Essaawa Y’okuzaawa Lyrics – Paul Kafeero

Tulabye n’obulamu buno obwa kokoonyo
Butulya nguzo ssowaani ku kyotazze
Sso gye twabuggya tewali amanyiyo
Nga ne gye bulaga tewali ategeera
Yiii essaawa y’okuzaawa!

Nafunye ekkangabwa ekiro eyo mu matumbi
Nga ndowoozezza essaawa y’okuzaawa
Olumbe lutulanga bwemage bataayi nkivumbudde
Tulabye n’obulamu obukira obuwoomu
Okutusaanako nga tewali ategedde
Eby’ensi ebitwemazaamu bya bulimba kalenge musa
Pawulo buli lwe ndowooza kw’ebyo
Bwe nkuŋaanya ne njula obunywa buggwewo
Gwe ate ndituuka na kaki eyo ku lukuusi kiteebereze?
Kw’okufa tukimanyi nti kya butonde
Naye tekimanyiirika ekyo bakulimba
Ate nga n’awazaayirwa olaba ng’awampi naye nga wala
Tulabye n’enfa ya luno ezisa amayumba
N’obuto okusigala nga buyaayaana
Luwemye abalenzi abanyumira amasuuti obuteddiriza!
Ndowooza gye balindeka eyo ku lukande
Okunkasukira envunyu zirye ekiwedde
Ddala eyazaayira bannange gye ndigenda olumbe luno!
Ndowooza gye mulindeka eyo ku lukande
Okunkasukira envunyu mpunye ekivundu
Ddala eyazaayira ne mmange gye ndigenda olumbe lubi!
Lwe luno olutuyigga engeri ya Ddungu
Okutuwanika embegaabega okuzaanamyanga
Era lwe lutawaŋŋanya buli kitonde lutuwemmense!

Tulabye n’obulamu buno obwa kokoonyo
Butulya nguzo ssowaani ku kyotazzi
Sso gye twabuggya tewali amanyiyo
Nga ne gye bulaga tewali ategeera
Yiii essaawa y’okuzaawa! x 2

Lutwala n’ennyama bewedde ku magumba
N’obunyaaluse nabwo lubukukumba
Abazaala lubalesa baana mu zi leeba nga lwetikka!
Abakunkuna n’emiggo mu bukanzu
Telubawanise mpalaata luweneena
Olaba lu chagua abakuumibwa ekikungu lusajja luka!
Ebintu by’okoleredde ebbanga eggwanvu
Bitwalibwa abataali ba kinywi ne becca
Bavulubanira mu byebataamanya gye byava olumbe luno
Walumbe n’otutambuza nga twemasagga
Okutukenenya endusu okira ebimenke
Omukulu gy’otusindika entiisa nnyingi sso tegendwa adda
Okufa tekuzibirwa kkubo ekyo kyaggwa
Ndabayo n’abamu abakyusibwa emisaayi
Balala batwalwa London mu ba kakensa naye nga wa!
Mukama watupangira obulumi bungi
Okutwabuliza ensi olage emagombe
Lutudaaza ng’olutagenda na kukutta yiiyi ooh oh!

Tulabye n’obulamu buno obwa kokoonyo
Butulya nguzo ssowaani ku kyotazze
Sso gye twabuggya tewali amanyiyo
Nga ne gye bulaga tewali ategeera
Yiii essaawa y’okuzaawa! x 2

Lwemonkoolera ku batona amayumba
Lugabaggyamu nabo tebanasiima
Lubasanga ku mbaga omugole n’afa kiteebereze!
Ebituwalagganyanga tubikyawe
Eno ensi okugyamuka akolola alwawo
Abagagga lwabatereka eyo ku lukuusi tebaddanga
Abayaaye n’abateefu gye tugenda
Nootamanya bw’oliba nga lukujimbye
Nange alejja ne guitar bwe mulinziika male nzaawe
Buli awali akalungi w’asibidde
Nkugambye lwatiribizza empale abalenzi
Olaba lutaayiza kkapa eraba amatumbi lusukkirivu!
Ssebo walumbe n’obuyinza bwo tuyambe
Tusuumuse ku bwana bwaffe buyaayaana
Kubanga gy’otuganzika entiisa nnyingi bikuuno bisa

Tulabye n’obulamu buno obwa kokoonyo
Butulya nguzo ssowaani ku kyotazze
Sso gye twabuggya tewali amanyiyo
Nga ne gye bulaga tewali ategeera
Yiii! essaawa y’okuzaawa x 2

Otunuulira eyali anyirira n’otya
Ng’anti akunkumuka evvu akira ekikoomi
Abaali beeyiringula kati migogge olumbe luno
Lutera n’okulingizaako mu malaame
Omusika n’akusookayo mu by’omuzannyo
Omwana wo eyali akuwa buli kalungi nga lwetikka
Kale no twanditegedde ddi lwoligenda
Twekanga abamu lubaggye mu luguudo
Ne mu bire lubawanulayo kisuffu terwewalika!
Singa atuyigga bwa ppeke afazaali mw’ekyo
Naatayambibwako ba mitwe mikambwe
Lututega n’emiyaayu gituganze wagwenya yii!
Nze n’emikwano gya luno ssikyetegeera
Abasinga okutwagalangako lupiiya
Ssebo n’akupangira atyo mu bulwadde ofe agabane!
Tutintima buli lwe lunyaga omu ku ffe
Bannange essaawa y’okufa ejja n’ebigambo
N’owulira abawoza gundi y’amunyodde kyokka ensi eno!
By’ebyo ebintunuza ng’amira akaloddo
Okufa bwe kumala okugwa teri ategeera
Okutabangula emikwano buli kadde lwa katwewungu
Simanyi n’ebiwuggulu lubyetoziiza
Ndaba bye byekoboggoza mbu bitulanga
Ne bi namunyenye ebyabikanga mwanange!
Enduulu n’emiranga mu nnaku ebisuffu
Ebiwerekera ddala alaga emagombe
Kimwakire atebenkere togenda kudda tukwerabire!

Tulabye n’obulamu buno obwa kokoonyo
Butulya nguzo ssowaani ku kyotazze
Sso gye twabuggya tewali amanyiyo
Nga ne gye bulaga tewali ategeera
Yiii essaawa y’okuzaawa! x 2

Nze ndutya kwekyusiza ba Kakwaya!
Basajja be ataava mu bagira by’aggunze
Bwonna ne bu cuula bumuwoomera teyenyinyala!
Nakubuuza dda nti etari siteegi
Olituteeka wa gwe atamanyi kuzimba?
Ye ate tunaagamba tutya nga n’abazimbi obasombodde?
Bannange lwatirimbula Simbwa ne ntya
Ffundi wange eyanzimbira ekiswa eka
Musajja wattu ataalina luyombo eyasaaganga
Omwami alina life eri ewuwe emagombe
Alina gu band ogumukubira ebidongo
Yatirimbula abayimbi mu ngeri ye enkambwe abangi batyo!
Mazima Jim Reeve n’abulako entaana
Lulina amattire, yi lukambwe
Na kati gye lwayisa Hitler teri amanyiiyo ow’amagye fugge!
Ye abaffe Seseseko ye lwamulanga ki?
Okumutwala nga yesimbye jaali
N’abafuzi obabaaga bubuzi omanyi okubamba wagenda wala!
Lutwogezaako n’ebigwanira abagwenyu
Mbu afudde n’awona obulumi obw’ensi
Nti ani yali alabye ku bifa gye bazaayira mubakiine mutyo?
Akyassa tomanya nti lunaalumba
Kye bava bawemukira alaga emagombe
Ebintu byo ne binyagwa okira bye wabba eŋanda zino!
Nebweribeera bbanja teri kusaasira
Waakiri gy’afiiridde abowa omulambo
Magoba ki agasuubirwa okuva mu azaaye mutubanjenga?
Obwana bwo gye busoma gwe kasita ofa
Nnyinza ogamba nti babuzza lwa kuziika
Kati Headmaster amanya teri kuyamba olwo bwegaanwa
Waliwo we lwantabulira ate ku be lwalya
Ne lubazuukusa okunona n’abakyassa
Emizimu gidobonkanya ebika bataayi bagandange!
Oba okyakungiriza abagwa mu mayanja
N’ojja owulirayo ate ba Kibwetere
Omuntu n’ayokya banne enkuyanja bwetyo oli kasajja kabi
Oba okyakungiriza abagwa mu mayanja
N’ojja owulirayo ate ba Kibwetere
Omuntu n’ayokya banne enkuyanja bwetyo ddiini etya?
Pawulo buli lwe ndowooza kw’ebyo
Bwe nkuŋaanya ne mbula obunywa buggwewo
Gwe ate ndituuka na kaki eyo ku lukuusi etegendwa adda?
Pawulo buli lwe ndowooza kw’ebyo
Bwe nkuŋaanya ne mbula obunywa buggwewo
Gwe ate ndituuka na kaki eyo ku lukuusi etegendwa adda?

Tulabye n’obulamu buno obwa kokoonyo
Butulya nguzo ssowaani ku kyotazze
Sso gye twabuggya tewali amanyiyo
Nga ne gye bulaga tewali ategeera
Yiii essaawa y’okuzaawa!
Repeat chorus till fade…

Submit Corrections