Ssaabasajja
Ffe abaana abato aba Buganda
Tuzze tweyanze
Olwa Naabagereka nnyaffe gwe wawasa
Bwe walinga otulabirira bw’omu
Nga buli kimu tusaba taata
Ffe abaana ba Buganda abato
Ono ye maama gwe tulina

Emitima gy’Abaganda
Gyatereera gwe wamma
Naabagereka omulungi ekitalo
Mwana wange ate nga yasoma nnyo
Amaaso geego
Ge bagamba agalinga ettaala
Ffe abaana ba Buganda abato
Ono ye maama gwe tulina

Maama wuuno
Alina omukwano omusuffu ogw’abaana
Wamma tweyanze
Eri Ssaabalongo nannyini kuwasa
Tusiime ne Mwami Luswata n’omukyala
Ne ba jajja Nkalubo
Mwazaala bulungi labayo
Mwazaala amakula ddala

Kino kuva dda nga ky’ogerwa
Nga batunyumiza ennyama y’Omusu
Ng’eyasukkuluma ennyo obuwoomi
Tetuliwakana tulabye amazima
Ab’Omusu mata
Ssaabasajja kye yava addira Omusu
N’ajja agwekuumira eka
Era abayigga muve ku musu

Emitima gy’Abaganda
Gyatereera gwe wamma
Naabagereka omulungi ekitalo
Mwana wange ate nga yasoma nnyo
Amaaso geego
Ge bagamba agalinga ettaala
Ffe abaana ba Buganda abato
Ono ye maama gwe tulina

Maama tusaba
Ffe abaana abato aba Buganda
Yamba taata
Mu mirimu gy’okuluŋŋamya abantu be
Buli kizze nga mukwatira wamu
Omugumye mu bizibu bambi
Ffe twakwesunga dda
Wano buli mwana ye mwana wo

Emitima gy’Abaganda
Gyatereera gwe wamma
Naabagereka omulungi ekitalo
Mwana wange ate nga yasoma nnyo
Amaaso geego
Ge bagamba agalinga ettaala
Ffe abaana ba Buganda abato
Ono ye maama gwe tulina

Bakyala baabo
Bakunge nno, bamanye eky’okukola
Gw’ettabaaza, enebamulisanga ne balaba
Bakuze bulungi abaana ba Buganda
Eggwanga ery’ettendo
Baagale ne Buganda yaabwe
Maama abakyala babo

Ssaabasajja
Wamu n’oyo gwe walonda n’osiima
Lugaba abakuume
Muzaale abambejja n’abalangira
Ekibira kino kiggumira osimbye
Emiti emito ssebo
Obwakabaka bwo bunywere
Kabaka Mutebi wangaala
Era Naabagereka wangaala
Era Buganda wangaala

Ffe abakazi b’enkya tuwera
Tetuliyabulira Buganda yattu
Maama waffe Nagginda
Gw’otukulira kwata omumuli
Leka naffe tuwere
Ffe abasajja abanajja olw’enkya
Nannyinimu ggundagunda
Bba ffe ndabiranga ddala

Nannyinimu ggundagunda
Bba ffe ndabiranga ddala
Nannyinimu ggundagunda
Bba ffe ndabiranga ddala (Abaganda)
Repeat till end

Submit Corrections

Leave a comment