalya nnyoko
Oba oluusi kaamugaana, alangira ka nannyabo
Kalibe ggwanga ki ebintu ebyo teri gyebiriwoomera
Nebwenfanga mbaleka ab’e Bweya n’e Bule
Eby’amasanyu bino kwogatta eby’enfuna
Oluusi ebitali na muno bitufuula ebitakyanoga
Ebyana ebyo ccupa emu eti eya beer
Emukwata n’alayira Kagugula, bwali Uncle Money
Nze namulabako mu maaso ga bba, eeh!

Teebereza ebibadde eyo
Bannange amatumbi g’obudde
Bwe buba bwana tukyazaala
Nga bwetwalulira ne bannaffe
Teebereza ebibadde eyo
Bannange amatumbi g’obudde
Bwe buba bwana tukyazaala
Nga bwe twalulira ne bannaffe

Bwegaba masannyalaze gagenda kubalaga enkola
Mubalaba kumyusa mimwa mugiyita mirembe ddala
Bajja kutumegga batulume n’oluma
Okugwirana ssi kulungi twebuuzengako
Batutwala nga balabe era tebatwagala
Byakufunyemu ayagala bibeere byaama bye
Bwatakufunamu by’ebidaala okugwa n’embaga
Lutalo lwennyini
Kana n’akataano ojja kanuka olaba
Ebyo bye musaalirwa ffe tulabye ku bantu ssebo
Nze ssikyetungula banneeriisa dda enkuta
N’akabiri ne kambula nga bo bayiringula gakolo
Obwana bunneme okusomesa munvume
Ngaba ez’enviiri okola ngula obukondo obw’ebbeeyi
Kipya ki kye nkyanoonya ofukamira ku nkato
Banammansira ne acid, laavu ey’ekirwanire
Bye mwajjanga mwekulubeesa sirina kye saalabye
Kati nvaako nkumbu, ndi mukodo asiri
Ze mwalya zammala sikyagaba nnuthu
N’engeri gye ngyatulamu eraga bwe njagala
Era bwe mba ngyatula saagala kugwe na dduthu
Terigiseereza ne mbulako ŋamba thilingi
Giyite enthimbi

Era bwe nkomba ku lugalo nga ngibala ennuthu
Ninda ne lumala kkala
Ne ndyoka ngikuba akiba
Ez’ejjenjeero mwaziwemmenta
Mwazimmala mu nsawo
Ebyana byeyiringulanga n’olaba embaga
Baazikunkumula musennyento gwennyini
Kati ebyo bye mwebigula twabiraba dda
Bye mweweweeta byonna byeweweetemu
Bye mwekuuta baabyekulukuuta dda
Kanve wano tebankuba eccupa omanyi bakambwe

Leka mbeetegule sirina galwaana (yeee)
Ŋenze kulya cover Bukunja (Bukunja)
Tebankuba eccupa omanyi bakambwe (bakambwe)
Leka mbeetegule sirina galwaana (wuuu)
Ŋenze kulya cover Bukunja (yeee)
Eyo ewaffe, eyo (Bukunja)
Leka mbeetegule sirina galwaana (bakambwe)
Tebankuba eccupa omanyi bakambwe (wuuu)
Ŋenze kulya cover Bukunja (yeee, Bukunja)
Leka mbeetegule sirina galwana (bakambwe)
Tebankuba eccupa omanyi bakambwe (wuuu)
Ŋenze kulya cover Bukunja (yeee)

Submit Corrections

One thought on “Galenzi Mmwe Lyrics – Paul Kafeero”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *