Fiina Pt. 1 Lyrics – Simon Kayiira & Nambawa

Fiina kulikayo okusoma ng’olabika okooye nnyo obudde bwa kkalwe
Ŋenze ne nva ku ssomero eyo ne nfuna endowooza emu ate nga bwe guli
Kyo tekyazze lwaleero kirudde nga kinnyoola kyokka nga nkikuumye
Buli kiro lwe ngwawo ndoota nga tutudde wamu simanyi kiki!
Ate buli lwe nkuloota oluwewo ne lunkwata ne mbulwa otulo
Bulijjo njagala nkulabe nkutegeeze kye ndiko nze naye nga nkutya
Bigambo byo nina bingi entandikwa yo y’embulawo kaakati kaŋume
Nkakasasa bukya nzaalwa wewaawo olaba nkuzeemu neewala emikwano
Ssi lwakuba ndi wa ssingo wabula nali ninda neetegereze
Kaakati nze kye ŋamba nti anti kaakati oli kuki otegedde manyi
Njagala nkwagale onjagale wadde okyali mu ssomero nange bweguli
Luvannyuma tulikkaanya ng’omaze okusuumukamu nkutwale mu maka
Kasita okyali ka kibaya ng’ate nange nkyali muto ndiva wa nkukyawe?
Entunula eyo gy’otunula n’ago amaaso g’obbirira olabika obisiimye
Anti mulabe bw’amwenya ye nnyabo oliko emmunye zo eyawunda wa buyinza

Kiiwa biki ebyo by’oyogera nze mpulira ntidde nnyo simanyi kazoole?
Eggulo wabadde ku ssomero ng’olabika oli mulamu otabuse omutwe?
Siri ku mikwano nze era abazadde bankuuma ky’ova olaba nsomye
Singa nali mbigenderako Jimmy asiiba yeetawula ne Peter naye
N’okukula kwetta kuno abawala tulaba ebizibu ntandise okukemebwa
Buli lwe nkuba picture ku buli omu ky’aŋamba neewunya abasajja!
N’okuba nali noonya abaawuseeko mu njogera ne ninda ndabe
Ate maama yaŋamba nti abalenzi mwefuule temwesigika
Kati onimbalimbalimba wano omale onfiirize okusoma weebuzebuze
Omale okunfunisa olubuto weerabire by’olejja ombonyebonye
Mbadde saagala basajja, mpozzi nga bwoli gwe Kiiwa nkwesize
Nzikirizza by’oŋamba kyokka byaffe bya kyama osaanye okimanye
Njagala nkukakase Fiina guno omukwano gwe nkulaga amaaso be bajulizi
Mpozzi eriba short ng’omutwe gukyuseeko ng’era ddala kazoole
Giriba mimwa gya ngeri ki nze okukyatula amazima nti Fiina nkukooye!
Mpulira obuswavu bw’omutima n’okuwemuka mu nsi wakiri okufa
Mukama nsabye obe mwetegefu nze okwegaana Fiina ontwale mu geyeena
Kati ngya kuyita ewammwe enkya olweggulogguloko ninda ku ffene
Nedda enkya tojjaayo waakiri ojja ku Ssande enkya gyebali
Gwe ka nkwesige amazima kuba bangi be ŋaanye neewala emikwano
Ngya kugulira engatto nkutwalenga ku ssomero olw’eggulo nkuleete
Ngya kuleetera omutwalo weerage eyo ku ssomero naawe bakutye!
Nedda saagala ssente waakiri ogula obukomo essaawa yo nina
Tulabagane Fiina nywereza awo w’otuzze yongera okunyweza
Bye weeraba Kiiwa yitayo ku Ssande lwogambye Kiiwa tonjiwa

Fiina tewasomye leero nayiseeyo ku ssomero saakulabyeyo!
Nobert bwe mubuuzizza aŋambye mbuno baakugobye ye ddala kiki?
Mazima bukya twawukana natandinka okulwalira sseebaka tulo
Mutima guneewuuba entunnunsi ne zimpakuka sifuna na maanyi
Buli kendya ne nsesema amalusu ne gesomba mpulira okuzunga
Saagala kulya nkejje n’ebinyeebwa byannyiye n’amata nago
Meetulooni yaŋambye nti muwala baakusobya ogira odda awaka
Waka natuuse lwagguloko nga maama ali mu nnimiro taata ye kunywa
Maama namubuulidde nga mubuuza eky’okusoba akinyinyonnyole
Mu butuufu yasoose n’asirika oluvannyuma ate n’ayitaba nange kwe kumwesega
Taata olwakomyewo nange ne mubuulira ntino bansobya
Ye kwekutandika okuyomba n’oluga lwe n’aggyayo kwe kunkuba ekiro
Kye yasembyeyo kwe kwembuuza ani nannyini lubuto yanguwa omuleete
Ndowooza okyajjukira byonna bye wali oŋambye luli mu kusooka
Nze ekikulu kyendabawo kunfunira we mbeera weetema luli
Fiina biki ebyo by’oyogera sooka oddemu mpulire simanyi otamidde?

Nze saamanya nnyabo mu butuufu mbu n’ebyo byali bya kubaamu sandikikoze
Olwa sitaani eyankeera ne mala nze gewaayo kaakati luno
Oŋambye baagobye ewammwe nange ennyumba gye sirina kaakati biki ebyo?
Jjukira sso nagamba nti omalanga kwebalama okujja eno ekiro
Gwe kiki walaba ebintu nti biyinza okwefuula notogaanako uh!

