Kano akayimba
Nka dedicatingidde ba champions ba hustle
Ba chali ensi ne bwebaggunda
And everybody thinks they can’t get up
They still find that strength to get up
That’s what champions are made of
Ba chali bange ab’e Wandegeya
Yeah
I want you to put that hand up
You make a fist
Yeah
That’s what am talking about
Yeah yeah
Bw’osoma mu mawulire nti kati Zamba yaguze akamotoka
Nange jjukira waliwo time bwe navuganga Boda Boda
Bw’osoma mu mawulire nti kati Zamba yaguze oguyumba
Nange jjukira waliwo time wenalinga omupangisa
Bw’onsanga ndya bi pizza ndi awo ku Nandos
Nange jjukirako ka time mwe nalyanga zi Rolex
Ebire ebiddugavu bibikka ensi notalaba kasana
N’otunuulira ensi nga buli omu agirimu ayaayaana
Kabeere omusajja omukulu omuto oba omwana
Ekikaabya ente enkulu
Of course kikaabya n’ennyana
Mbanyumiza nti eyo gye nsula mpulirayo ba kijaana
Akola essaawa lunaana
Okufissaawo olunaana
Nga kw’otadde baalabirira
Omukyala n’abaana
Bw’afuna eza Landlord
School fees apaana
Stage ya UTODA kw’akola nga mulimu enkaayana
Omusanga aleekaana ayita Taxi mu kasana
Okamanyi ak’e Kampala nga ku ssaawa munaana
Agamba ebintu byabiggya okuva lwe baagoba Ssebaana
Hustle y’e Kampala
Ebeera ya kupatikana
Ssente z’e Kampala
Zibeera za kutuuyana
Kati tulwanyisa nsi tugitadde mu arm wrestle
Tuli ba survivor
Buli omu anoonya pestle
Emisolo mingi nagyo nga gitukanulidde amaaso
Sinenya batembeeyi bazanya tepo n’aba City Council
Kuba ku bibiriiti by’atunda naye abeera afissaako sso
Bw’omusaba license abulawo nga kimyanso
Omunoonya nga capsule enjeru mu muceere gwa kayiso
Nange ku microphone ngikutte
Gladiator ninga Rusell
Aaah yeah
Listen
Yeah yeah
Ensi bw’ekkuba blow
Naawe giwe punch
Tokkirizanga nsi eno kukuteeka wansi
Ensi bw’ekkuba blow
Naawe giwe punch
Tokkirizanga nsi eno kukuteeka wansi
Ensi bw’ekkuba blow
Naawe giwe punch
Tokkirizanga nsi eno kukuteeka wansi
Ensi bw’ekkuba blow
Naawe giwe punch
Tokkirizanga nsi eno kukuteeka wansi
Yeah Corporate nkulaba okola naye tolina za lunch
Oli broke ebya ddala awatali bya credit crunch
Tolina z’akagaati bakugamba ogule keeki
Olwanyisa nsi naye ku luno nze ndaba ekukubye punch
Okulaba nti olina ebizibu setaaga google search
Kuba deal zo zeekutte nga zebataddemu stach
Walyanga ku Serena kati olya wa Maama Naaki
Bank ekubanja esindise omuntu ku buli branch
Okutandika business ennyumba wagiteekayo ku loan
N’emmotoka gy’ovuga nayo siyiyo ya loan
Kati business tekyatambula kubanga wafuna gu loan
Laba bwe babitwala n’osigala nga you’re cold and all alone
Ne mukazi bw’otabeera steady
Osanga ka note ke yawandiise mu lulimi lw’otegeera nti baby am gone
Back in the days chali wange wabeeranga ku top tide
Naye kati ndaba tokyalina credit yadde ku phone
Chali wange nkulaba you’re broken stressed and torn
Walinga boss naye kati ensi ekuzinyisa reggeatone
Carry on
Nze nzija nga malayika ne nkugamba you have to fight on
Until the battle is won
Tunuulira gye wava
Amaka gemwalyanga emmere okutaaliko nva
Bw’oba ogamba ntino never
Teeka omukono gwo waggulu
Kano akayimba kako nange
Teeka omukono gwo waggulu
Ka chali wange yimba nange
Excited