Engatto Lyrics – Eighton Ssente

Nze guno guno omwaka ŋŋenda kuwasa owange
(Eighton Sente olimba)
Renix guno guno omwaka njagala owase naawe
(Good Money Bros. right again, Alright)

Engatto z’ezimu ze twambala
Eky’enjawulo tukyusa mu suuti
Bwe nzivaamu ne bazikuba eddagala
Ku lwomukaaga ozisanga mu neighbour
Nzijukira bwenalinga ne Sarah
Nalina essanyu saako n’essuubi
Nti oba oli awo ono yanaaba owange
Labayo ate bwe musanga ne Bebe!
Sibalimba nze amaanyi gampedde
Bantomezza empagi sikyalina faasa
Batujju bennyini baagala na tuzisa
Bakuula ebinnyo bano bayoola nsimbi

Nze ne bw’ondaba nzunga noonya mukyala
Naye munsabire omutuufu kizibu omufuna
Njagala omutendeke oli eyabuulirirwa
Mmhhh
I wanna get a woman I can call my wife
To give me a life
I desire
ŋŋamba oli atalabankana, oh
Omuntu n’omuteresa ettu lyo n’alikubamu ebituli!
Mmmmhhh
Sseruganda ova eyo gy’ovudde gwe n’osangawo mawolu!
Oh oh

Engatto z’ezimu ze twambala
Eky’enjawulo tukyusa mu suuti
Nze bwe nzivaamu ne bazikuba eddagala
Ku lwomukaaga ozisanga mu neighbour
Nzijukira bwenalinga ne Sarah
Nalina essanyu saako n’essuubi
Nti oba oli awo ono yanaaba owange
Labayo ate bwe musanga ne Weasel!
Sibalimba nze amaanyi gampedde
Bantomezza empagi sikyalina faasa
Batujju bennyini baagala na tuzisa
Bakuula ebinnyo bano bayoola nsimbi

I wanna find a woman I can call my wife
To give me a life
I desire
Ng’ebyensi tayagala manya, mmh
Ssi bano ababiringusa obubina ne bakirako enkuyege, ah
Batukyanga balina n’obukodyo obukuluppanya embuto, oh oh
Bakola bingi muganda wange gyotaba
Eh gwe ate atadde ng’awenyera onamanyira wa?

Engatto z’ezimu ze twambala
Eky’enjawulo tukyusa mu suuti
Bwe nzivaamu ne bazikuba eddagala
Ku lwomukaaga ozisanga mu neighbour
Nzijukira bwenalinga ne Sarah
Nalina essanyu saako n’essuubi
Nti oba oli awo ono yanaaba owange
Labayo ate bwe musanga ne Saha!
Sibalimba nze amaanyi gampedde
Bantomezza empagi sikyalina faasa
Batujju bennyini baagala na tuzisa
Bakuula ebinnyo bano bayoola nsimbi

Nze guno guno omwaka ŋŋenda kuwasa owange
Nkooye okola ng’omuwala gw’okolerera avuga kayoola

Walukagga twambala zimu engatto
Towakana ne Samona akimanyi
Ssemwanga mwambala zimu engatto
Towakana Diamond akimanyi
Mmhh ezo z’ezitussa ezo
Towakana S.K. akimanyi
Engatto ezitufimisa amafumu
Sseya Ssebaggala ononjulira, oh

Wulululululu
Weebale baaba
N’olulala oddanga
Good Money

Submit Corrections