Nina obuzibu bwe nengedde singa ssibyegaana kitaawo wa kabi
Ye kiki ssibyegaana ani mujulizi eyaliwo amagezi go nina
Ndaga obukakafu bw’oleese ye bameka be nkwanye sizaalangako
Nammwe abawala mulimba nnyo olukugamba n’oyitika kiki tewagaana
Singa nagamba n’ogaana bino byonna byandize omusango gukusinga
Ne nnyoko gumutwaliramu lwaki yampitanga muko naye kaalabe
Kasita naawe wakkiriza nga tosoose kwebalamu ffembi tusibwe
Ffembi tubadde mu ssomero nga tekuli yali azadde twonoonaganye
Waŋamba toyagala basajja lwaki ku nze wakkiriza naako kalowooze

Kasita naawe wakkiriza nga tomaze kwebalamu sirina nsobi
Mpozzi tugende ew’omusawo agezeeko okuluggyamu bwe lukutta bibyo
Kaakati okaaba biki mulabe nnyini atibula onzaalidde obulwa
Kati ogira oddayo ewammwe nnyongere okubyekkaanya bwe bakkuba guma
Tonjogera!!!

Mukwano bambi nagambye taata yankubye nnyo kwe kungoba awaka
Yambuuzizza omusajja ne nkuzibira amazima saakwogedde
Singa namubuulidde era ekiro yandisse yataamye bugo
Kyokka nakuumye ekyama ne nkubwa ate ne nvumibwa obudde kwe kukya
Kiiwa wajja n’oŋamba mu bubuzi bwe nalimu saakukaayanya
Kati olaba maze okusoba n’abazadde bangobye wegumya ongobe
Ogira okyaneegaana ŋenda kwetta neggyewo nze sibonaabona
Tojja kumala gankanga ontiisa okwetta nekole ki nange netuge?
Nkugambye sirina ssente ssinatuuka na kuwasa nkyasoma manya
Kaakati tugende eka taata bw’amala okulaba muteese ondeke eka
Oba kitaawo bw’agambye mugambe afune omulala nze tandabangako
Ye tugende mugambe ntya nti mukulu ekindeese bw’antema oluyi nvaako!

Ebyange bye walinnyirira nali saagala kusoma naawe bireke
Abasajja mwefuula kati biki ebyo by’oyogera jjukira luli!
Wankwananga wegonza n’ensimbi ng’ondaga nnyingi zadda wa kati?
Waŋamba bw’olina ebintu nti era kyangu kuntwala kaakati mpasa
Nze nali nkusaagirako ye abawala mwaba mutya abatasaagirwako!
Oŋamba otya ndeke okusoma nze awo ndaba ng’asaaga weesirikire
Oba ennyumba gyotolina mpa ssente ndage e Singo ssenga gyebali
Ekyo ekiteeso ky’oleese kijja kukuyamba nnyo tambulirawo
Wabula nze sirina ssente y’omuntu asoma nkola w agenda weewole
Ojja genda osula mu makubo ppaka lw’olituuka kasita musana
Kinnyambye okwewonya ebizibu ani awasa embaga amangu kooti ssi ka kuzaala
Nandigenze ewa nnyoko ne mukaabira ebizibu ate naye mutya
Kati mummy omugambiraki nze tondeetera bizibu ab’eka baleke
Mummy ne bwomugamba otya ebyo tagenda kubikkiriza tomala biseera
Tulabagane Fiina olubuto bwofuna gwolusiba totya lugabe

Bambi Fred sooka odde kaakati ondese otya saamanyirirwa
Taata Kiiwa ow’omukwano munnange ogenze otya komawo olabe
Bannange bawala bannange mwenna abali mu ssomero mwewale abasajja!
Balina colour nnyingi balina enjeruyeruko n’endala black
Bw’ajjira mu njeri etukula kwekugamba n’oyitika nange bwe nali
Naye black lwalijja ogenda kwejjusa amazima kiki tewagaana
Kati antunuulira ankeneka mulabe nnyini bw’ankimba osaanye weerowooze

Kati maze okukyekkaanya by’oyogera bya mazima ate olubuto lwange
Nsonyiwa okudaaza ennyo mbadde nkyapima matire sipapapapa ntyo
Bawala mbakenze olw’abasajja baakwana n’abulwa ekituufu
N’olwekyo bw’afuna olubuto ye emmeeme ye kwesibira omusajja gw’aluwa
Asooka n’aluwa Topher, Topher n’alugaana nti Jimmy weenyige awo
Bambi babasibye abaana abangi bemutazadde mbu lwakuba kuzaala
Kyova osanga omwana ennyindo n’emubangalala etaali mu kika
Matu gamusongodde, obugere alina mwenda, amatama ga mayuuga
N’ocacanca mbu ozadde sso ng’omwana gw’ozadde ssi ddala wuwo
Kino ssi bavubuka bokka n’abakulu mbatwaliramu mwekkaanye abaana
Mmwe abawala kye mbasaba mukomye okulimba ennyo mwetegereze
Oba olubuto lwa Misagga oba ayinza okuba Ndawula toluwa Kayizzi
Ono Fiina nwanye nnyo nze omukuulamu amazima era ddala ngazudde
Fiina weebale okuuma ffe wali we twasibira tugende nkutwale
Okuva lwe nsiimye n’osiima taata wo kaayombe atya ebyaffe bya kubaawo
Bateeka muteeke ro n’oyo anaalumwa azaale owange nze mututte bye!

Submit Corrections