Future Lyrics – Brian Ddumba ft. Joseph Ngoma

Aah ah
Eeh eh, oh

Ngoma
Future
Future ky’eki?
Tuwulira buwulizi future
Agituukamu y’ani? (y’ani?)

Ddumba
Mummy waffe Betty ng’ali ku kitanda
Yabuuza jajja
Mbuulira, abaana bange oba olibalera?
Bugembe, Brian, Denis oba olibakuuma
Mbuulira, mbuulirako
Nga muli akibaze bwe tukula n’oyo
Tujja kuba bulungi (eeeh)
Era bwe yakkiriza (aaah)
Bwatyo n’akutuka (oooh)
Nakula ne jajja
Eyantwala ku ssomero
Ne nfuba okuyiga ne diguli ne nfuna
Omulimu ne gubula
Denis teyakula future teyagiraba
Ate Pasita Bugembe
Yatuukako ne ku luguudo
Future eri mu Katonda
Future ky’eki?

Both
Future, eri mu Katonda
(Eri mu Katonda)
Ebiseera byange ebyomaaso biri mw’oyo
(Biri mw’oyo Yesu)
Mu maaso (eh)
Walabika wala (wala)
Nkwata omukono nange ndituuka
Ku future yange (yee)

Ngoma
Nze nzijukira kato kange kaana ka maama
(Nzijukira ebiseera ebyo)
Bambi nno, kaali kawala kato kalungi
(Yali mwana muto)
Balogo baakaloga ne kafa
Tekaalaba future (n’afa bwatyo)
Era naffe, Mukama ye yayamba
(Mukama y’ayambye abange)
Nabuuza maama mu kutya
(Nabuuza maama)
Nti oba nze addako? (natya, natya)
Maama n’aŋŋumya (mukwano guma, guma)
Mmanyi nti Mukama alibalokola
Totya mwana wange (n’aŋŋumya omutima maama)
Totya ooh (nga bw’aŋamba)
Tunuulira Mukama (tunula)
Talibaleka (tunuulira Yesu oyo)
Nange ne ŋuma (naguma)
Nga maama bwe yayogera
Okutuuka wano, okubeera wano
Yesu y’annyambye (abadde Yesu)
Era future yange, eri mw’oyo

Both
Future, eri mu Katonda (mu Katonda)
Ebiseera byange ebyomaaso, biri mw’oyo
(Biri mw’oyo Yesu)
Mu maaso (eh)
Walabika wala (wala)
Nkwata omukono nange ndituuka
Ku future yange (yee)

Ddumba
Abamu tuli mu future
Kyokka era tulinze future
Nnyamba (nnyamba)
Nnyamba (nnyamba)
Wootali siyinza
Abavubuka badduse mu ggwanga
Bagenze ku kyeyo, kunoonya future
Abawala, balina minzaani
Batupimaapima tetulina future
Christmas y’abiri mu ttaano
Eid emala n’etuuka
Naye future yo etuuka ddi? (etuuka ddi?)
Nnyumirwa nnyo akagambo Mukama yeebazibwe
Yeebazibwe Yesu kubanga afaayo
Yeebazibwe olw’ebyo ebirungi by’azze akola
Yeebazibwe olw’ebyo by’anaatera okukola
Wandiba tewasoma genda wala
Mu linnya lya Yesu ogenda wala
By’okola nga tebikuwa maanyi
Naye mu Yesu mulimu amaanyi
Bakugambye nti omutwe gwo mwavu
Toli mwavu omutwe gwo mugagga nnyo
Tebakulimba nti tolina future
Alina Yesu y’alina future

Both
Future, (future, future)
Eri mu Katonda (eeh yeah)
Ebiseera byange ebyomaaso, biri mw’oyo
(Biri mw’oyo Yesu)
Mu maaso (maaso)
Walabika wala (eeh)
Nkwata omukono nange ndituuka (eh)
Ku future yange

Submit Corrections