Essuubi Lyrics – Mathias Walukagga

Eeh
Hmm

Abadde tantegedde nze mutegombwa
Mutalyanguzi ne bye njogera sseetonda
Ekyannema kwe kujja ebigalo ebikalu
Gwe mutindo kwe ssiva abafu ne beegolola
Sitegeeza bali abafu be mwaziise
Wayitewo akabanga mwabye n’ennyimbe
Oli wa ddembe obikyusa nga bw’oyagala
N’atategedde mbuuza teweekooya
Olumu Napoleon yaŋŋamba
Mbu omunafu ateekwa okuwoolera eggwanga
Ye ow’amaanyi akusonyiwa n’ogenda
Omusirusiru ye ate ne yeeraguza
Nsaba ensonga zino ozigambe banno bo
Nti ekitonde Walukagga twafuna zzaabu
Mbatumidde abakola n’essuubi
Nti bigaanye kati ate enkya kyangu kya kufuna
Eyekubagiza olutata weesiimye
Munnaffe weesaggulidde ekkubo ly’obwavu
Onyumya ebyakufaako n’osussa
Wabaaki atanyumya ku mboozi za ssuubi?
Mu kifo ky’okufuna ekipya kyonopanga
Nedda weekubagiza nnyo naawe n’otutama
Owoza ke nkulabye ssikyafudde

Ago agaboozi g’ebizibu byo
Twakoowa tuleke
Naffe ba chali bo b’osabiriza
Ku mabanja kwe tusitamye
Ago agaboozi g’ebizibu byo
By’owaawaala tuleke
Bantu obalaba lwa kusirika
Ku zi loan kwe basitamye

Abaami n’abakyaala nga mulabye ne ttagali
Agazibu enjolo obeekiika mu masanyu
Ne mwekubagiza mukaaba n’amaziga
Ekibabonyabonya kye bayita duniya
Nkusaba obutetuga yadde onyigwa obulamu
Ssigwe asoose okwezizika obulumi
Agazibu g’olina gaakusibye ggiribwa
Nze ngakubisa essatu tuli ku kaweereege
Oli yaddeyaddeko onoonya kye weebikka
Ye Abtex amabanja gamuli mu bulago
Buli ekikugwako ofube obuteekyawa
Tekisookedde wuwo ogumanga lw’okiraba
Ne lw’ofiiriddwa omuganzi gw’oyagala
Tojja kaabira mwaka olemwe n’okukola
Emiteeru gy’egimu nze naawe gy’osanga
Gyawula mannya obulwa kyaggulo nze ne nsiiba
Baakubbye ka ppiki asirise gw’onyumiza
Ye baamubbyeko emmotoka n’ettaka lye
Nawola Ssekisambu ekkumi naatansasula
Gw’obigamba banka yaboye n’enju ye
Ekizibu ssi kufuna kizibu mu duniya
Naye engeri gy’okivaamu y’eba n’amakulu
Onyumya ebyakufaako n’osussa
Sso abantu baagala ku mboozi z’essuubi

Osaba otya leero n’enkya nga teweewanika?
Onotera kulumba school osabe n’abayizi
Atasibwangako yadde okumenyeka omukono!
N’obulwa k’oyiikirizaayo osaba n’abalema!
Ofubanga n’onyumya ebigambo by’essuubi
N’anaafa enkya n’omugamba kyangu kya kuwona
Kibeera kibi nnyo omuyeeya bw’akozze
Laba bw’ofaanana amusongera ku ntaana ye
Okuggwaamu essuubi kiba kya bulabe
Gwe gwa Kabugu okugweyimba n’alemba
Obuteekubagiza nabujja ku Madiba
Yalina ekirooto kye kununula ggwanga
South Africa edde mikono gya boobwe
Eve mu ngalo z’abakabbulu era n’akikola
Yakulembera ekisanja kimu n’alanga
Nti ogwange gwaggwa mulonde abanaabafuga
Atamanyi ntebe ani engeri gy’ewooma?
Mandela namwewuunya nnyo mwoyo gwa ggwanga!
Wano n’omala okisiinyaako ku w’e Gomba, ho!
Baamukanga bite tukute era n’ajeema
Ne banywanyi be okwali Oliver Thambo
Okyawanga nnyo akugamba toosobole
Ate weekuumanga nnyo n’obuteefuula
Bw’ogambanga nti no ne bwe weebuuka
Ebeere no ssi nga bano ab’e Kakiri
Takosa gy’ava tagasa ne gy’agenze
Nze oyo owa no gwe mpagira mu beefuula

Omulwadde gw’onyumya e Mulago bw’azirise
Akajanja k’okaabya kuba asuubirwa n’okuwona
Eriyo afiiriddwa ddala ddala bbaawe
Abaana baamulekedde abamu bali mu bisulo
Alowooza kiddako gwe ate onyumya Nankya
Bw’adibidde ku luggya ayagala n’abalalu
Buli ali mu takisi omwo alina amabwa mu bulago
Walikendeezezza ku ppeesa lya kkerere
Onoonya galubindi okuwonya omusana
Kati Lwanga agambe atya atalaba n’okulaba?
Gakaaba omubissi nga kki ky’olinda?
Mbadde nsaba nkome awo bantu ba Ddunda
Agenda n’eŋŋoma atabaale n’agizza
Awangaale asinga okkomaga ez’ebikkwa

Submit Corrections