Mbadde nkyasirise nga nfumba
N’omutwe nga nkyabinoonya
Mbadde nkyasirise nga nfumba
N’omutwe nga nkyabinoonya
Anti nga we mbiva
Era ne we nkoma nga binsobedde
Ku myaka gye nina
Nga binsukkiriddeko ku bye ndabye nze
Banjagala ne balowooza
Nti n’ebyokuyimba nabivaako dda
Mwasaba nkyali bulungi
Era nzize mbaweereze nga bwe mumanyi mmwe
Entanda eri mu mutwe omwo
N’anangayaalira oyo ssiimulinde
Kansooke okwebaza omukadde anzaala oyo mu kusooka
Kuba yakola bulungi
Obutantuulira n’anzaala nze
Eggwanga lyandibadde lifiirwa kinene ku bye nkoze nze
Naddala okuzimba eggwanga
Ssaako okusanyusa ne nteeka okwo
Kale obeera mukyamu
Era bwotomwebaza oba mulalu gwe
Munnange weebale omulimu omuyonjo
Oh sikulimba weebale nnyabo
Okugumira ebireeba n’obiwuuta
Sijja nze kwekunya okusattula ebimu ku bye ndabye nze
Mmanyi nti mwageya dda
Mbibiita abakazi nze ne mbawaana
Ku luno nno neeberudde
Nsooke mbacoomere ng’ate mbalabula
Naddala abakyala, abalowooleza mu minkuduulu
Empisa tazifaako, n’alowooza nti eddogo erinamuyamba
Sso nno naatamanyi nti, empisa ze omuntu z’ezimugonza
Ne bw’okola ebifaanana ebyo
Ng’empisa tolina tebikuyamba
N’ono nno gwe nakenga
Yaswala n’ekika kye n’akiswaza
Njagala osembere kumpi
Nsooke mbiseetule engeri gye byajja
Bannange twalaba ffe abaakirabako
Oh sibalimba twalaba nnyabo
Ffe abaakirabako obutabalimba
Waliwo mukwano gwange
Ate nga ye wuuyo bwe twazilunda
Bwe yatuuka awasa mukyala
Nga babeera mu maka baba bulungi
Kusooka baali bulungi
Nti naawe b’omanyi nno ekyakatuuka
Buli omu naakisa empisa embi eri munne ezitasaana
Naye nno ebirwawo amalusu bwe gafuuka engeregeze
Omukyala y’eyasooka n’agenda ayerula amayisa ge olwo
Obuggya obutagambwa
Ssaako n’obunyoomi nno obw’ekisenzi
Wamma ne baba bubi
Nga buli kye bamugamba n’awalaaza
Omusajja n’alowooza kyanamukolera ekinaamugonza
Alabudde n’abikoowa n’atuuka w’akoma ku by’okulabula
Bwe yalwa edda n’amugamba
Nti bwotokyuse ndi wa kukugoba
Omukyala bwe yawulira
Naye n’asalasala ekinaamuyamba
Amagezi kye gaamugamba
Kunoonya musawo atere amulunge
Nga buli ky’amugamba
Agoberera nga kyana kya tuleera
Kyokka abakyala baakula
Kubanga bw’amalirira ye tasibaamu
N’ono nno bweyali y’agenda okulaba akafo akafiirwa
Yakeera nawankya nga yeezigulako nno ka bulungi
Nga yessa mu ddene, kugenda mu katale ako ak’omubuulo
Yasanga kaatabye dda nga n’ekimututte tekibuzeemu
Gye yagwira ku musajja
Eyali ayanjadde kafankanaaye
Anti eddagala elyaffe, ery’ekinnansi nga y’alitunda
Ebikolo yalina bingi
Buli kimu akyogerako ne bye kiyamba
Wulira yatandika ati
Olwo n’omukazi ateze kutu kwe
Eno emmumbwa ya luzaalo
Okeera kumakya n’onywako gwe
Lino nno ly’abakyala, abalemererwa mu by’okuzaala
Onywa nga lukusimbye
Onywa nga lukusimbye, olufukamira ozaala buzaazi
Lino nno ly’abakyala, olina musajja wo oyagala kuteeka
Enkozesa eri bw’eti, olunga mu nkoko ey’oluwombo
Ng’olwo omukubye jjeeke
Buli ky’oyogera ayitaba maama
Omukazi bwe yawulira, n’asooka agamba eyali alitunda
Mwattu nze njagala eryo
Erigonza omusajja ampe ku kitiibwa
Kano akajanja ke yaleeta
Njagala nkamumale ndage obukyala
Ng’omusajja amuwa ddagala lye
Ng’amubuulira nkola bw’anaalikozesa
Mpozzi atutte musambwa
Anti ebyaddirira nsaba obirinde
Bannange twalaba ffe abaakirabako
Era abasajja twalaba abakazi batuliisa bingi ebitasaana
Eteefe bagera nti etuusa mugenyi tebaalulimba
Nti nange gye nanaawuka
Ŋende mbalabeko tunyumyemu ffe
Mukyala kyamuyamba okozesa eddagala lye lye baamugamba
Omwami olwandaba nkugambye n’asagambiza ebitagambwa
Kaluulu kaavuga nti n’eyali ewala n’akimibwa
Wamma nga tudda mu mboozi
Tunyumya kino tunyumya kiri
Bwe yava awo ogenda ebweru
Yadda na kkoko n’alinkwanga kka!
