Ensi Yammwe Lyrics – Vincent Segawa

Abajeere omulyowa myoyo nzuuno
Bannange bwe batulabizza ennaku
Mungu eyatugatta awamu bwoli wa kisa tusaasire
Tulabye abantu mu nsolo
Saakimanya nti wantuma olina olugendo lw’ombalira maama
E Luzira emagombe
Kyokka abantu mulina ettima naye ensi tewali agikungula
Teweeyita Katonda
Tuli mu nsi eno tulina ebigendererwa buli omu ku ky’akola
Era mmambya y’etukeeza
Naye abatonde balina emitima gw’oliraanye y’akulwanyisa
Akumanyi y’akujeeza
W’okolera awo waliwo omulogo wo togeza baaba kwegumya
Abalogo gyebali
Ggwe awakanya eddogo nga w’okolera tolabangawo akulwanyisa
Jangu eno mu kidongo weegere
Mu kola mulimu fitina n’okufa abamu era battibwa
Bw’otundanga olinda lw’olifa
N’osiibula nga tosiimye ate bafudde kuyimba kattiro
Tusaasire Katonda w’amagye
Nze mu kkomera bansiba naye ekigendererwa okunsiba
Baagenderera kunkomya
Naye ateegendereze bantu ku nsi gye nkomye gy’ojja okoma
Yo ensi yaabwe mu Katonda mu ggulu
Nategeeredde mu kkomera nti abasingayo tebaasobya
Forgery nga baabapangira
Nga bw’omanyi akusinga akkubya gw’okutte nga ggwe basiba
Ng’oyingidde mu kattabalamu
Eryo ly’erinnya ly’ekkomera lye ndituumye munzikirize
Ssikulimba ekkomera litta olaba
N’ofuuka omufu w’obwongo nga plan zo tezikola
Olwo abava ebweru ne bakutegeerera
Ate omuntu kata osibwa buli kimu ekikyo nga kigootaana
Ng’era omuntu amaze okkoma
Bwe banyaga emmaali y’omufu n’eyomusibe bw’edobonkana
Ndeka ndiyite akattabalamu
Wabula ekkomera
E kattabalamu eyo y’esibirwa abazzi b’emisango naffe abataasobya
Wabula omuntu
Bw’akusiba abeera akusse oba onoplaninga ki mu busibe?

Naye kiki?
Mugenderera ki abatwagaza okufa ennaku?
Weewunye ng’omuntu talina kye yakkola!
N’omwekiika Katonda w’abakuggye yamba
N’abaali bannaffe kati ngo
Muli mu nsi yammwe
Kale omunaku k’aboneebone mmwe mwamala
Emikwano gitulimbalimba mwegendereze
Baba eyo batupangira nkwe bw’oba weesiga
Okikolanga ogasala ag’ebiriddako
Ensi yammwe
Kale omunaku k’aboneebone mmwe mwamala
Muba eyo mutupangira nkwe mu nsi yammwe eno
Mukama weereza ensi y’abateefu otuwonye ensi y’ababi
Eno batwagaza kulira

Simanyi osamirira mu ndeku nga by’okola ate bya kitamiivu!
Oba weegatta ku bafuuwa enjaga?
Ssebo kalevu circle bw’oba muntu weerowooze onsonyiwe
Nneme okukulomba ekinyegere
Yerungiya okufa mu bantu nti anjagala nga sso anjeeza
Kyokka sappule tagiwummuza
Naye n’ekikolwa ekimu omugamba akisome nga mbooko
Omukuba omutwe ogwo n’ogubotola
Siyinza kwogera nti abba ennyimba
Nti abba annyimba
Siyinza kwogera nti abba ennyimba ekyo nkyesigalize
Ndikyogera olulala waakiri
Olaba ne luli mu kuntuma ebyasigala mbimalirize
Siyinza bategeeza kyaliwo
Nga ntandikira wa okubagamba nti lwali lwa babiri ye
N’alwefunza olw’obukumpanya
Nakuŋŋaanya kakiiko okumuloopa ke kaamutuma ekyo
Nti teekamu Ssegawa w’atandikira
Naye ssinyumiddwa nga mbibagamba lwakuba ensi efunza
N’ekwogeza ebiswaza n’emimwa
Ka mbuuze Kalule Sama nti omuntu bw’aba mubbi nnyo
Amala n’afuna emikisa mu by’anyaze?
Yiiii oooh! kyokka abantu!
Akaalo ke w’akyamira ndowooza n’omutima bwegutyo
Ssi mwangu nga bw’okisuubira
Kale oyonjanga omwoyo gwo lw’olisanyusa Omutonzi wo
Ssi buyonjo bwa lususu mu mbugo
N’abamuyambako omwami oyo atuukirize enkwe ze nsiima
Mulina obudde bw’okuwalana!
Ttakabondo lumiramwoyo wa kuno bwe ndifa tojja ewange
Ndabe oba ndidibira ku ngulu
Nga muyingirira mutya empalana zino mpalaniraako nga mubi!
Mwandibigaanye ebitabakwatako
Okunziba n’okunzita ndaba nga bw’onzita oba osinga
Bwonna obulumi ne mbuwummula
Kati ninda mupange eby’okunzita mumuyambe era
Olaba ne mu Mabira yannemererwa
Nze ne bw’ontambulira sirina Katonda gwe nakwasa ebyange
N’essaala eyange ewangula eddogo
Ye munatuusa wa okuyimba kwange kwa talanta nzaale
Sabba bululu ne nkuwangula
Atya obuloolo talunda nkoko oba mu kuyimba vvaamu
Ssala emitwe oba toyagala akuvuganya

