Nze love kangite ngirekere abagirina
Nebwogaba ebirungi n’ojjuza ne kalina
Nali mmanyi abakyala baagala bazirina
Naye amulekawo n’agenda n’atazirina

Nze nalinga mmanyi
Nti omukwano guno (nange bwentyo)
Gw’oyagala ng’akwagala
Bwe bisinga okunyuma ennyo
Ng’era muli ndowooza
Nti buli lw’omukolera ebyo by’ayagala
Buli ky’asaba n’okimuwa
Aliba wuwo lubeerera
Naye nange byansobeddemu!
Omwana yannyinyukiddemu
Yandaze ettima byantabuddemu yeah
Nali nga mwemaliddemu
Buli ky’ansaba nenkiteekamu
Nga mmanyi tuli ku lugendo lwelumu, babe

Abamenyi b’emitima
Bankutudde omutima (nange bwentyo)
Sikyalina kya kukola
Ntaawa bandeka mu maziga
Abamenyi b’emitima
Bankutudde omutima (nange bankutula)
Nze gwe baasanga n’omutima
Kati bandeka n’ekitima

Aah, be tuwa love emitima bagikutula
Oba bwe boogerako ku mazima gababutula!
Nali mmanyi babikola banaku bokka
Naye ate n’abagagga baatugambye babibakola
Wamwagala nnyo n’omuwa buli kimu
Nga muli olowooza mwana muli ku bbala limu ah
Kumbe yalinayo ka chali kamu
Ng’akawa buli bye kaagala na mutima gumu
Kati nze byantama ne ŋŋamba kambiveeko
Nga bintabudde n’emirembe bimmazeeko
Gwe buli k’olabye akalungi n’omuwaako
Naye nga n’omukwano gwo omusanga yagabyeko
Batumalako mirembe ddala
Abasinga omukwano teguba gwa ddala ah
N’olumu nno batusuza enjala
Naye nga gw’alowooza ku mutima gwe
Si ggwe mulala

Abamenyi b’emitima
Bankutudde omutima (nange bwentyo)
Sikyalina kya kukola
Ntaawa bandeka mu maziga
Abamenyi b’emitima
Bankutudde omutima (nange bankutula)
Nze gwe baasanga n’omutima
Kati bandeka n’ekitima

Nze nalinga mmanyi
Nti omukwano guno (nange bwentyo)
Gw’oyagala ng’akwagala
Bwe bisinga okunyuma ennyo
Ng’era muli ndowooza
Nti buli lw’omukolera ebyo by’ayagala
Buli ky’asaba n’okimuwa
Aliba wuwo lubeerera

Nze love kangite ngirekere abagirina
Nebwogaba ebirungi n’ojjuza ne kalina
Nali mmanyi abakyala baagala bazirina
Naye amulekawo n’agenda n’atazirina

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *