Entiisa Y’okufa Lyrics – Angel Sekandi

Olumbe lulina amattire
Ani atazaayisangako amulumya omwoyo?
Nga n’amasanja ga muganzi wo
Teganayoolebwa kitalo lwamaze omulya
Kale nno lwandirese abaana b’abaguuda
Kko n’abalangira, abateefu n’abafumbo
Omuntu bwe mulabye ennaku okukuyabulira
Olumbe lulina ettima!
Tulabye n’okufa obutadda
Walumbe yecca empingu eziri e magombe
Embaggubaggu z’abasajja zibulidde mu ttaka
Ddala awatono bwewatyo!
Okwaziirana emiranga n’ebigambo
Y’ensasagge bulijjo eraga e magombe
Olutindigga bwa ppeke nga bwe wajja ddala ddala
Nga bakusuulayo nnyabo
Ng’olwo bakutaddeko n’erinnya ly’omulambo
Ekyoleka nga bwotokyagasa nsi
Nga n’ekiddirira olina kugenda mu ttaka
Ensi bwotyo n’ogisiibula
Ate omubi n’akoze ebirungi
Buli gwe lukazaakaza awunya ekivundu
Ne weebuuzaamu nti oba tunaabiranga ki?
Nga lukumegga n’owunya!
Ennaku bebunyea obusonda
Abantu baabwe baabazaayiza ewala ennyo
Obulumi bw’okufiirwa buwanuuza ebizibu
Teribeeranga ku ssanyu
Abamu babulako amafiire
Abaazaayira mu nnyanja n’obubenje
Ye emirambo gy’entalo ani abeera agiyawula
Egivundiranga mu ttale?

Ate nga lunaakulya obulungi
Nga lubuzaabuza abazungu n’abaganga
Nga lukukkata wuwo okukwenyaza mu baana bo
Bwe lwakola ku Mandela
Kye nalutiddeko ne bw’oliba omuganzi
Mpaawo alikwatirako nga luttogoonya
Kafeero twandimuyambyeko nga lumugajambula
Nga bambi lwamulaajanya!
Abamu lubasuza batudde
Kino eyalwazaako omwana y’akirojja
Omuntu wo kirungi n’akumala empiiya mu ngalo
Nga zikuweddeko awonye
Abalina emibiri egitiibwa obutooke
Be bagogombye ng’ente zoomukyeya
Lubawenyeggeza ku miggo abaali abatambula
Luno lukambwe baabuwe!
Bba wa Nagawa ne Musomesa Mbaziira
Baabassa minkuduulu gya bubenje
Omuntu gw’omanyi nti enkya ajja kusaanawo
Kiki ekimutugumbuza?
Okufa kwonna kwenkana mu ga Katonda mu ggulu
Mpozzi obudde bw’omala nga lukulwanyisa
Kuba eriyo abamala ebbanga nga bapooca ku ndiri
Abandi biba bwebityo
Walumbe yennyini okuba nalyambe
Entakulamanda yennyini etulya ekirindi
N’olutwala muggya wo nalwo lusaanira nguzi
Bannange omulenzi aluma
Gye tulaga naye eriyo ki?
Ky’ekinzuzumbya omutwe Sekandi
Bwetwalinga tutambula okumuyita ngule
Kigambo kya nnaku!

Woowe, yaaye!
Ki tuleka ensi mu bulumi bwebutyo?
Luno oluwalo lw’okufa lwe twajjirwa
Eeh kitalo nnyo baabuwe
Woowe, yaaye!
Ki tuleka ensi mu bulumi bwebutyo?
Luno oluwalo lw’okufa lwe twajjirwa
Eeh kitalo nnyo baabuwe

