Enganda N’emikwano Lyrics – Kazibwe Deo

Verse I
Bwendekayo okuyimba Mungu ayomba
Nti gwe nawa ekitone azannye buzannyi
Kannyimbe kubanga yampa Katonda
Abawagizi abange mukke emyoyo
Ndeeseeyo ate bino mbijje lugendo
Tebinzigwangako mutwe nkyabirina
Kazibwe Deo yenze ayimba
Mummanyi nafuuka muganzi
Bwe nfunayo mbawaako kw’ako akatono
Nina ekibuuzo annyamba anziremu
Emikwano n’eŋŋanda tunoonya asinga
Bw’oba gwe owa ani ekyama kyo ddala?
Nze ŋŋamba emikwano mwe ndya ettooke
Mmatize ntya awulira eŋŋanda zino?
Nazivaako kuba tetwajja balongo
Okwagala obusika yafuuka ensonga!
Muganda wo akutta mu myaka emitono!
Naddala ng’obwongo bw’afa emisuwa
Nga n’emikwano mingi naye
Mulimu emibi togenda kapaalo
Gigendeko mpola mubaamu emitemu
Emikwano n’eŋŋanda nanoonya asinga
Kubanga n’emikwano maama mitono
Kale egisingako bwe mwayonka
Ekibuuzo kya leero kigenda okulema
Kubanga n’eŋŋanda zaafuuka nsolo
Ate nga n’emikwano gyefuula

Chorus
Bannange emikwano mwe ndya ettooke
Naye okkuta gafuuse mayuuni
Emikwano n’eŋŋanda naye ani asinga?
Emikwano gigeya nnyo bw’osula enjala
Gw’oyazise olugoye akutega eddalu!
Ng’ate abooluganda beetema ebiso!
Bannange emikwano mwe ndya ettooke
Naye okkuta gafuuse mayuuni
Emikwano n’eŋŋanda naye ani asinga?
Emikwano gigeya nnyo bw’osula enjala
Gw’oyazise olugoye akutega eddalu!
Ng’ate abooluganda beetema ebiso!

Verse II
Abantu bansobedde gw’owa akatono
Nti alyeko aguyite omukkuto
Nti ‘ndaba akkuse ky’ava ampa akatono’
Ate nga n’abakazi bw’oba ng’owasa
Mubeeramu abaza emmere nga kwa njala
Ng’aleeta ensimbi ate ye mulala
Njagala njogere mukke entuuyo
Tunula gy’osibuka ewammwe watyayo
Ekyakuggyayo osenge e Kaggaba kiki?
Wagamba n’abaana tebaggya mulambo!
Gutwala gye wava tegyali mirembe
N’akajja obunaku n’otema emimiro
Kye wava osenga n’odda ewalala
N’engeri gy’okuze n’entondo ozirina
N’oviira ekika ekiboola abantu
Enfa ya taata gaali malogo
Mulimu owooluganda eyakuba engalo
Endagaano za taata n’assa ku bbega
Kwegamba emitima gyafa abantu
Emikwano n’eŋŋanda gyonna gya ngeri
N’emirimu ogikola bakuba endege
Nze kati njogedde mumpe amabugo
Kuba ŋenda kubulwa amazzi w’enganywa
Nsazeewo banziike ewange we nguze
Ekika kinsobedde kyeboolagana
Waliyo agamba nti ye wa nvuma
Asika azza wuwe n’ennyonyi ewera
Kansigaze emikwano mu nsi gye nina
Nagyo ginsobedde bwe mmenya engalo
Nsigazaawo ebiri egisinga mifere

Chorus

Verse III
Bannange nkoze ekika nga ndi muto
Kasita nzaddeko ku baana mbalina
Lubaale mbeera nina kkanya mbiro
Ennaku y’obukulu tejja kulema
Nze nkooye ekika kiwanda muliro
Bayinza n’okuziika maama ku ngulu
N’engeri gye nafiisa abange ne mmaza
Ky’ekivaako okunkuba amagi
Bampita nfuuzi ndiira ku ttaka
Kye nava nsenga e Kaggaba ewala
Gye nafuna emikwano eŋŋanda ne nzita
Emikwano n’eŋŋanda naye ani asinga?
Simanyi gye nkutwala naawe olabayo
Bwe nakuba enduulu baaseka nseko
Mbayita abooluganda kumbe mafukuzi
Munno mu kabi y’aba omuntu
Mukwate bye mbagamba bantu bange
Onoonye gw’onoowa ekyama kyo
Njagala ojjukire naawe awulira
Bwe wakuba enduulu eyajja y’ani?
Okumanya abatuuze baagala alina!
Kati nze atalina ŋenze awalala
Sisuubira na kudda ŋendedde ddala
Omunaku kaama ŋenda kwerandiza
Kankole n’eddaame obuyinza mbulina
Nannyonjo Sharon ne Nakazibwe
Ronald Ssenyonjo kitammwe yenze
Ekika nkitadde eŋŋanda zinnyiye
Nakoze n’ebiggya e Kaggaba
Kasita ŋenze amannya ga nnyonyi
Era nga nammwe muli ba nnyonyi
Temulina jajjamwe nti y’ono
Mukaabe amaziga nga mwesangula
Ndowooza muntegedde bwe nsula enjala
Ne bwe nsaba akawogo maama tebampa
Ku kika ekiramba nkooye okusaba
Kaŋende n’emikwano Mungu y’amanyi
Nze eŋŋanda zinsobedde nsula ku nsiko
Gye ndiira ebisubi ne badda mu nseko
Entuuyo ze ŋenze okwetuuyanira
Leka nsabe Mukama annyambe nfunemu
Nze Kazibwe Deo mubeere mirembe
Nkoze ekika kyange

Repeat Chorus to fade

Submit Corrections