Wakyaliyo essuubi
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu
Ndiyimba oluyimba
Wakyaliyo essuubi
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
Yadde nga mpita mu buzibu
Yadde nga mpita mu muliro
Wakyaliyo essuubi
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (nange)
Ndiyimba oluyimba

Amazima ndaba bafumbirwa
Ndaba bagattibwa eyange terituuka
Kyokka mpagira nnyo embaga
Zino bajeti ewange gye bazisoosa
Ne neetala ku mbaga z’abalala
Kyokka eyange terituuka
Laba n’emyaka gy’egyo
Kati laba n’enkanyanya zizze
Naye bwe nsoma ku Ruth
Eyafumbirwa Boaz omulundi ogwokubiri
Kyokka yali na namwandu
Nze ate olwo atfumbirwangako?

Wakyaliyo essuubi (kaŋume)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
Yadde nga mpita mu buzibu
Yadde nga mpita mu muliro
Wakyaliyo essuubi
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (mu biro bye)
Ndiyimba oluyimba
Wakyaliyo essuubi (wakyaliyo essuubi)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
(Sirika, sirika tokaaba)
Yadde nga mpita mu buzibu
Yadde nga mpita mu muliro
Wakyaliyo essuubi
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (mu biro bye)
Ndiyimba oluyimba (hmmm ndiyimba oluyimba)

Siriimu annuma
Njula na kwetuga
Ndabye bangi abawa obujulizi
Katonda baawonyezza
Olumu natuuka n’okulowooza
Nti oba nze talimponya
Oba biba bya bulimba
Babeera tebawonye!
Naye ate ne nzijukira
Katonda ssi mwana wa muntu kulimba
Lazaaro yamala kufa
Nze ate olwo atannafa

Wakyaliyo essuubi (kaŋume)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba (yee)
Yadde nga mpita mu buzibu
Yadde nga mpita mu muliro
(Emiggo gye gigya kumpanya tegisosola)
Wakyaliyo essuubi
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (mu biro bye)
Ndiyimba oluyimba (ye, kaŋume)
Wakyaliyo essuubi (wakyaliyo essuubi)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
(Sirika tokaaba Mukama afaayo)
Yadde nga mpita mu buzibu
Yadde nga mpita mu muliro (ng’oyita mu muliro)
Wakyaliyo essuubi (mukwano guma, guma)
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (nange)
Ndiyimba oluyimba (naawe oliyimba)

Mwami wange yampasa
Ng’ayagala tukole amaka
Naye mu bigambo bye
Nga yesunga nnyo omwana
Ayagala tuzaale, abaana baffe
Kati emyaka ŋenda mu mukaaga
Sifunangayo mwana
Alabika akooye
Ate nange nkaddiwa
Naye Sarah yazaalira ku kyenda
Nze sinnaweza n’ana

Wakyaliyo essuubi (kaŋume)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
(yee Mukama afaayo)
Yadde nga mpita mu buzibu (yee)
Yadde nga mpita mu muliro (y’oyo tewali kimulema)
Wakyaliyo essuubi (wakyaliyo essuubi)
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (nange)
Ndiyimba oluyimba

Lino essuubi
Teri gye balitunda
Wabula mu yesu
Mwe muli essuubi eh eh
Bakulu lino essuubi
Teri gye balitunda
Wabula mu kigambo kye ye
Mwe muli essuubi oh

Wakyaliyo essuubi (yee)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba (kaŋume)
Yadde nga mpita mu buzibu (nsome ekigambo kye)
Yadde nga mpita mu muliro
Wakyaliyo essuubi (yee)
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (mu biro ebituufu)
Ndiyimba oluyimba (Lazaaro yamala kufa)
Wakyaliyo essuubi (nze sinnafa)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
(Sarah yazaalira ku kyenda)
Yadde nga mpita mu buzibu
(Nze sinnaweza na myaka ana)
Yadde nga mpita mu muliro (yee)
Wakyaliyo essuubi (kaŋume)
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
(Ruth yali namwandu)
Mu biro ebituufu (yee)
Ndiyimba oluyimba
(Wakyaliyo essuubi maama, taata)
Wakyaliyo essuubi
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
(Wakyaliyo essuubi guma)
Yadde nga mpita mu buzibu (Misach)
Yadde nga mpita mu muliro
(Yavaayo mu muliro ate gwe)
Wakyaliyo essuubi (yee)
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
(Naawe oggya kuvaayo)
Mu biro ebituufu (yee)
Ndiyimba oluyimba (tewetuga Mukama afaayo)

Wakyaliyo essuubi (yee)
Okubeera Mukama kye yantondera okuba
Yadde nga mpita mu buzibu (yadde)
Yadde nga mpita mu muliro (kaŋume)
Wakyaliyo essuubi (sijja kwetuga)
Luliba olwo Mukama n’anzigyayo mu kinnya
Mu biro ebituufu (mu biro bye)
Ndiyimba oluyimba

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *