Eŋŋoma Yange Lyrics – Saava Karim Nsubuga

Ani atanajja asubwa ebirungi?
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda
Ataagizine y’anaagisubwa

Eŋŋoma yange eŋŋoma yange eno
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda
Ataagizine y’anaagisubwa

Eŋŋoma yange eŋŋoma yange eno
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda
Ataagizine y’anaagisubwa

Mumpe ku ngalo nnyumye Oluganda ndumanyi
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda
Ataagizine y’anaagisubwa

Kaneeyagaleko Kabaka mwali
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda
Ataagizine y’anaagisubwa

Nze ndi Saava mmanyi Oluganda
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda
Ataagizine y’anaagisubwa

Ndayira Naalinnya eyalinnya mu mmere
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda
Ataagizine y’anaagisubwa

Ab’akaluulu bwe mulwayo mummenya
Waalaala eŋŋoma ngikoonye mu Luganda (wuuluuluulu…)
Ataagizine y’anaagisubwa

Bino nnyimbye bya bakulu mwedigidire
Abaana abato mulindeko ebyammwe nfumba
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Muliraanwa wantabula kankubuulire
Ggwe atavuba onoonyanga ki eyo mu balunnyanja?
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Baakikutte ne muka neighbor ate ne kivevenga
Mbu mbadde mutwala mu lusuku mubalule embwa eyo
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Ssekamatte yabuuza omuwala nga mpulira
Nkutte ku mambulugga oba bwe watondebwa amatama?
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Jjuuzi omukazi yagambye bba we nga mpulira
Nti mwami kyusaamu ongudde akataka onzita!
Aah gy’agenze ssi Bbunga (ku ky’e Busaabala)
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Olukazi olukadde nnyo olukkolokkolo
Lwakalabula Jimmy ekkundi kaakati anyiga bbwa
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Twalagaana n’ogwana okuzannya obukiika
Kyokka obusiru bw’ogwana ate ne guwalampa!
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Baawaana muka gundi bw’amanyi okucanga
Ate obwedda awoza mpolampola nina olukindo!
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Abakazi abakyakyala muyige okunaaba
Emmese yaluma Nalukuuta olubalama
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Olukazzi olukadde ennyo olukkolokkolo
Lwakunamira eppaapaali ne libala emmwanyi
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Aka sausage bwe nnyimba aka sausage
Ŋŋamba omukyala kaalabako n’amira muganda
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Naka, Naka, Naka Nakalanzi
Yangyalira essubi ne ndiyita omufaliso dear
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Ogenda n’ozina n’oyawula
Munnange ogenda n’ozina ne mpulira akawoowo k’empuuta
Aah gy’agenze ssi Bbunga (olimba munnange)
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Munkubira bwereere sibbye empty
Nalumansi yakutamye ne nterebuka
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Bw’oba osika empewo otuula bubi
Owumbangako jjuuzi wankubya saluuti
Aah gy’agenze ssi Bbunga
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Abaatuddiza ebyaffe ŋŋamba ebya Buganda
N’ebisigaddeyo mubituwe tunabisiima
Aah gy’agenze ssi Bbunga (tulindiridde nnyo)
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Neyanzizza bannange eby’okulya nfunye
Ani alina omunnyo ampe njagala genda?
Aah gy’agenze ssi Bbunga (ndi mu lugendo)
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Waalaalaalaala bye

Wuluuluuluulu
Yiiyo, yiiyo, yiiyo, yiiyo…
Aah gy’agenze ssi Bbunga (koona, koona, koona…)
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi
(abange)
Aah gy’agenze ssi Bbunga (ani oyo?, owange)
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Aah gy’agenze ssi Bbunga (koona, koona, koona…)
Bw’abadde ava wano mbu agenze Ggaba ku mazzi

Weebale amaganda gaawoomye yiiiii
Wuluuluuluulu…
Weebale amaganda gaawoomye yiiiii

Submit Corrections