Yeah
Yeah
The son of Najjuma
Abedunego babe
Banq Records
Yeah
Katonda
(Katonda, Katonda…)
Beats By I.B
Katonda
Nina ebibuuzo bambi nsaba kunnyanukula
Answer mu Bible zambula nkanya gibikkula!
Kitamya obulamu okumanya nti olisiibula
Obutuwa bw’obukima ki ogaba ogabulula?
Gwe eyampa amaaso
Ssikuyisaamu maaso
Just nzize mu maaso go
Mmanye ekigenda mu maaso
Ng’obujonjo buli lukya abalungi batuva ku maaso
Amaziga ne gava mu maaso
(Sobbing)
Ssiri dentist nsonyiwa okukulaba mu kamwa
Naye mbuuze ani ng’abasumba batamwattamwa?
Bali mu kitwale wooloolo basamwassamwa!
Baganda baffe nga bakkirira zzirakumwa
Ng’ente etayagala kkamwa ba kickinga bucket
Ne tukaabira amata agayiise
Abaali abaffe z’embuyaga kati ezitwambaza jacket
Kuba nkuyanja tubaziise
Mmanyi gwe akola agenda
Gwe alonda ani asigala, gwe alonda ani agenda
Mitima gyaffe kujjuddeko nnaku nga calendar
Kino kisusse kyonna kye twakola we surrender
Kituufu oli Katonda era gwe taata tosobya
Naye mbadde ninawo ekiteeso tokingobya
Nkusaba okomyewo abalungi be watusubya
Otwalemu abasumbuyi abatujojobya
Komyawo kko abamu
Komyawo ka Radio kaffe twala Bebe Cool
Endongo eddemu etambule yafuna muscle pull
Tuwe Kaweesi twala Kayihura kiri cool (twala)
Alimu engalo empanvu ezitagasa mpozzi mu duulu
Komyawo Paul Kafeero Job omulangira
Otwale Catherine ewatali kusaasira
Tuwe Basudde ne Bongoley be wakulula
Twala Kony toŋamba mbu naawe yakubula
Komyawo Akay 47 mu mabujje ge
Bambi komyawo Danz ku mapeesa ge
Komyawo Sera twala Sheilah Gashumba
Gattako ne Bad Black oweze ennamba
Nawulira taata ng’anyumiza abanywanyi
Nti bwe watwala Elly wamala abatuuze amaanyi
Nyinyonnyola wagamba tuzaale twale?
Oba tuzaale otwale?
Ddala ki otutwalako abazadde?
Eŋanda n’emikwano buli lw’oyagadde
Ku mibiri gy’abantu baffe envunyu zeeyagadde
Twalanga ba suicide
Kuba bo baba baagadde (olaba otya?)
Osomba abato tomanyi school van
Osomba abakulu ng’enkiiko mu clan
Gwe Kitaffe naye ki tugenda olaba?
Mpa answer man
Tupac muzze teri microphone mu mwanandani
Naye nkuumye ntya life?
Toyinza sala magezi obwongo
Ne bw’obuwagala nga knife (tosobola)
K’ebe Lifeguard condom tekuuma life
Mpozzi ko okulemesa okutondawo another life
Walesa Omuganda ettooke oli wa kitiibwa
Omulugwala omutwala teyeesiikidde kanyeebwa
Buli wodda biba biwoobe
Kulaajana naabaawo ntya nze munnange wootoobe?
Buli omu yekyawa man
Tosuubira oli okwagala
Nga ye yekyawa man
Akusekera bukya akusse enkeera
I’ve seen more fake smiles than a camera man
Nga rally driver amasasi gavuga nnyo
Komyawo Kirumira yatuluma nnyo
Siyinza bamalayo abalungi bazaaye nnyo
Oh tulabye n’obulamu buno obwa kookoonyo
Tebakulya amaja
Obutambaala busangula maziga sso ssi bulumi (ooh!)
Ne bw’oba n’amaja
Ofa nga kawuka obulamu tebabugula mu Uchumi (ooh!)
We ain’t happy Jah
Sijja kulimba kumenya lya mwenda mu mateeka go ekkumi (Lord)
Obulamu bwabijja
Era ekigambo f**k life tekiva ku lulimi
Mbigatagatta sifuna total
Siri happy era nze okusmilinga mba nnyumisa photo
Toyagala batamiira naye ate ku nsi essanyu lyabula
Ffe abamu tulinoonya mu bottle
Simanyi kye mbadde okubuuza nga bwe mboggola
Naye nsonyiwa kubanga simanyi kye nkola
Ssitegeezezza kumanyiira
Pain ennemye okumanyiira
Sirina na bwe nkittottola
Ki omulungi omutwala mangu tomukeereya?
N’oleka omubi ng’apepeya?
Bandiba mu church bakinyonnyola
Naye nina ekimemeya
Sisaba ntya abakkiriza okungeya
Singa akanaafa ke katawulira ŋombe
Ba kiggala bokka be bandibadde e magombe
Ng’akaaba amaziga omuntu omu yaŋamba
Nti bw’ozza maama we ne bw’otwalamu abalala kirombe
Nsonyiwa bwe mba nga njogedde eby’ensimattu
Nnaku y’ennuma kuba mmanyi tebalidda abaana battu
Gw’oyagala bukeera ensi yamusesemye
Kiruma okuyiwa ku munno ettaka ng’ebisesemye
Manyi otwagala kyova wateesa otubumbe
Wandiba olina better plan omumwa ka nguwumbe
Nga ne bino ebitukaabya nkwe za Walumbe
(Sobbing)
Nkwe za Walumbe
Thank you