Naye kiki?
Mugenderera ki abatwagaza okufa ennaku?
Weewunye ng’omuntu talina kye yakkola!
N’omwekiika Katonda w’abakuggye yamba
N’abaali bannaffe kati ngo
Muli mu nsi yammwe
Kale omunaku k’aboneebone mmwe mwamala
Emikwano gitulimbalimba mwegendereze
Baba eyo batupangira nkwe bw’oba weesiga
Okikolanga ogasala ag’ebiriddako
Ensi yammwe
Kale omunaku k’aboneebone mmwe mwamala
Muba eyo mutupangira nkwe mu nsi yammwe eno
Mukama weereza ensi y’abateefu otuwonye ensi y’ababi
Eno batwagaza kulira

Ebintu by’okufuna oyita ku lugwanyu
Bw’ottibwa omwoyo ng’alina ettima
Bakulanga ebintu by’entuuyo zo
Toli bulungi naye ako k’ofuna omulala kaakunyoolera
Nga ye alaba omugaggawaddeko
Abantu ku by’ensi nga baasoba Namusisi babuulire
Olaba n’ebyapa babikumpanya!
Ettaka ly’omanyi eritabbika kinanjokya mmize maama
Namusisi ekitumbwa ku abalojjera
Kale nno ne mu bagagga bwekityo okugoba ddiiru n’efuna
Nali manyi nti biri mu baalemwa
Teri ddembe mu nsi yonna byayonooneka
Olaba omugagga ddiiru ensava ekunyoozesa omutwe!
Kati awo kye nina okukola omulyowamyoyo mbalambike
Mube n’eddiini abantu ba kuno
Biibino ebiragiro bya Katonda buli kimu byonna kkumi
Bibalambike okugenda mu ggulu

Osinzanga Katonda omu yekka era omwagaliranga ddala
Ky’ekiragiro ekisookera ddala
Kitugaana okutendereza ebitonde nti Katonda amala
Mmwe abeesiga okugenda mu ddogo
Tolayiriranga bwereere linnya lya Katonda ng’olimba
Eyali akikoze osaana kwejjusa
Okwejjusa kuba kweloopa maaso ga Kabona
Ng’omugamba bye wasobya olwo otere osonyiyibwe
Olongoosanga olunaku lwa Katonda ku Ssande ng’osaba
Ekindi luba lwa kuwummula
N’olwokutaano ye Juma omusiraamu okolako mangu
Ogende osaale yirimu neetakusuba
Otyanga kitaawo ne nnyoko ekyo ekiragiro kyakuna
Avuma abazadde kimpemempeme
Okunyoomoola bazadde bo mpiisa nvundu omunyooma odde wa?
Singa ssi y’oyo wandibaddewo?
Tottanga ne gw’ozadde tolina buyinza bumuggyawo
Kati omutemu ogenda kudda wa?
N’omulogo aloga okutta n’abasiiga bannammwe siriimu
Mu bugenderevu muli mu kabi
Toyendanga kya mukaaga
Tobbanga musanvu kya ngalo
Engalo empanvu balizikomola
Olekanga okuwaayiriza n’okulimba kiragiro kya munaana
Bw’oba obikola ogendereranga
Eky’omwenda tewegombanga mukazi wabandi
Eyo nswanjere bangi obufumbo butabanguse
Eky’ekkumi teweegombanga bintu byabandi nti ojje onyage
Weegombe nga otuuyana okole
Bwentyo bwe nkoze ku lwa Katonda abaagaliza eggulu
Ng’owammwe naye ndi mwawufu
Nsaba aba ffitina Ddunda Katonda akkirize obawa ekisa
Kuba Mukama batuli bubi

Naye kiki?
Mugenderera ki abatwagaza okufa ennaku?
Weewunye ng’omuntu talina kye yakkola!
N’omwekiika Katonda w’abakuggye yamba
N’abaali bannaffe kati ngo
Muli mu nsi yammwe
Kale omunaku k’aboneebone mmwe mwamala
Emikwano gitulimbalimba mwegendereze
Baba eyo batupangira nkwe bw’oba weesiga
Okikolanga ogasala ag’ebiriddako
Ensi yammwe
Kale omunaku k’aboneebone mmwe mwamala
Muba eyo mutupangira nkwe mu nsi yammwe eno
Mukama weereza ensi y’abateefu otuwonye ensi y’ababi
Eno batwagaza kulira

Submit Corrections