Nedda maama toggalawo luggi
Nze tombalira mu bali abalala
Baŋambye wakoowa abantu
N’abantu ne bakkoowa
Kko nze no guno omutima gwe nina
Sijja kulinda kumpita
Ng’eka eyo ninayo eddagala
Erinaakuwonya entalo z’olina
Maama no oluggi olwo oluggala
Naye kyenkana olinga atalusibye
Teri kiri mu nju omwo kyetutamanyi
Ebyama byo byasaasaana
Yanguwa nnyo ŋenda kubyatula
Kasita tokyatya kuswala
Bwe mmala, nkulekere eddagala
Bw’oliwona olyebaza
Ekisooka omwami yakugoba
Walemerawo lwa kutya kuswala
Ne siriimu mpulira yakusena
Watandika dda olowooza ku kufa
Abalabe bo bangi abakuloga
Okwo ssaako ku mulimu gye baggoba
Entalo zo zisusse obuzito
Naye eddagala lyo liirino
Maama entalo zo zikwase Katonda
Y’alwana n’awangula
Teri lutalo lw’agenze kulwana
N’akomawo nga taluwangudde
Wabula ye tagabana kitiibwa
Tayagala alwane nga naawe olwana
Ayagala bw’omukwasa entalo zo tuula eka
Olinde buwanguzi
Mukama bw’omukwasa ebikulemye
Awo linda, linda kuwangula
Egyo emikwano gyo nga gikulimba
Gyegeendereze nagyo gikozza
Nabawulidde nga bakugamba
Mbu genda mu ssabo empewo zikufuuweko
Omanyi Katonda ayamba yeyambye
Lubaale mbeera embiro kw’otadde
Abo bwotaabaviire mangu
Ojja kufa ekiseera kyo tekinnaba
Lubaale mbeera kitegeeza
Watya ng’osanze empologoma
Yita lubaale nga naawe bw’odduka
Bwotadduka ebibyo biwedde
Daniel baamusuula mu bunnya
Awataali buddukiro bwonna
Ye bwe yayita Katonda teyadduka
Ate tezaamulya
Maama entalo zo zikwase Katonda
Y’alwana n’awangula
(Mukama alwana n’awangula)
Teri lutalo lw’agenze kulwana (teri)
N’akomawo nga taluwangudde (wabula)
Wabula ye tagabana kitiibwa (ye)
Tayagala alwane nga naawe olwana
Ayagala bw’omukwasa entalo zo tuula eka (tuula)
Olinde buwanguzi
Mukama bw’omukwasa ebikulemye
Awo linda, linda kuwangula (hmmm yeah)
Wano jjo nawulidde abanyumya
Mbu waliwo mu kisaawe gye walaze
Mbu nga naawe ozzaayo eddogo
Liddire abo bonna abakuloga
Kko nze ono Joan abaddeki?
Yafunye ddi omutima oguloga!
Ne Bible alabika yagivaako
Embeera ye erabika evunda
Weerabidde Bible esomesa
Musonyiwe bonna ababasobya
Ne Yesu ku musaalaba waggulu
Obulumi yabulina era n’asonyiwa
Omuntu ky’asiga ky’akungula
Osize bukyayi kale olibukungula
Entalo zo zikwase Katonda
Ne bali b’ologa Mukama abaagala
Kati kino tukyogere mu kyama (mu kyama)
Abantu tebatuwulira
Jjukira nga tukyali mu kyalo
Abantu nga beeloga
Nga gwe baloze agamba omusamize
Jajja nnyamba na bino obizzeeyo
Ekkanisa ezitali Kigambo
Nga zirina bigambo, zeewalenga
Maama entalo zo zikwase Katonda
(Wulira maama)
Y’alwana n’awangula
(Mukama alwana n’awangula)
Teri lutalo lw’agenze kulwana (ye, ye)
N’akomawo nga taluwangudde
(Takomangawo nga bamuwangudde)
Wabula ye tagabana kitiibwa
(Tagabana kitiibwa)
Tayagala alwane nga naawe olwana
(Tayagala kajanja)
Ayagala bw’omukwasa entalo zo tuula eka (ye, tuula eka)
Olinde buwanguzi (Oh ssebo Kabaka)
Mukama bw’omukwasa ebikulemye
(Musawo, ŋamba omuwonya wange)
Awo linda, linda kuwangula (hmmm yeah)
Mukama alwana n’awangula mukulu kimanye
Alwana n’awangula
Ono ssebo alwana n’ampanguza nange nkimanyi
Alwana n’awangula
Mbuuza osabira wa gye mwerwanira entalo?
Alwana n’awangula
Ye, Bayibuli ki gy’osoma etayogera ku kusonyiwa?
Alwana n’awangula
Wandiba osabira mu ssabo naye nga lya bbaati
Alwana n’awangula
Ssebo, wandiba osabira mu ssabo lyo ssi lya ssubi
Alwana n’awangula
Ye, Mukama akomawo anone Kkanisa okutali bbala
Alwana n’awangula
Gy’osabira munaagenda oba munaasigala?
Alwana n’awangula
Kale eyo gye mwerogaŋŋana gira gira onobe
Alwana n’awangula
Nange anwanira entalo ate n’ampanguza
Alwana n’awangula
Nze sirwana, ssiyomba n’abandoga…