Mbadde nzuukusa gwe akyali mu tulo
Ninawo kye nengedde tega amatu go
Mu maaso gy’olaga ndabyeyo omuliro
Oba nga tonnalengera nzize nkuyambe
Omwagazi w’ekibuga otuuse awazibu
Gyebuggyako ojja kutuuka okubulwa w’osula
Amayumba bannange gafuuse ekirala
Simanyi na kyewanise nga nju mpangise!
Kati tukwata n’emisingi osanga nsasula
N’olowooza mu mwoyo kye nsasula n’obulwa
Omuntu wa wano takyalengeramu
Tulabye nnyo okulabira okumpi ng’ensolo
Muwoza twasoma y’eringa eŋŋombo
Kitalo nnyo okusomerera eggwanga odinnyika
Oh bannange twerabidde
Muzuukuke twefubeko tuwone okwebba
Ye bannange lwaki tetwewaayo?
Ne tunoonyeza ddala obugagga buli obw’ensibo
Laba nze munno nengedde
Buli alina w’atemako anyweze enkumbi
Enkumbi eyamba
Wensirikiddemu mpulidde afuguma
Naye katusabe gye bujja olimbuulira
Ggw’oliŋŋamba nti wamma olagula
Ebintu wabirengera otya ebikulu ewala!
Ekibuga bannange kisusse ekigero
Kati omuntu atuuse n’okubulwa ky’akola
Twekwasa mmere midaala eseerwa
N’eyadduka mu kyalo olw’amasanyu agyevuma
Omulimi an’aguma wa kweramula
Omuntu ojja kkolerera olubuto olwetamwe
Mu kuvungisa ensimbi oba ng’ojjukira
Ng’ettooke odiggamba ekikumi eba nkota
Naye kati ekikumi okyasembera wa?
Olaba n’omutunzi w’ebiwagu akiggobya
Leero ffe aba famire twafa dda
Obuwunga bwe bukwatiridde abalina enzito
Gwe ow’abantu abiri ogula otya ettooke?
Eritagenda kumala olyeko n’ekyeggulo
Kyova ogula muwogo oluusi lumonde
Ow’ekigaali n’omutikka n’empuuta yo
Waliwo n’asiiba oba gwe ozannya
Okumanya ng’abaagazi b’ebibuga twaguma
Abalala tutunda n’ensuku ezigudde akaleka
N’ogenda okkolerera ekiwagu n’amata
N’akubuulira nga bwe yateeba akalimu
Sso nga zaakola balya ndye n’abantu be
Oh bannange twerabidde
Muzuukuke twefubeko tuwone okwebba
Ye bannange lwaki tetwewaayo?
Ne tunoonyeza ddala obugagga buli obw’ensibo
Laba nze munno nengedde
Buli alina w’atemako anyweze enkumbi
Enkumbi eyamba
Kirwadde ki kino ekikutte abantu
Ekiyagala okulobera eggwanga okudduka?
Ye bunafu bwa nnabaki obussa omwoyo
Ne tulinda okkolererwa ng’ensi enneebafu?
Bukyanga twenunula ebbanga olibala
Kiki kye waakoleredde ensi yo ky’olaba?
Batono kye mmanyi abayinza okulaga
Abalala bali mu bya kubba beetala
Olw’amagendo ga wano agatajja kuweera
Mu Kampala gwe mulimu omukulu gwe ndaba
Buli muntu akeera nkya n’ajja okunyaga
Teri muntu akolera mu kibuga atabba
Nze neesimbye bwa ntoogo oba ng’ompakanya
Vvaayo ondagayo gw’omanyi nti tabba
Nga n’okusuubula kulinga kuteeba
Akedde ku makya ajja n’emmotoka olw’eggulo
Oyo lwaki taaseke ku bakutte lutemba
Alindirira okukungula ebirime by’osiga?
Bakuyita ssebo na kwewojjoola
Nti omuntu akulusana atya ng’ataasoma?
Sso nga baana battu twerimba
Obwo ssi bwe bugagga bw’ensi ziri ezaakula
Oh bannange twerabidde
Muzuukuke twefubeko tuwone okwebba
Ye bannange lwaki tetwewaayo?
Ne tunoonyeza ddala obugagga buli obw’ensibo
Laba nze munno nengedde
Buli alina w’atemako anyweze enkumbi
Enkumbi eyamba
Kitalo eky’eggwanga okudda emabega
Tususse okwagala ebiwedde n’obwebafu
Ekyo ky’ekireese n’obubbi obungi wano
Olw’obugagga bwe tunoonya obw’okwekkusa
Oli ajja n’abala omusaala gw’aliko
Nga kizibu okkola ku by’okulya n’entambula
Asasule n’ennyumba ate ayambaleko
N’obuntuntu obumubanja olw’abantu be
Kale kyova omusanga mu ofiisi
N’asooka okukukama ebbinika ey’amata
Nti okuteera omukono kw’ezo empapula
Ekkalaamu eba ya kanaana n’omwebaza
Naawe ate n’omulinda gy’alya ettooke
Buli omu ayinako w’atugira abantu be
Wano tukaaba wa takisi ntinno aseera
Sso nga buli kintu mu ggwanga bwekityo
Ffenna tulinda nnimire tulinga binyonyi
Tusabe busabi Mukama atuzuukuse
Gwe ffe tulituusa wa okuduukirirwa
N’akataliimu ne tudaagira amawanga!
Kyokka bwetuteerese mbabuulidde
Abalibeera abalamu bannange mulyejjusa
Ekintu kye mbakuutira nga nvaawo
Mukomye okwefuula abali ku ggwanga kuba
Eno nsi yammwe