Nkugambye ne ndaliira
Ne neerimuguumya ku by’akoze ebyo
Nange ngikwanga mwana
Kugiggyako bulago ffe tugiwuute
Omukyala bwe yawulira
Yazina gunteese olw’eddagala lye
Omusawo lye yamugamba
Nti olunga mu nkoko ey’oluwombo
Waaliwo okujaganya ku ludda lw’omukyala ebitagambwa
Empombo n’aziwotosa mw’anateeka atere agirunge
Ddagala n’alireeta n’alunga bulungi gwe n’asiba
N’asaaniika bulungi, wuuyo yogaayoga agisudde kyooto
Eri gwe twanyumyanga nga gutuli wamu tulinda kyaffe
Era n’emmere olwagiyiisa
N’asooka yeenenya bw’aluddeyo ennyo
Bannange temunnenya, nduddeluddeyo nga nkyabiyiisa
Mwami nkusaba onnyamb
Oteeketeekeko wetunaaliira
Wamma nga tukola ddiiro
Twatuula na wansi nga wewasaana
Amazzi bagaleese omwana yafuse dda engalo tunaabye
Mukyala asoosootola mmere
Ng’atoola luwombo alusimba mwami
Mwami nnyambaako awo
Tweyambeyambeko nga bwe mbega eno
Omwami ayanjuluza luwombo
Nasooka kulaba nga yeesise ati!
Nasooka ne ndowooza
Nti akawoowo k’enkoko nti ke kamutuubye
Naye nno okwongera ati, eh eh ebyaddirira tetwabirinda
Ng’essalambwa eryakula lijjudde mu luwombo lyegolodde
Enduulu zaavuga ne ba muliraanwa bajjiramu
Ennyumba yaddukwa nga n’eyali emmere efuuse kadongo
Omukyala yadduka eh ng’oluwombo lw’emmere lumutabudde!
Emberenge zaagaga wakati w’omwami oyo n’omukyala
Omwami n’akaga n’abuuza omukyala ekivuddeko ekyo
Omuggo kaagukutte nti bwotoyogere ndi wa ku kutta
Asoose okusirika bwatamanyi ekyo
Omwami n’alowooza nti
Annyoomye bunyoomi nze bye mugamba
Era omwami teyalwisa
N’agenda amutega oluyi okusooka ppa!
Yaaye yaaye totta mwami
Leka nze njogere ebintu bwe byajja
Ng’omukazi abiva kumu
Eddagala gye yalijja alyoke alifumbe
Era awoza kimu tugende tunoonye eyalinguza oyo
Kale nno ajje atuyambe
Kuba n’ennyumba ndaba ngitidde
Eri yalaajananga nga ffe abamu enseko zibula kututta
Nti ekitiibwa kye wanoonya
Kati okituuseeko ffe tukutidde
Ani gwe atakutyeng,a ne mu byafaayo oli wa kubaamu
Bannange twalaba ffe abaakirabako
Era abasajja twalaba abakazi batuliisa bingi ebitasaana
Naleka bakwabuse bagende banoonye eyalimuguza
Nga nange nkwata gange kuviira byetere nga siibirinze
Natambulanga bwe ndowooza
Singa ekkoko lyange nalitutte eka
Wano nno we ndabulira
Abakyala abalina omuze omubi ogwo
Omala galiisa baami, ebintu ebibi ebitasaana
Buli kye bakugambye, gwe n’omulungira nti ky’ekiyamba
Ebijama n’ebitasaana, gwe n’omufumbira kiba kibi nnyo
Olisanga mu by’okoze ebyo
Mubaamu ebitta mu butamanya bwo
Okaaba ga kimugunyu nti neesaze endira naalagawa nze
Tewali bufumbo bwa ddogo okuggyako empisa z’ezibukuuma
Ne bw’okola ebifaanana ebyo ng’empisa tolina tekikuyamba
Kati amagezi ge mbawa nze kuyonja mpisa zo ezinaakuyamba
Naye egyo eminkuduulu wesanga otuuse ku kye mbagambye
Bannange twalaba ffe abaakirabako
Era omukazi twamutya kati nze olumulengera mpita muli!