Bakulaga amalaalo g’eyali omuguuda
Nga gawomoggose okira paaka enkadde!
Nga n’emirimu gye yali akola gifumwa mu ngero
Olumbe lumanyi okomya
Ebiruliruli nnyoko omusindira eggumu
Kko n’amabeere gennyini okumusaanuuka
Okubala kw’ebirime kkapa okukaabira ddala
Nabyo biranga lw’olifa
Babikusuulako busuuzi
Nti kati oli namwandu n’olaba akasattiro
Ng’olwo essuubi ly’emirembe gyo liseebengerera
Kuba musajja wo abuze
Okumanya entiisa y’okufa nnene
Omufu ageze ayasimule olabe akapaalo
Ye Abakunja ababawoomerwa oba mwakula mutya?
Mulirya n’ebitaagujo!
Mukyala wange bwe ndiba nkusoose
Naye afazaali twandigenze babiri ndowooza
Bannange ssiyogezza ttima oba bukotoggeze
Naye eri waliyo empewo!
Mazima eyalina emikwano gye enjolo
Baba bava e magombe n’olaba okupaala
Gyoli bwe batambula empola obakukkulumira
Abantubalamu kkoyi!
Munnyambanga bwe ndiba mmaze okuzaawa
Obwana bwange muleme obulangiranga
Ne bye ndese mulyangako naye nga mubalirira
Kuba ndiba ssikyanyega
Mu basezi ba kumba mmwe nina okuziikwa
Ssitonnyebwangako enkuba mmaze okulaama
N’obutawuubaalira mu nsi y’eri gye ndiba ndaze
Munteerangayo guitar

Woowe, yaaye!
Ki tuleka ensi mu bulumi bwebutyo?
Luno oluwalo lw’okufa lwe twajjirwa
Eeh kitalo nnyo baabuwe
Woowe, yaaye!
Ki tuleka ensi mu bulumi bwebutyo?
Luno oluwalo lw’okufa lwe twajjirwa
Eeh kitalo nnyo baabuwe

Mu ntaana etali kukyuka
Era bwe kiriba emirembe n’emirembe
Teri abaguliza ku bantu bo
Oba n’owowoggana nti abange omusezi annonye
Abaali abaana b’abagagga baabuwe
Be balombereza twajjirwa okuzaawa
Tosaaga na kufa olaba kutaayiza njovu
Etambula ebunye ekkubo!
Obulumi obutagenda kuggwa
Obwefaananyiriza embuto ezivaamu
Ye eggwanika erisembeza buli omu lyakula litya?
Abajeere n’abafaaluma!
Tulabye n’obulombolombo bw’okuziikwa
Enkuba okusanga mu luggya teri akuyingiza
N’ebigaaga ebikunaazibwa bikwekwebwa ddala
Kko n’omufumbo by’akola
Abasugumbya n’ensi bw’egula emirambo
Famire zaabwe babiyogera ziri bunaayira
Obuwanga bw’e Luweero ne Rwanda kinyoolankoto
Abafugwa tulina ennaku
Nze n’okufa nkwogerako mpola
Kuba kitange kwamuzaayiza e Bukunja
Naawe omulungi wo yagendera ddala ddala
Wasigaza bifaananyi
Era kitukakatako oba n’ebiraamo
Olw’okuluŋŋamya omusaayi gwo nkugamba
N’abasigadde mukkiririzenga mw’ebyo byalese
Temutuzzanga mu ntalo
Mumpanga omubissi ne nnywa
Omuntu wange teyagenda lwa ttamiiro
Ye omwenge gwebataakola gunaaba mu ngalo
Kiki ekibagaana ogunywa?
Nnyabo alokompoka mbu waragi ammazeeyo
Maiso lwamuziba maaso lwa ttamiiro?
Omuggalambi ategeenyirira emkuutabuliri
Tozannyiranga ku zzipu!
Bannange abaana ba Basudde bw’obasanga
Nze banzijukiza eyali asula e Masaaba
Abaana b’eyali munno wo obadduukiriranga
Nga naawe bw’okisuubira
Naye Mukama gwe olina obuyinza!
Walumbe muzze ku bbali akomye obukambwe
N’abalwadde wandisaanye okubakwatirwa ekisa
Tonzitiranga mu nnaku
Abafu bw’oliba oyagadde
Tulisisinkana abawummuze mirembe
Nsaba obawe ekitangaala eky’olubeerera
Bawummulize mu ssanyu

Woowe, yaaye!
Ki tuleka ensi mu bulumi bwebutyo?
Luno oluwalo lw’okufa lwe twajjirwa
Eeh kitalo nnyo baabuwe
Woowe, yaaye!
Ki tuleka ensi mu bulumi bwebutyo?
Luno oluwalo lw’okufa lwe twajjirwa
Eeh kitalo nnyo baabuwe

Submit Corrections