Endabada Lyrics – Annet Nandujja

Endabada mwattu ojje ogule
Engoye empanvu endabada
Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R)
Omwoyo, omwoyo gwa bano abayita obukunya
Koona obugoma
Obugoma obuwooma n’engalo ossaako
Nange ssibuuze
Anti ekintu ekinnyiga mpulira kindi bubi
Wulira abeebuuza
Ntino omukyala w’eŋŋoma oba nno abadde atya?
Ssirina kye mbadde
Abakyala ba luno mmwe muntawaanya
Nze kinnuma nnyo
Okubagamba ebigambo byange ate ne mwepena
Ne neebuuza
Lwaki abaana ba luno mbagamba mweremye?
Okutuusa lwe nkizudde
Ntino mwaddukira eno awali ebidongo
Nze ne bwenjogera
Obugere ne mbufuula eŋŋoma mwazeepena
Obwana n’obugambako
Anti muwoza kimu ebyo nno by’abagoma
Kale ne wewuunya!
Omwana wa Jjagwe bw’akyawa eŋŋoma
Era ne webuuza!
Baki abalirwana ng’ebyaffe bisaanawo?
Nange ne mbakunduwa, ka channel ne nkakyusa
Mbasange mu bidongo

Abange endabada ŋambye mwambale
Engoye empanvu endabada
Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R)
Ba nakazadde b’eggwanga mwambale
Engoye nga nze ze nina
Kubanga eby’okukunama
Mutuswaza nnyo era ffe twatamiddwa
N’abaami baagambye
Nti bye mubalaga nabo nno baakooye
Mmwe abaana bawala
Ŋambye mwambale engoye empanvu endabada
Ne bweriba ttooke
Eriboobedde ly’eriwoomera anaalya
Abange ekiriwoomya
Balibikka nnyo eryo ne libuna endagala
Naye mmwe mwayanamye
Nti n’akabugumu nako ne kaggwaamu
Laba bwe munnyogoga
N’abo ababakwatako ne bawulira emigogo
Era ne mwebuuza
Nga babuze ababatwala baakoowa emigogo
Weekubye mu mawulire
Nti otudde weebambye mbu onoonya atwala!
Ani oyo atwala!
Ekyennyanja Ssemutundu embajjulemu?
Oluguudo lw’emmanju
Omukyala ke lulabika obeera otuswazizza
Obuwale obw’oluwuzi
Nze mbwagala nnyo sikaati ng’ebuniza
N’empale empanvu
Nze sirina ttabu kasita eba ng’ebunira
Yiii abaana ba luno mwe muntawaanya

Tubeera mu takisi omuwala n’avaamu
Laba ekitalo
Akawale ak’oluwuzi konna nga kasinise
Laba ekitalo
Ba maama bu appetizer abasajja baakooye
Laba ekitalo
Bwe twambala ezaffe ennene ezibuniza
Nti ebyo bya bakadde
Laba bwe munjeregera mothers’ union
Nti ezo za bakadde

Nfudde omwoyo
Omwoyo gw’amabujje maama gundi bubi
Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R)
Yiii maama omweyagalire maama ndi bubi
Abaana bange ab’obuwala
Muwumbe buwumbi temwanjala mutere
Abaana mbanenya mpola
Naffe ababazaala nga tufuuse emisege
Anti ennyonyi enkulu
Abange y’eyigiriza ento eno okubuuka
Leero nno emizigo
Eby’okukunama biba ng’ebyempaka
Omwana n’akunama!
Ne maama n’akunama!
Ne taata n’akunama!
Basajja bakulu nammwe abateewa bitiibwa
Nammwe mwannyiye
Tawulo n’ogisiba
Essaawa mukaaga osiibye toyambadde
Ebbuto ly’oyolesa
Ng’abaana balaba munnange oswaza
Omwami kyamutuukako
Ku mizigokkumi nga twalaba amawano
Yeesiba tawulo, omwana n’asitula
Munnange ng’abuusa
Omwana ali waggulu, tawulo n’ekutuka
N’akawale talina
Akwate mwana oba alonde tawulo
Ku lulwo ogamba otya?
Akeera ku Ssande, mu kapale akampi
Gwe n’olaba obugulu
Obugulu bw’obugatta n’ebbuto
Gwe n’olaba amawano
Muvuma abakazi
Mbu baabulwa ffiga ezammwe mwazirabye?
Wamma abalenzi abato
Musabule ebinu nze ettabbu sirina

Endabada ŋambye mwambale
Engoye empanvu endabada
Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R)
Basajjabakulu ŋambye mwambale
Empale empanvu endabada
Mwana wange Kiwuuwa olondanga bali
Abambadde enkunizo
Wamma abambala obulungi
Bawala bange mbawadde ebbuzi essaata
Ne bakyala bannange
Mmwe muweesezza ekitiibwa mu ggwanga
Muleke ŋende temumpita ayomba
Ate nno nga mpabula
Leka nveewo temugamba nti nnyombye
Ate nno nga mpabula
Kaakati ŋenda nze mundabira nnyo
Abaana ab’obuwala
Mweraba ŋenda nze mundabira nnyo
Abaana ab’obuwala
Yiiiii yiiii yiiiii!
Laba ndigenda n’agula empanvu endabada x3

Submit Corrections